TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Museveni akungubagidde Mayanja Nkangi: 'Nkangi yannyamba nnyo'

Museveni akungubagidde Mayanja Nkangi: 'Nkangi yannyamba nnyo'

By Musasi wa Bukedde

Added 10th March 2017

PULEZIDENTI Museveni akungubagidde Mayanja Nkangi mu maka ge e Ntinda gye yagenze ne mukyala we Janet Museveni ku Lwokusatu akawungeezi.

Yamba1 703x422

Bamulekwa ba Nkangi nga baaniriza Museveni ne mukyala we mu maka gaabwe e Ntinda.

PULEZIDENTI Museveni akungubagidde Mayanja Nkangi mu maka ge e Ntinda gye yagenze ne mukyala we Janet Museveni ku Lwokusatu akawungeezi.

Yagambye nti Nkangi yamuyamba nnyo okulaba ng’abasajja abaali bakuze mu myaka bakkiririza mu gavumenti gye yali akulembeddemu ng’olutalo lwakaggwa mu 1986.

Yeebazizza olw’obulamu bwa Nkangi n’ebirungi by’akoledde eggwanga. Ng’aba NRM yeebazizza Nkangi ne banne nti kubanga we baaviira mu nsiko baali bato nga ye wa myaka 41naye Nkangi ne banne tebaamunyooma olw’okubeera nga baali bamusinga emyaka.

Beewaayo ne bakwatagana nabo ng’ali ne Kintu Musoke gwe yali akolaganyeeko naye emabega ne babakwasizaako ku kaweefube gwe baava naye mu nsiko.

Wabula yagambye nti Dr. Kawanga Ssemogerere yayagala okuzza eby’emabega ng’ali n’aba UPC wabula Nkangi n’agaana nti tetuyinza kudda mu by’emabega.

Yagambye nti ekyo kye kyayamba okuleetawo embeera y’obumu mu kulonda kwa 1996 n’okulonda olukiiko olwabaga Ssemateeka wa 1995.

 namwandu wa kangi owookubiri ku ddyo ngayogera ne ulezidenti useveni Nnamwandu wa Nkangi (owookubiri ku ddyo) ng’ayogera ne Pulezidenti Museveni.

 

Yategeezezza nti bwe yava nabo mu nsiko abamu baayagala okutabula wabula ab’emyaka gya Nkangi baakolagana naye. Abaakolagana naye kuliko omugenzi Badru Kakungulu, Omulabirizi Danstan Nsubuga gwe yagambye nti ye ne ku mikolo e Kololo yagendayo ng’akumba.

Polof. Mondo Kagonyera yategeezezza nti obutebenkevu bw’ebyenfuna obuliwo mu kiseera kino buva ku musingi Nkangi gwe yakola.

Yagambye nti mu bulamu bwe talabanga ku muntu mwesimbu nga Nkangi, yali muwulize eri Mmengo kyokka ne kitamulemesa kuweereza gavumenti eya kati.

“Mmwe abakyali abato mukimanye nti okukung’aanya obulindo bw’ensimbi tekigasa kubanga ku nkomerero abantu bajja kunoonya ekirungi kye bakwogerako batuuke okulimba kubanga olina bye wakola ebitajja,” Polof. Kagonyera.

Yagambye nti ye aweerezza emyaka 50 mu Gavumenti kyokka takemebwangako kusaba kyogyamumiro kubanga yakoppa ekyokulabirako kya Nkangi.

Gavana wa bbanka ya Uganda enkulu Polof. Emmanuel Tumusiime Mutebile yategeezezza abakungubazi nti Nkangi yaleeta enkyukakyuka mu byenfuna Uganda by’eri mu kutambulirako okutuusa leero kubanga we yajjira ku bwaminsiita w’ebyensimbi ng’ensimbi za Uganda zinabuuse nnyo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...