TOP
 • Home
 • Agookya
 • By'obadde tomanyi ku Andrew Felix Kaweesi

By'obadde tomanyi ku Andrew Felix Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 17th March 2017

AIGP Andrew Felix Kaweesi, abadde omwogezi wa poliisi mu ggwanga, yayingira poliisi mu 2001 mu kiseera nga Gen. Katumba Wamala ye muduumuzi wa poliisi mu ggwanga.

Kaweesi 703x422

Omugenzi Andrew Felix Kaweesi

 • AIGP Andrew Felix Kaweesi, abadde omwogezi wa poliisi mu ggwanga, yayingira poliisi mu 2001 mu kiseera nga Gen. Katumba Wamala ye muduumuzi wa poliisi mu ggwanga.
 • Afudde wa myaka myaka 48.
 • Yakulirako ettendekero lya poliisi e Kabalye Masindi mu 2007 era ye yalambuza Nnaabakyala wa Bungereza paleedi ya poliisi ku Serena olukuηηaana lwa CHOGM bwe lwatuula mu ggwanga.
 • Mu 2012 Gen. Kale Kayihura yamulonda okubeera omuduumuzi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano mu kiseera Dr. Kizza Besigye n’ab’oludda oluvuganya we beekalakaasiza ennyo mu “Walk To Work” era n’abassaako eryanyi eryamalawo okwekalakaasa okwo.
 • Mu 2014 Kaweesi yaggyibwa ku kya Kampala n’azzibwa ku ky’okukulira ebikwekweto mu poliisi.
 • Ajjukirwa nnyo mu 2015 bwe yakwata Amama Mbabazi e Jinja ng’amulemesa okutuuka e Mbale gye yalina olukuηηaana.
 • Oluvannyuma yasindikibwa okukulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku kutendeka n’okubangula abapoliisi era mu August wa 2016 n’alondebwa okubeera omwogezi wa poliisi mu ggwanga.
 • Abadde n'obuvumu naddala mu kw’aηηanga embeera enzibu ne bwe kuba kugyogerera nga bwe yakoze ku by’abaafiiridde mu kanyoolagano e Kasese. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...