TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Okufuna densite n'okuwandiisa nnamba z'essimu kusattizza abantu mu Kampala n'emiriraano

Okufuna densite n'okuwandiisa nnamba z'essimu kusattizza abantu mu Kampala n'emiriraano

By Alice Namutebi

Added 19th April 2017

OMULAMUZI Joy Kabagye ali mu musango gw'okuggyako amasimu awadde akakiiko k'ebyempuliziganya n'abaakatutte mu kkooti eddakiika 30 bakkaanye ku ky'okuyimiriza okuggyako amasimu agannawandisibwa.

Makindye3 703x422

Abantu nga basimbye ennyiriri e Makindye okufuna endamuntu basobole okuwandiisizaako layini zaabwe. EKIF: PONSIANO NSIMBI

Kino kiddiridde balooya ba UCC nga bakulembeddwaamu Edwin Karugire n'ab'ekibiina ky'obwannakyewa ekimanyiddwa nga Trumpet Ltd. okwesogga akafubo n'omulamuzi Kabagye ne bakkiriziganya basooke bateese.

Enkya ku Lwokuna ensalassale w'ennaku musanvu okuggyako layini z'amasimu agannawandisibwa, eyassiwawo aba UCC bwe ziggwaako, ekintu aba Trumpet ne Norman Tumuhimbise kye bawakanya.

Bagamba nti nsalassale w'ennaku musanvu zokka tamala, UCC yandibadde ekkiriza n'abantu abatalina ndagamuntu okweyambisa pamiti ne paasipooti zaabwe.

Leero abantu ba bakandaaliridde mu nnyirira okwewandiisa okufuna densite, abataazifuna okuziggyayo n'abandi okuwandiisa layini zaabwe.

E Nangabo - Kasangati


Ku ggombolola e Nangabo mu Kasangati tawuni kanso, poliisi eyitiddwa bukubirire okukkakkanya embeera ebadde evudde mu nteeko olw'abantu abangi abakedde okufuna densite. bano bakira bayomba n'okwesooza olw'ababakolako okukola akasoobo. Abamu balabiddwaako nga batuula bwe basituka. Laba ebifaananyi.


 

                                 Ebifaananyi bya Samuel Tebuseeke

Ekibadde e Nakawa


Abatuuze mu munisipaali y'e Nakawa, abatannaba kuwandiisa layini zaabwe emitima gyongedde okubeewanika bangi! Bangi abalabiddwa ku ofiisi za Munisipaali y'e Nakawa okufuna desnite basobole okuwandiisa layini zaabwe.

Ata abalala bakedde Lugogo bakedde ofiisi za kumpini z'amasimu ez'enjawulo. Bakira beemulugunya nga bwe bagezezzaako okuyingiza ennamba eziri ku densite nga tebikola. Kyokka abaakedde okusimba ennyiriri okukulolwako babadde bakyawoza gwa kkapa kuzaala mbwa ate endiga n'ewalampa enju - amasannyalaze bwe gabuuseeko omulundi gumu ne babalagira okugezaako ku 'service center' endala. Bavuddewo batolotooma n'okwesooza. Laba ebifaananyi


  

                                      Ebifaananyi bya Lawrence Kitatta.

E Mukono


Ekibadde e Mukono, ssentebe w'akabondo k'ababaka ba Palamenti abava mu Buganda era nga ye mubaka wa Mukono South mu Palamenti, Johnson Muyanja Ssenyonga atabukidde Gavumenti ku kya nsalessale w'okuwandiisizibwako layini z'amasimu.

“ Tulabye ebintu bingi gavumenti by'ereese n'eteekawo n’ennaku z’ebirina
okukoma wabula kyewuunyisa ate wayitawo akaseera katono ne bitakola, ekintu ekiragira ddala nti gavumenti terina kintu kya nkomeredde," Muyanja bw'ategeezezza.

Bino abyogeredde ku kitebe kya disitulikiti y'e Mukono abantu abasoba mu 300 gye bakedde okweyiwa okufuna desnite zaabwe saako n’abatazirina okwewandiisa.

Obwedda bakonkomalidde mu nnyiriri okukolwako. Laba ebifaananyi


  
  

                                                           Ebifaananyi bya Eric Yiga 

Ate e Makindye


Abaayo nabo bakedde kusimba nnyiriri eziva kuno n'eri nga balinda okufuna densite.

Ennyiriri obwedda zituuka ne mu luguudo era omulyango oguyingira ku ofiisi za Munisipaali obwedda gukuumibwa poliisi nga tewali akkirizibwa kuyingira munda ng'erinnya lye terinnasomebwa. Laba ebifaananyi


  
  

                                               Ebifaananyi bya Ponsiano Nsimbi

Mu Munisipaali y'e Lubaga


Namungi w'omuntu yeeyiye ku kitebe ky'eggombolola y'e Lubaga okufuna desnite, ekiviiriddeko emirimu ku kitebe okusannyalala.

Kino kiwalirizza abakuumi okuggala ggeeti eyingira munda nga bagezaako okutangira abantu ababadde beesomye okuyingira ku kifuba ng'eno bwe bayomba okubakandaaliriza mu nnyiriri. Laba eabifaananyi


                                            Ebifaananyi bya Ali Kizza

E Kawempe nayo abaakedde okufuna densite obwedda bayomba bwe beesooza!


Vvuluga abadde ku kitebe kya Munisipaali y'e Kawempe talojjeka! 

Abantu abaakedde okusimba ennyiriri bakira bayomba oluvannyuma lw'ababakolako okubasaba ssente emitwalo 5 bakolebweko mu bwangu baleme kukandaalirira mu nnyiriri.

Kino kibawalirizza okwekubira enduulu eri Meeya wa Kawempe, Emmanuel Sserunjogi nga bagamba nti bw'ataabayambe ssente ezibasasbibwa okusobola okufuna densite tebazirina. Laba ebifaananyi

  

Ebifaananyi bya Moses Lemisa    

Mu kibuga Kampala obwedda abatannawandiisa layizi z'essimu bayiika nga nkuba


Abantu okuva mu bitundu ebiriraanye ekibuga Kampala n'ebweru waakyo bakira beeyiwa mu bifo awawandiisizibwa layini z'amasimu  okwewala obutasalwako.

Ebimu ku bifo abantu bano gye basinze okwewandiisiza ye Shoprite mu Kampala, okuli 'service centers' za kkampuni z'empuliziganya okuli; Airtel, MTN ne UTL. Obwedda basimbye ennyiriri empanvu kyokka nga ne munda we bawandiisiza wakwatiridde abantu.

Waliwo abategeezezza omusasi waffe nti abafere babadde batandise okweyambisa omukisa guno okubaggyako ssente z'okubawandiisa kyokka nga oluzibawa babulawo oli n'asigala ng'aamaaliridde. Laba ebifaananyi


  
  
 Ebifaananyi bya Moses Kigongo

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....