TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abadde akulira Poliisi y'e Bulenga afudde ategeka mbaga

Abadde akulira Poliisi y'e Bulenga afudde ategeka mbaga

By Ponsiano Nsimbi

Added 31st March 2017

ABADDE akulira poliisi y'e Bulenga, Moses Ocitia w'afiiridde abadde ateekateeka kwanjula na kukuba munne mbaga mu mwezi gw'omunaana (August).

Laga1 703x422

Abasirikale nga bakuba eriso evvanvyuma ku mulambo gwa Ocitia (mu katono) eyafiiridde mu kabenje. EBIFAANANYI BYA PONSIANO NSIMBI

ABADDE akulira poliisi y'e Bulenga, Moses Ocitia w'afiiridde abadde ateekateeka kwanjula na kukuba munne mbaga mu mwezi gw'omunaana (August).

Mukulu w'omugenzi, Jackson Batiga ategeezezza nti muto we omwaka oguwedde yakyala mu bakadde abamuzaalira omukyala era babadde bali mu nteekateeka za kwanjula mu mwezi gw'omunana.

 namwandu gnes omugisha wakati ku ssimu ngali mu lumbe Nnamwandu Agnes Komugisha wakati (ku ssimu) ng'ali mu lumbe

Ocitia afiiridde ku myaka 33 ng'alese nnamwanda omu, yeegatta ku poliisi mu mwaka gwa 2012 nga kadeeti nga yatandikira Kawempe nga OC gye yava ne yeegatta ku poliisi y'e Bulenga mu 2015 ng'ono ye yadda mu bigere bya Hassan  Musooba eyaliwo ebiseera ebyo.

 bakungubazi mu lumbe wookubiri okuva ku kkono ye namwandu omugisha Abakungubazi mu lumbe. Owookubiri okuva ku kkono ye Nnamwandu Komugisha

Abadde ne diguli mu by'enfuna okuva mu Uganda Christian Univesrity e Mukono.​

Ocitia yatomeddwa mmotoka ekika kya Super Custom  nnamba  UAT 610S mu kiro ekyakeesezza olunaku  lw'eggulo ku Lwokuna e Lubowa ku luguudo lw'e Ntebe ng'ava okuzzaayo mukwano gwe awaka. Yafudde yaakatuusibwa mu ddwaaliro e Mulago.

 

 basirikale mu lumbe lwa musirikale munnaabwe u kkooti ku ddyo li atende abadde akola ne citia ngalina byannyonnyola omuduumizi wa poliisi ye akiso ustace ashobya Abasirikale mu lumbe lwa musirikale munnaabwe. Mu kkooti ku ddyo, Ali Katende abadde akola ne Ocitia ng'alina by'annyonnyola omuduumizi wa poliisi y'e Wakiso; Justace Tashobya

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A84388d55eaa4efa9fcc00052969dc53 220x290

Omuyimbi Grace Ssekamatte alwanaganye...

Omuyimbi Grace Ssekamatte omu ku ba dayirekita ba Golden band asiibuddwa okuva mu ddwaaliro gy’amaze wiiki nnamba...

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.