TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Kato Lubwama ne Muwanga Kivumbi beerangidde ebisongovu: 'Lubwama baalonda kiwulenge'

Kato Lubwama ne Muwanga Kivumbi beerangidde ebisongovu: 'Lubwama baalonda kiwulenge'

By Kizito Musoke

Added 28th April 2017

EBIPYA ku lutalo lw’okuwanyisiganya ebigambo wakati w’ababaka Kato Lubwama (Lubaga South) ne Muwanga Kivumbi (Butambala) biraze ng’entalo zaabwe zirimu ebya ssente okuva mu banene.

Bukedde 703x422

Kivumbi ne Lubwama

Obutakkaanya bw’abakulu bombi bweyolese mu kakiiko ka Palamenti ak’ebyokwerinda ku Lwokusatu, omuduumizi wa poliisi mu ggwanga , Gen. Kale Kayihura gye yabadde ng’annyonnyola embeera y’ebyokwerinda mu ggwanga.

Abamanyi eby’omunda baategeezezza nti akakuku kaabwe kaludde. Kigambibwa nti lumu Muwanga Kivumbi baali bamukyazizza ku ttivvi emu ne bamubuuza ku nteesa ya Lubwama mu Palamenti.

Mu kwanukula yagamba nti bwe baba boogera ensonga ez’amakulu tezeetaaga kuyingizaamu bintu bwe bityo.

Kino kyanyiiza Lubwama n’alabula Kivumbi nti ne bwe luliba ddi alimukwasa n’amulaga nti musajja okutuusa bwe yasazeewo okumwambalira mu kakiiko ka Palamenti.

Obuzibu we bwavudde ye ssentebe wa kakiiko, Judith Nabakooba (mukazi/Mityana) okugaana Muwanga Kivumbi okusomera akakiiko amannya g’abasibe abaasimbiddwa mu kkooti ku by’okutemula AIGP Andrew Felix Kaweesi.

Yabadde agamba nti abasibe bano baali baakwatibwa dda mu kiseera we battira Kaweesi, nga n’emisango egyabasibisa gyanjawulo.

Nabakooba yawanyisiganyizza ne Kivumbi (minisita w’e by’okwerinda mu Gavumenti y’oludda oluvuganya) ebisongovu nga Muwanga agamba nti ensonga gye yabadde ayogerako yabadde nkulu nga tebayinza kumala gagivaako nga tebaginogaanyizza.

Nabakooba yalemeddeko nti baabadde tebayinza kwongera kugyogerako ng’omusango guli mu kkooti. Kato Lubwama yavudde mu mbeera n’atabukira Muwanga Kivumbi olw’obutassa mu banne kitiibwa.

Yagambye nti mu mbeera nga Nabakooba amaze okusalawo ku nsonga, Kivumbi okugenda mu maaso n’okugyogerako yabadde tabazeemu babaka balala magezi.

Kino kye kyasirisizza Kivumbi, era Nabakooba n’ava ku nsonga ya Kaweesi n’alagira bagende ku nsonga y’okuyisa embalirira y’ekitongole kya poliisi ey’omwaka gw’ebyensimbi ogujja.

Oluvannyuma lw’olukiiko Kivumbi yategeezezza nti ab’e Lubaga South baalonda muwulunge amala galeeta katemba nga bateesa ku nsonga z’amakulu.

Kyokka ne Kato Lubwama yamwambalidde n’ategeeza nti Kivumbi asussizza okwefuula ow’ekitalo n’okwerowoozaako yekka.

Yategeezezza nti Kivumbi aludde ng’amumanyiira n’okuyisa mu ssentebe Nabakooba amaaso ng’ayagala ababaka abalala bonna batambulire ku ky’ayagala.

“Oyo Muwanga Kivumbi mwana ku nze, olw’okuba amanyi okuvuma agenda amanyiira buli muntu. Kyokka yanguddeko kuba namumazeemu amaalo, era sijja kulwana naye okuggyako okumukuba obukubi.” Kato Lubwama bwe yategeezezza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...

Kaweesitdweb 220x290

Abavunaanibwa okutta Kaweesi beeyanjudde...

Nga bakulembeddwa munnamateeka waabwe, Geoffrey Turyamusiima, okuva mu Wameri & Company Advocates beeyanjudde mu...

Katwe3web 220x290

Aba Ghetto beegaanye Butchaman...

Kawooya yagambye nti ku lunaku Museveni lwe yali e Katwe, abavubuka b’omu Ghetto e Katwe tebaayitibwa newankubadde...