TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri omukuumi gye yalwanye okutaasa obulamu bwa Kaweesi

Engeri omukuumi gye yalwanye okutaasa obulamu bwa Kaweesi

By Musasi wa Bukedde

Added 20th March 2017

Kenneth Erau 25, abadde amaze emyaka 6 mu poliisi era ebbanga lino lyonna abadde akuuma Kaweesi era ng'amwesiga obulamu bwonna olw'emirimu gy'abadde akola mu bwesimbu.

Tunda1 703x422

Omukuumi wa Afande Kaweesi, Kenneth Erau bwe battiddwa abazigu.

Kenneth Erau 25, abadde amaze emyaka 6 mu poliisi era ebbanga lino lyonna abadde akuuma Kaweesi era ng'amwesiga obulamu bwonna olw'emirimu gy'abadde akola mu bwesimbu.

Abatemu bwe baakubye mmotoka omupiira gw'emabega ku ludda lw'omusaabaze Erau kw’abadde atuula ng'akuuma mukama we, amasasi agazzeeko gaamukutte amagulu.

Mu buvumu obw'ekitalo, yeekakabye n'aggula oluggi lw'omu maaso n'asikayo emmundu ye n'akuba ku masasi kyokka ne bamukuba emikono gyombi ne bagisesebbula.

Ng'akyalimu obulamu, yeewaludde n'agwa ku mukama we ku ngulu akole ng’engabo amasasi gonna gakome ku ye. Era mu masasi agaabadde gayiika ng'enkuba, yagudde ku mukama we eyabadde amaze okukosebwa era amasasi gonna agaakutte Kaweesi, gaasoose mu mubiri gwa Erau!

Abaserikale abaggye emirambo mu mmotoka, ogwa Erau baagusanze waggulu ku gwa mukama we.

Bino byakakasiddwa n’omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura eyategeezezza nti obungi bw’amasasi n’ebiwundu ebyasangiddwa ku Erau kyavudde ku kugezaako kukola nga ngabo okugwa ku mubiri gwa mukama we waakiri amasasi bakubemu ye.

Erau agenda kuziikibwa mu disitulikiti y'e Amuria, Wambeyo waakuziikibwa Mbale ate Kaweesi ajja kuziikibwa e Kyazanga mu Lwengo ku Lwokubiri.

Omukuumi wa Afande Kaweesi, Kenneth Erau bwe battiddwa abazigu.

Bakutte abasajja nga bayoola omusaayi we battidde Kaweesi Omulambo gwa Afande Kaweesi nga baguggya mu ggwanika lya KCCA eggulo. Abakuhhaanya obujulizi bw’ebizibiti nga beekebejja we batiidde Afande Kaweesi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba