TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bakubye mutabani waabwe emiggo egimusse lwa kubba 1,000/-

Bakubye mutabani waabwe emiggo egimusse lwa kubba 1,000/-

By Vivien Nakitende

Added 21st April 2017

TAATA ne maama bavudde mu mbeera ne bakuba mutabani waabwe emiggo egimusse, nga bamulanga kubba 1,000/- okuva ku muliraano.

Omwana1 703x422

Abazadde; Ssemuleme ne Nabulya abaakubye omwana waabwe Lukman (ku ddyo) emiggo egyamusse

Hakim Ssemuleme ne Mega Nabulya abatuuze b’e Katwe II mu Ttaawo Zooni be basse mutabani waabwe Lukman Ssemuleme 8, abadde asomera ku Top Graded Nursery and Primary School e Katwe.

Kyategeezeddwa nti Lukuman Ssemuleme yeemakudde n’agenda ku taapu y’oku muliraano n’abbayo ssente 1,000/- ze baabadde basoloozezza ku bakima amazzi.

Kino kyajje Nabulya mu mbeera n’atandika okukuba mutabani we emiggo nga bw’amulaalika nti kati obubbi we bumutuusizza yeetaaga kutta bussi bamuwone.

Omwana yasoose kudduka n’agenda ewa difensi w’ekyalo Abdu Ssemambo asobole okutaasibwa era oluvannyuma yamukomezzaawo ewaabwe. Ekiro Ssemuleme yakomyewo ne bamuloopera mutabani we engeri gye yabbyeemu ssente ku muliraano.

Taata yasoose kussa mutaani we kasiiso ne balya bulungi ekyeggulo ne beebaka. Kyokka ku ssaawa 7:00 mu ttumbi, Ssemulema yazuukusizza mutabani we n’atandika okumukuba nga bw’amulaalika nti, “leero ogenda kufa.”

Difensi Semambo yategeezezza nti yabadde alawuna ekyalo ekiro n’awulira omwana alaajana ng’agamba kitaawe amuwe ku mazzi anyweko kuba yabadde afa obulumi.

Mu kiseera kino obwedda taata agenda mu maaso n’okukuba omwana era naye kwe kusalawo okutegeeza poliisi y’oku Clock Tower ebali okumpi.

Kyokka poliisi yagenze okutuuka nga taata taaliiwo n’omwana gwe yabadde akuba. Nabulya yakwatiddwa ne bamubuuza bba gye yabadde alaze awamu n’omwana gwe babadde bakuba.

Omukazi yabalagiridde e Kabowa ewa Hassan Sempijja muganda wa Ssemuleme nti gye baabadde balaze. Poliisi yabalondodde era okutuukayo nga Ssemuleme atubidde n’omulambo gwa mutabani we.

Thomas Baboiniki, akulira poliisi ya Clock Tower yategeezezza nti abazadde bombi baakwatiddwa nga maama akuumirwa ku Clock Tower ate taata baamusibidde ku poliisi y’e Katwe.

Yagambye nti abazadde baguddwaako omusango gw’obutemu era nga baakutwalibwa mu kkooti ekiseera kyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Gala 220x290

Aba ManCity tebajulira Bravo

CLAUDI Bravo ayolekedde okuvundira ku katebe mu Man City oluvannyuma lw’Omubrazil Ederson, eyaakagulwa mu Benfica...

Gobwa1 220x290

Owa Leicester City akwatiddwa ku...

Leicester, eyawangula Premier mu sizoni ya 2015-16 efuumudde omutendesi Craig Shakespeare olw’okulemwa okulinnyisa...

Waga 220x290

Liverpool etimpudde Maribor ggoolo...

OMUTENDESI wa Liverpool, Jurgen Klopp atenderezza abazannyi be obuteesaasira nga bawuttula Maribor eya Slovenia...

Banga 220x290

'Real Madrid egule Harry Kane'...

EYALIKO Pulezidenti wa Real Madrid, Ramon Calderon awadde abakungu ba ttiimu eno amagezi, okugula Harry Kane okumuggya...

Pala 220x290

Engeri gy’osaggula omukwano mu...

ABASAJJA bangi mulemwa okusaggula obuwoomi bw‛akaboozi ate ne mwekwasa ng‛abakazi bwe batabacamudde, so ng‛ensobi...