TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Boofiisa abalala 7 basula ku tebuukye: Abazigu babaweereza obubaka obubatiisa okubatta

Boofiisa abalala 7 basula ku tebuukye: Abazigu babaweereza obubaka obubatiisa okubatta

Added 5th April 2017

ABASERIKALE ba poliisi abali ku lukalala lw’okuttibwa batidde ne bakweka famire zaabwe oluvannyuma lw'abatemu okubaweereza obubaka obuwera okubatta, abazadde ne babasaba bave mu poliisi mu bwangu.

 Afande Omala, omu ku batiisibwatiisibwa okuttibwa

Afande Omala, omu ku batiisibwatiisibwa okuttibwa

ABASERIKALE ba poliisi abali ku lukalala lw’okuttibwa batidde ne bakweka famire zaabwe oluvannyuma lw'abatemu okubaweereza obubaka obuwera okubatta, abazadde ne babasaba bave mu poliisi mu bwangu.

Kino kizzeewo oluvannyuma lw’abatemu okutta Afande Kaweesi.

Abamu ku baserikale abagambibwa okuba ku lukalala lw’abatemu kuliko;

1 Enock Abaine ali ku ddaala lya AIP ng’ali mu kutendekebwa mu ttendekero lya poliisi e Bwebajja ku luguudo lw’e Ntebe.

2 Mohammed Kirumira DPC w’e Buyende.

3 Sam Omala naye ali mu kutendebwa e Bwebajja ku lw’e Ntebe.

4 Dan Ampadde ali ku ddaala IP atwala poliisi y’e Ttula - Kawempe.

5 Grace Turyagumanawe 6 Herman Owomugisha n’omulala ataayatudde linnya lye batuula bufoofofo nga bagamba olaba abatemu bakuba mukama waabwe ate bo!

Omu ku bakola mu kitongole kya SIU eyatidde okwatuukiriza amannya yategeezezza nti abaserikale bangi beekubira omulanga nga bwe waliwo ababatiisatiisa okubatta ne babasindikira n’obubaka obubatiisa nga babusindika ku masimu gaabwe era obubaka buno yasobodde okubutufunirako.

“Obuzibu bwonna buva ku bakama baffe abali mu bifo ebya waggulu abalina enkolagana ey’enjawulo n’abakyamu era ky’ova olaba nga ne Pulezidenti akimanyi. Emivuyo gyo mingi olaba Emmanuel Kabazzi nga y’omu ku babbi abaalumba bbaalakisi y’e Mubende baamuyingiza mu poliisi ne bamukuza”, bwatyo omukozi mu SIU bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti mu February 2014 waliwo ekibinja ky’ababbi ekyava e Kampala okugenda e Mubende okubba edduuka lya ‘Mobile Money’ erya Daj Communication erisangibwa mu kibuga ky’e Mubende, ababbi baali mukaaga nga balina emmundu era abatuuze baatemya ku poliisi y’e Mubende eyali ekulirwa Enock Abaine ne Dan Ampadde eyali akulira ebikwekweto bano baayungula abaserikale ne bawaanyisiganya amasasi n’ababbi okukkakkana ng’ababbi babiri battiddwa okwali Hassan Bukenya ne Abdu Ssenkabira.

Poliisi yasobola okukwatako ababbi babiri okwali ne mukama waabwe Abbey Muwonge ng’ono kkooti y’e Mubende yamuyimbula. Ensonda zaategeezezza nti Muwonge alina ebikonge mu poliisi by’akolagana nabyo mu kubba.

Nga June 19, 2014 ekibinja kyagenda ne kikola obulumbaganyi mu bbaalakisi y’abaserikale ba poliisi e Mubende ku ssaawa 8:45 ne bakuba amasasi ku nju ya Dan Ampadde eyali akulira ebikwekweto ku poliisi y’e Mubende n’ekigendererwa ky’okumutta nga bamulanga okubalemesa okubba edduuka lya Mobile Money n’okutta bannaabwe oluvannyuma baali baakutta Enock Abaine.

Mu bulumbaganyi buno Ampadde yamenyeka omukono, oluvannyuma Kayihura yagenda e Mubende n’agumya abaserikale n’okubeebaza okulwanyisa obumenyi bw’amateeka nga yabasuubiza okukwata abatemu abaali bakoze obulumbaganyi buno kyokka bwe baakwatibwa ne bayimbulwa kkooti era yaleka Ampadde ne Abaine abawadde abakuumi.

Okuva olwo ekibinja ky’ababbi kyatandika okusindikira Abaine ne Ampadde obubaka obutiisatiisa okubatta ekyabaviirako okwekubira enduulu ewa IGP Kayihura ne famire zaabwe ne baziddusa.

Kyokka ekisinga okwewuunyisa, abamu ku babbi abaalumba Mubende nga bamaze okuyimbulwa kkooti, baayingizibwa mu poliisi nga bano kuliko Emmanuel Kabazi ng’ono kati ali ku ddaala lya kopolo.

Sam Omara ali mu kutendekebwa bwe yakubiddwa essimu yategeezezza Bukedde nti Katonda y’akuuma era ekiseera bwe kiriba kituuse aliva mu nsi n’agenda naye eby’okumutiisatiisa tabitya.

Ampadde ne Abaine Bukedde bwe yabakubidde essimu baagaanyi okwogera ku nsonga zino nga bagamba nti baazikwasa Omuduumizi wa poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mbuga ne Vivian

Ebya SK Mbuga ne mukyala we...

JALIA Vivian Mbuga yasoose kuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Face book n’avumirira ebikolwa by’obutabanguko mu...

Obutungulu busobola okukugg...

GWE abadde alowooza nti obwavu bwakwesibako era nga n’olumu weeyita mwavu, okukaaba kwo kukomye anti obutungulu...

Paul Kafeero

Ebya Kafeero okuziikuulwa b...

ABAANA ba Paul Kafeero bana bapangisizza looya omupya okubawolereza mu musango ogwabawawaabiddwa bannaabwe 10....

Engeri Corona gy'akosezzaam...

Engeri abatawulira, abatayogera n’abaliko obulemu obulala ate nga balina obulwadde bw’olukonvuba gye bakoseddwaamu...

Ennyumba Ssendawula gye yazimba e Kayunga.

Famire y'omusama amansa sse...

OLUKIIKO lwa ffamire olwatudde ku nsonga z’omuvubuka wa ‘Rich Gang’ Luke Junior Ssendawula lwasazeewo aziikibwe...