TOP
  • Home
  • Agawano
  • Kkampuni ya Kabega bagirumirizza ku bwa ‘mafia’

Kkampuni ya Kabega bagirumirizza ku bwa ‘mafia’

By Musasi wa Bukedde

Added 5th April 2017

ABOOLUGANDA lw’omulamuzi wa kkooti ey’oku ntikko eyafa Amos Twinomujuni balumbye kkampuni ya Tumusiime Kabega nga bagirumiriza okuba ey’aba ‘mafia’.

Kajubi 703x422

Kabega

Mu bbaluwa Reuben Kajwarire gye yawandiikira poliisi, Ssabalamuzi Katureebe, Katikkiro wa Uganda, Uganda Law Society, minisita w’amateeka n’ebitongole bya gavumenti ebirala nga February 10, 2017 alumirizza nti kkampuni eno eya Tumusiime Kabega and Company Advocates ejjudde bamafia era ewoza emisango egy’amaanyi egikomerera ng’abajulizi abakulu n’abapoliisi abaginoonyerezaako battiddwa olwo abazzi b’emisango ne basigala nga bayinaayina ekintu Tumusiime ky’awakkanya ng’agamba nti ono kalebule.

Abamu ku banene kkampuni eno b’ewolerezza mulimu Sarah Nabikolo eyali avunaanibwa okutta bba, Eria Bugembe Ssebunya (omusango yaguyitako), omugagga Kato Kajubi ali e Luzira olw’okusaddaaka omwana Joseph Kasirye(omusango yaguwangula naye omuwaabi wa gavumenti omukulu n’ajulira), Dr. Aggrey Kiyingi eyali ku gw’okutta mukyala we, Robina Kiyingi naye omusango yaguwangula, eyali omubaka wa Arua municipality Godi Akbar eyasingisibwa ogw’okutta mukyala we Rehema Ceasor (omusango yasooka guwangula oluvanyuma gavumenti n’ejulira) Lt. Gen. Henry Tumukunde eyali ku musango gw’obutagondera mateeka, Capt. Ramathan Magara eyakuba abantu amasasi ku Bulange Mengo n’abanene abalala bangi.

Tumusiime agamba nti ebigambo bino bibooleka nga balooya abattemu era abakkiriza okuwoza emisango egyamaanyi n’ekigendererwa ekintu ekikyamu kubanga ye ne banne bagondera amateeka.

Abamu ku balooya abamaanyi abakolera kkampuni mulimu MacDusman Kabega, Tom Magezi n’abalala.

Kati Tumusiime naye agenze mu kkooti enkulu n’aggula ku Kajwarire omusango gw’okumwonoonera erinya n’erya kkampuni lye bakoleredde ebbanga mu maanyi n’obwesimbu era ayagala kkooti emubonereze.

Kajwarire agamba nti Tumusiime alemedde ekiraamo ky’eyali omulamuzi wa kkooti ey’oku ntikko Amos Twinomujuni.

Alumirizza nti oluvanyuma lw’omulamuzi Twinomujuni okufa, omulamuzi Bamwine yeefuga emikolo gy’okumuziika era ye n’akabinja ke be baakola emikolo gyonna awatali kuwa bantu lukusa kubaako kye bakola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...