TOP

Kayihura alaze abatigomya Kampala n'emiriraano

By Joseph Mutebi

Added 24th April 2017

Omudumizi wa Poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura alaze bannamawulire abantu 34 abagambibwa okutigomya Bannakampala n'emiraano.

Crimial1 703x422

Abamu bantu Kayihura b'alaze abagambibwa okutigomya abantu mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo. EBIFAANANYI BYA PONSIANO NSIMBI NE JOSEPH MAKUMBI

Omudumizi wa Poliisi mu ggwanga, Gen. Kale Kayihura alaze bannamawulire abantu 34 abagambibwa okutigomya Bannakampala n'emiraano.

Bano beenyigira mu butemu bw'emmundu, okubbisa emmundu, abatema ebijambiya, abakwata abakazi, n'emisango emirala.

Mu bakwate, kubaddeko n'abakyala basatu abagambibwa okukolagana n'ababbi. Omu ku bo yeeyita Ssenga ng'ono agambye nti yali akolera mu katale ka Park Yard.

Abalala kuliko; Brian Ssewanyana, Juma Muliirwa, Sulaiman Tusime, Arafat Kayemba, Charles Angol, Asumani Kafuuma, Bashir Kasibante n'abalala.

Oluvanyuma Kaihura asisinkaye abavuzi ba bodaboda ku siteegi ezenjawulo mu Makindye n'abalagira okwewandiisa nga bwe n'okumukwatizaako mu kulwanyisa obumenyi bw'amateeka.

alt=''

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’