TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Omutujju alumbye Palamenti ya Bungereza n'atta owa Poliisi: Alumizza abalala 40

Omutujju alumbye Palamenti ya Bungereza n'atta owa Poliisi: Alumizza abalala 40

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd March 2017

Abantu 5 baafiiridde mu bulumbaganyi buno okuli n'omupoliisi , ate abalala 40 ne balumizibwa nga bakyajjanjabibwa mu malwaliro.

3e8914e3000005784340016thecarmountedthepavementinwestminsterbridgebeforecrashia51490226238703 703x422

Engeri omutujju gye yalumbye Palamenti ya Bungereza

OMUTUJJU abadde mu mmotoka ekika kya Hyundai 4x4 alumbye London n'atomera abantu ababadde batambulira ku lutindo lwa Westminster, okulinaana Palamenti y'e Bungereza.

Bino byabaddewo ggulo ku Lwokusatu, omutujju bwe yavuze mmotoka ng'agyolekeza ku Palamenti ya Bungereza n'atomera geeti eyingira mu Palamenti era mu kavuvung'ano nga Poliisi etaasa abantu bano, omutujju yemmuludde n'ayingira wansi mu kizimbe kya Palamenti n’afumita omuserikale wa poliisi ekiso ekyamuttiddewo.