TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyasuulawo omwana we n’agenda okukola poliisi emukutte

Eyasuulawo omwana we n’agenda okukola poliisi emukutte

By Musasi wa Bukedde

Added 5th April 2017

POLIISI ekutte n’eggalira omukazi ng’emulanga kusuulawo mwana we n’agenda okukola obwayaaya.

Kuba1 703x422

Doreen Bako 23, ow’e Katooke - Kisumu mu ggombolola y’e Nabweru mu disitulikiti y’e Wakiso, yakwatiddwa poliisi y’e Katooke ng’emuvunaana kusuulawo mutabani we, Savio Tati.

Kyaddiridde abatuuze okutwalira poliisi amawulire nga Bako bwe yabasuulira omwana omulwadde nga taliiko buyambi, ekyabatiisizza nti ayinza okubafaako nga tebalina we batandikira. Omwana abadde amaze emyezi ebiri nga talaba ku nnyina.

Omutuuze Kadina Nanziri yategeezezza nti omukyala ono yali atunda njeyo kyokka bwakya lumu n’abalekera omwana nga yeefudde agenze ku dduuka wabula baakanda kulinda nga Bako takomawo kati wayise emyezi ebiri, kwe kukubira poliisi.

“Omwana ono tumulabiridde nga buli alina ekyokulya y’amudduukirira wabula tutuuse ne tulemererwa kubanga yakonziba ate buli kadde aba mulwadde. Ng’atuusiddwa ku poliisi, Bako yagambye nti omwana yamusuulawo lwa bizibu kumuyinga. “Omwano ono bukya mmuzaala, kitaawe tampangayo wadde ekikumi.

Nalaba embeera ennemeredde, kwe kufunayo omulimu wabula nga tebaagala mukozi alina mwana, kwe kumulekawo,” Bako bwe yategeezezza.

AIP Henry Mulengani, akulira poliisi y’e Katooke yategeezezza nti Bako bagenda kumukwasa poliisi y’e Kawempe, oluvannyuma atwalibwe mu kkooti avunaanibwe.

Omusango guli ku fayiro nnamba SD:REF 15/30/03/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...