TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Daniella yeecanze n'anoba ewa bba Chameleon: Birimu pulomoota Sipapa

Daniella yeecanze n'anoba ewa bba Chameleon: Birimu pulomoota Sipapa

By Josephat Sseguya

Added 30th March 2017

Chameleone akyasattira olwa mukazi we Daniella okusiba emigugu n’anobera ewaabwe nga tayagala kwogera na muntu yenna ku ludda lwa Chameleone.

Gaba 703x422

Chameleon ne famire ye. Ku ddyo ye Sipapa, Chameleon gw'alumiriza okunobesa mukazi we Daniella

Chameleone akyasattira olwa mukazi we Daniella okusiba emigugu n’anobera ewaabwe nga tayagala kwogera na muntu yenna ku ludda lwa Chameleone.

Wabula Chameleone yeesibye ku mukwano gwe ayitibwa Sipapa gw'alumiriza nti alina omukono mu kutabuka kw’obufumbo bwe, bwe yakizudde nti, Sipapa awa Daniella ensimbi ekimusigula obutayagala kudda mu maka.

Ensonda zaayongeddeko nti ne muka Sipapa, Serena Bata yawadde Daniella essimu gy'akozesa mu kiseera kino.

Wabula bino byonna Sipapa yabiwakanyizza n’agamba nti, Chameleone ne Daniella bombi mikwano gye era aludde ebbanga ng'akolagana nabo n’oluusi nga batambulira ne mu mmotoka ze.

Sipapa yayongeddeko nti, Daniella okufuna obuyambi ewa Sipapa tekirina kweraliikiriza Chameleone kubanga akimanyi bulungi nti ba mukwano era talina kintu kirala ky'ayinza kukola nga okumusigula.

Annyonnyola nti, singa omukazi yagenze wa muntu mulala okufuna obuyambi ekyo kyandibaddemu eggumba naye ku muntu bwe baludde nga ba mukwano ye takirabamu mutawaana gwonna.

Kyokka bino Chameleone tabikkiriza, agamba nti yafunye n’amawulire nti okumanya Sipapa yagenze wala, yatuuse n’okufuna ekirowoozo ekipangisiza Daniella ennyumba.

Bino byonna byawalirizza Chameleone okuwaabira Sipapa ku poliisi e Katwe ng’akimutaddeko nti amutiisatiisa okumutuusaako obulabe era nga fayiro y’omusango guno eri nnamba GE48/2017. Guno si gwe mulundi Danniella gw'asoose okunoba.

Mu August wa 2011, yasiba ebintu nadda ewa kitaawe omuto, Fr. John Scalabrini ng’entabwe eva ku Chameleone kugenda mu Muzikiti e Kibuli n’alangirira nga bwe yali asiramuse. Wabula oluvannyuma, Chameleone baamussaako akazito n’awalirizibwa okudda mu Bukatoliki era n’awandiika ebbaluwa nga yeetondera Omulangira Kassim Nakibinge olw’okulabikanga eyali amuzannyisa.

Emirundi mingi Daniella abaddenga atabuka ne bba n’ayagala n’okunoba olw’ensonga ezitali zimu kyokka nga kitaawe omuto omugenzi Fr. John amubuulirira n’akkakkana ekyo ne kiyita ne bagenda mu maaso n’obufumbo bwabwe.

Kyokka ku luno, tekimanyiddwa muntu agenda kubatabaganya kubanga mu kiseera kino Daniella tayagala na kumanya nnamba ya ssimu kw'ali era ng’alabika akyaliko obusungu bungi nga yeetaaga ekiseera okuwummulamu.

Ensonda zaategeezezza nti ekyanobezza Daniella kyavudde ku bba butamuyisa bulungi era nga kigambibwa nti Chameleone emirundi mingi akambuwalira nnyo mukazi we ekisukkiridde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono

Bad1 220x290

King Michael akaayidde Balaam

King Michael akaayidde Balaam