TOP

Eyasse Kaweesi tumukutte ayingira Congo - Kayihura

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd March 2017

OMUSAJJA agambibwa okuba omu ku batujju abaakubye Felix Kaweesi amasasi, akwatiddwa ng’asala ensalo ya Uganda okuyingira mu Congo.

Andrewbyjmutebi34 703x422

Omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura ng’abuuza ku Loodimeeya Lukwago (ku kkono) e Lwengo. Wakati ye mubaka wa Makindye West, Ssewannyana.

OMUSAJJA agambibwa okuba omu ku batujju abaakubye Felix Kaweesi amasasi, akwatiddwa ng’asala ensalo ya Uganda okuyingira mu Congo.

Ekibinja ekyasse Kaweesi kirabika kigazi nnyo.

Mu kumuziika eggulo e Lwengo, abatemu baasindise abantu baabwe okuwuliriza ebyogerwa n’okuketta okumanya enteekateeka za poliisi okubakwata.

Abaserikale b’ekitongole kya Flying Squad baakutte abantu babiri mu kuziika ng’omu mukazi.

Waabaddewo akasattiro mu bantu abangi abaabadde ebweru wa weema, abaserikale abaabadde mu ngoye eza bulijjo bwe baabadde bakwata n’okukunguzza abaakwatiddwa okubayingiza mu kabangali ya poliisi.

Baavumbagidde omusajja omulundi gumu ne bamusitula mu bbanga ne bamuteeka ku kabangali ya poliisi emabega. Mu bwangu obw’ekitalo, abaserikale baabuukidde kabangali ne batwala abaakwatiddwa.

 nga batwala omukazi agambibwa nti yasindikiddwa abasse aweesi akette mu kuziika nga batwala omukazi agambibwa nti yasindikiddwa abasse Kaweesi akette mu kuziika.

 

Baakutte abakazi abalala babiri abaabadde n’omusajja eyasoose okukwatibwa ne batwalibwa wakati mu bugombe bwa poliisi. Bino byabaddewo mu kiseera Gen. Katumba Wamala we yabadde ayogerera eri abakungubazi.

Ensonda zaategeezezza nti abaakwatiddwa bazze babalondoola era nga kigambibwa nti baliko kye bamanyi. Kayihura yaweze eri abakungubazi nga poliisi bw’etejja kussa mukono okutuusa ng’ekutte abatemu.

Yagambye nti yabadde amaze okufuna amawulire g’okukwata omu ku batemu bano ku nsalo. Abantu mukaaga be baakakwatibwa ku by’okutemula Kaweesi ku Lwokutaano.

Yattiddwa n’omukuumi we ne ddereeva. Ku Ssande poliisi yakutte abantu babiri okuli n’omuserikale waayo, PC Yudas Tadeo nga kigambibwa nti baabadde bayoola omusaayi mu kifo we baatemulidde Kaweesi e Kulambiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Soma 220x290

‘Abaami mmwe mutabangula amaka’...

ABAKULEMBEZE n’abatuuze mu tawuni kanso y’e Luuka boolese obwennyamivu olw’omuwendo gw’amaka agasasika okweyongera...

Leo 220x290

Omusibe atolose ku baserikale abatuuze...

ABATUUZE ku kyalo Kimuli mu ggombolola y’e Maanyi mu disitulikiti y’e Mityana bavudde mu mbeera ne basuulira poliisi...

Sevo1 220x290

Aba NRM mu Buganda batongozza Museveni...

ABAKULEMBEZE ba disitulikiti za Buganda eziwera 10 bakwasizza Pulezidenti Museveni ekkanzu eya kyenvu, ekyanzi,...

Tta 220x290

Eyatta owa bodaboda akkirizza okutuga...

Poliisi: Okimanyi nti obadde onoonyezebwa? Omusibe: Nkimanyi, kubanga akatambi akaatuleetera obuzibu nange nakalabako...

Pastorbugingo2703422350250 220x290

Bugingo asekeredde abaamututte...

Bugingo yasinzidde mu kusaba kw’omu ttuntu n’ategeeza nti tewali agenda kumugaana kwogera. Era ye talina muntu...