TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Terah Kaaya, asoma Agataliiko Nfuufu agudde mu bazigu: Abatuuze bataayizzaako omu ne bamukuba ne bamutta

Terah Kaaya, asoma Agataliiko Nfuufu agudde mu bazigu: Abatuuze bataayizzaako omu ne bamukuba ne bamutta

By Eria Luyimbazi

Added 9th March 2017

TERAH Kaaya asoma Agataliiko Nfuufu ku Bukedde TV yabadde atambula okutuuka mu kifo we yalese emmotoka ye, abazigu kwe kumutaayiza.

Kaaya 703x422

OC wa Jinja Road, Apollo Tayebwa ne Meeya wa Nakawa, Balimwezo nga babuuza ku Terah Kaaya mu ddwaaliro lya Kampala Hospital eggulo.

Baasoose kumukuba kiyinja ku mutwe n’agwa wansi nga bw’alaajana, olwo ne batandika okunyagulula buli kintu kye yabadde nakyo.

Aba bodaboda abakolera ku katale e Kitintale baawulidde okulaajana ne bajja mangu era abazigu olwawulidde pikipiki ezituuka ne babuna emiwabo.

Aba bodaboda beegattiddwaako abantu b’ekitundu mu muyiggo ogwatandise ku ssaawa 7:00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwokusatu.

EYABADDE MU KIBINJA EKYATEEZE KAAYA BAMUSSE

Omuyiggo obwedda gwetooloolera ku bavubuka basatu abaalabiddwa nga badduka n’ebimu ku bintu bye baabadde banyaze ku Kaaya.

Emu ku bodaboda eyabadde ekulembedde, yabakubyemu amataala ne babeetegereza. Ekibinja ky’abavubuka kino kirudde nga kitigomya abatuuze b’e Kitintale era bagamba nti kyali kikulemberwa John Kaddu, kyokka bwe yakwatibwa n’asibibwa e Luzira, olwo ne balonda Mulema era kati y’abakulembera.

Abaakoze omuyiggo baagambye nti Mulema yennyini yabaddeko ku baakubye Kaaya, nti era abaabadde ku muyiggo baakubye Mulema engwala kyokka n’abeesimattulako ne mubbi munne omulala ne badduka.

Baafunzizza omuvubuka Anthony Tamale gwe balumiriza nti aludde ng’akolagana n’ekibinja ky’abazigu bano abateegera mu kiyumba ekikadde ekiri mu Zooni 9 e Kitintale nti era basooka kunywa njaga mu kafo ke baakazaako ewa Kyomu mu Zooni y’emu eyo.

 kulira poliisi ya inja oad oses liau ngava mu maka gomuvubuka eyatiddwa Akulira poliisi ya Jinja Road, Moses Eliau ng’ava mu maka g’omuvubuka eyatiddwa.

 

Tamale bwe yalabye bamufunzizza, yagezezzaako okwekukuma wabula ne bamulaba era ne bamukukunulayo ne batandika okumukuba okutuusa lwe baamusse.

Omulambo gwasigadde mu kifo we battidde omuvubuka oyo era gwaggyiddwaawo ku makya ga Lwakusatu ne gussibwa ku kabangali ya poliisi ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago.

KAAYA ATTOTTODDE EBYABADDEWO

Terah Kaaya mu bigambo bye annyonnyodde bwati; Ku ssaawa nga 7:00 ez’ekiro, nnasimbudde ku ofiisi mu Industrial Area okumpi ne Lugogo ne ntwalako mukwano gwange abeera e Kitintale. Nnasoose kusimba mmotoka yange ku ssomero lya Cleaver’s Origin kubanga oli w’abeera, emmotoka tesobola kutuukawo.

Nnamuwerekedde okukakasa nti atuuse bulungi awaka era ne mmuleka ng’ayingidde. Kyokka mu kukomawo we nasisinkanidde abavubuka era baabadde ng’abampitako ng’omu ayita ku kkono ate omulala ku ddyo nagenze okuwulira ng’omu ankubye ekintu ku mutwe ne ngwa ku ttaka nga bwe mpita abantu bannyambe. Awo we nnategeeredde nti ngudde mu bazigu.

We baatwalidde ebintu byange, nabadde mpunze. Wabula nga wayise akabanga nnazzeemu okutegeera naye nga sirina maanyi.

Nakitegedde nti nnabadde nfunye obuzibu obw’amaanyi nga ndaba waliwo abantu abayimiridde nga banjoolayoola ng’abamu bwe bambuuza eddwaaliro gye baba bantwala, kwe kubategeeza Kampala Hospital e Kololo era ne banteeka ku bodaboda ne bandeeta wano, kyokka ng’omusaayi ogufubutuka mu kiwundu ky’oku mutwe mungi nnyo.

Nnatuuse mu ddwaaliro nga sirina ngatto mu bigere n’essaati era ebyo sisobola kukugamba gye byasigadde naye nze okuwona, Mukama y’eyambisseeko akasubi. Kaaya eyabadde alambulwa abantu ab’enjawulo mu Kampala Hospital, yagambye nti alina okulumizibwa okw’amaanyi ku mutwe naddala ku ludda olwa ddyo we baakubye ekiyinja.

 

 kulira poliisi ya inja oad oses liau ngava mu maka gomuvubuka eyatiddwa Akulira poliisi ya Jinja Road, Moses Eliau ng’ava mu maka g’omuvubuka eyatiddwa. 

Embeera yabadde egenda etereera kyokka ng’okutya kuli kumu kwa musaayi ogwetukuse ne gukwata obutoletole (blood clot) mu misuwa gy’omu mutwe era abasawo baagumizza nti bakola ekisoboka atereere mu bwangu.

Mu baamukyalidde mwe muli ne Meeya w’e Nakawa Nsubuga Balimwezo atwala n’ekitundu ky’e Kitintale gye baakubidde Kaaya. Abazigu baatutte essimu, ensimbi n’ebirala.

OWOOLUGANDA LW’OMUVUBUKA EYATTIDDWA AYOGEDDE

Jamidah Mulungu nga ye mwannyina w’omuvubuka eyattiddwa ategeezeza Bukedde nti Anthony Tamale 17, yali asomera ku Luzira S.S omwaka oguwedde era abadde agenda mu S.4 kyokka ne yeewaggula omwaka guno n’agaana okuddayo okusoma.

Yali amaze okukwatagana n’ekibinja ky’abavubuka abakyamu. Ensonga nnazitwala ne ku LC I naye ne yeerema era teri kyatuukibwako.

“Tubadde tukyakola ekisoboka kyonna okulaba nga Tamale adda ku ssomero, ate bino we bigwiriddewo wabuka nze mbadde simanyi nti omuvubuka atambula ekiro” Mulungu bwe yategeezezza aduumira poliisi ya Jinja Road Moses Eliau Osega eyabasanze mu maka gaabwe e Kitintale mu Zooni 9.

  wa inja oad pollo ayebwa ne eeya wa akawa alimwezo nga babuuza ku erah aaya mu ddwaaliro lya ampala ospital eggulo OC wa Jinja Road, Apollo Tayebwa ne Meeya wa Nakawa, Balimwezo nga babuuza ku Terah Kaaya mu ddwaaliro lya Kampala Hospital eggulo.

 

ABATUUZE BEEVUMA OBUBBI

Ssentebe wa Kitintale Zooni 9, Ibrahim Ssekajja yategeezezza nti abazadde b’omuvubuka ono baamutuukirira ne bamutegeeza nga mutabani waabwe bw’agaanyi okuddamu okusoma era ne bamuloopera nti yafunye ekibinja ky’ababbi kye yeetabyemu.

Ayongeddeko nti abatuuze baali beekolamu dda omulimu ku bavubuka bano era nga baabakuba abamu ne babatta ng’ebikolwa by’obubbi byali bikendedde naye ate mu kiseera kino bizzeemu buto okusitula enkundi.

Asabye abazadde okwongera okukuuma abaana baabwe n’okubakuumirako amaaso n’okubabuulirira bave mu bubbi.

Apollo Tayebwa, atwala poliisi ya Jinja Road yagambye nti poliisi ekoze omulimu gwayo naye obuzibu bwonna buli ku kkooti, “Tukwata abamenyi b’amateeka ne tubatwala mu kkooti ne bayimbulwa ku kakalu ka kkooti .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsa 220x290

Nnejjusa ekyanziggya mu kusoma...

Omuyimbi Busy Criminal yejjusa ekyamuggya mu kusoma ntandike okuyimba, agamba nfubye okukuba emiziki naye tebinnaba...

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya...

Omugagga abadde avunaanibwa okwekomya ebintu bya mukyala we ayimbuddwa

Kwata 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YATUUSE DDA...

Tukulaze omusajja gwe baakutte mu bukambwe ne bamukubisa ebigala by’emmundu mu Kampala. Aba famire ye bagguddewo...

Hib2 220x290

EBIKWATA KU KICONCO

EBIKWATA KU KICONCO

Co2 220x290

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku...

Akakiiko kakunyizza Kiconco ku ttaka ly’e Lusanja