TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bamusibye emyaka 8 lwa kukaka mukazi we kaboozi amusiige siriimu

Bamusibye emyaka 8 lwa kukaka mukazi we kaboozi amusiige siriimu

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2017

Charles Atayo omutuuze w’e Nakigalala - Kimese zooni mu Kajjansi Tawuni Kanso, mu disitulikiti y'e Wakiso atuuyanidde mu kaguli ka kkooti Enkulu e Ntebe omulamuzi Joseph Murangira bw'amukalize okwebaka emyaka 8 mu nkomyo lwa kukaka mukyala we kaboozi nga teyeeyagalidde n'ekigendererwa eky'okumusiiga siriimu.

Atago 703x422

Atago ng'ali mu kaguli ka kkooti. EKIF: YUDAAYA NALWEGAYO

BYA YUDAYA NALWEGAYO

Kino kiddiridde omuwawaabirwa okukkiriza omusango gwe yali yegaanye mu kusooka era okusinziira ku bujulizi bw’oludda oluwaabi, Atayo omusango yaguzza nga 24, June wa 2013 bwe yagezaako okwegatta ne mukyala we Margret Terere Eleku ow'emyaka 35 ku mpaka ng'akimanyi bulungi nti ye (Atayo) alina akawuka akaleeta mukenenya kyokka ng'omukazi yali mulamu.

Kino kyaddirira abafumbo bano okufuna obutakkanya okumala ebbanga oluvannyuma lwa Terere okutegeera nga bba bwe yaganza abakyala abalala n'afuna siriimu wabula ng'akola efujjo n'amukaka akaboozi okumala ebbanga lya myezi 4 ng'ayagala okumusiiga akawuka, ekyamuwaliriza kwekudduukirira ku poliisi e Kajjansi eyasitukiramu okutaasa embeera.

Bw'abadde awa ensala ye, omulamuzi yavumiridde obutabanguko mu maka obulese ng'amaka mangi gagudde  n'alaga ng'omuwawaabirwa bwe yayolesa omutima omutemu okusiiga mukyala we akawuka ka siriimu ku mpaka, kwe kumuwa ekibonerezo ekyo libeere essomo eri abantu abalala kyokka n'amukuutira obutasaasaanya kawuka ng'amaze ekibonerezo kye.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.