TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bakyala ba Hajji Kiyimba bamutaddeko akazito ku bufumbo bwe ne Maama Fiina

Bakyala ba Hajji Kiyimba bamutaddeko akazito ku bufumbo bwe ne Maama Fiina

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2017

HAKKI’ za Hajji Abdul Kiyimba zimutaddeko akazito abannyonnyole lwaki yabagasseeko Sophia Namutebi (Maama Fiina).

Twala 703x422

Hajji Kiyimba ne Maama Fiina lwe baali e Bulenga mu lumbe lw’eyali bba omugenzi Maj. Kiggundu.

Abakyala bano bagamba nti babadde basuubira bbaabwe okusooka okubeebuuzaako ku nsonga eno.

Kiyimba alina abakyala basatu okuli ow’e Kyengera, e Maya n’ow’e Busega.

Ku bano kwe yagasse Maama Fiina ng’era bwe watabaawo kikyuka, embaga oba okuwoowa kugenda kubaawo ng’ekisiibo ky’Abasiraamu tekinnatandika.

Omu ku bali ku lusegere lw’omukyala wa Kiyimba ow’e Busega agamba nti, omukyala ono ayitibwa Nankya Matovu, ye yasinze okunyiiga nga yeebuuza bbaabwe ky’anoonya.

Kigambibwa nti amaze ebbanga ng’alengera bbaabwe ng’ali mu mmotoka ne Maama Fiina ng’abiyita bya kusaaga kyokka kyamuweddeko bwe yategedde nti bulijjo gw’alengera afuuse muggya we.

Nti era aliko be yabuuza ng’asinziira ku dduuka lye eritunda engatto e Nateete n’agamba nti, “naye bbaffe alimba, mu bakazi bonna alabyeyo ono eyaakafiirwa bba gw’asazeewo okutugattako?”

Ye mukyala mukulu ow’e Kyengera twategeezeddwa nti tasalikako musale era amawulire g’enteekateeka za bbaabwe gaamukubye wala kyokka n’anyumizaako banne nti k’asooke alinde Haji Kiyimba amutuukirire mu butongole amubuulire eby’okumugattako Maama Fiina.

ENGOYE Z’EMBAGA BAAZIGUZE DUBAI

Okumanya Hajji Kiyimba ne Maama Fiina omukolo gwabwe bagwetegekedde bulungi, engoye z'omukolo gwabwe zaamaze dda okutuuka nga baaziguze Dubai.

Baazigula mwezi guwedde era bwe baakomawo Hajji Kiyimba yasibira wa ddobbi omu ku kizimbe kya Nateete Shopping Center n’atikkula emigugu gy’engoye ze baali baguze olwo batandike okuzirongoosa.

Omu ku beerabirako yategeezezza nti kwaliko essuuti mukaaga, empale mwenda, jjiini 15, T-Shirt 15 n’amasaati 20.

Ewa ddobbi engoye zaamazeeyo ennaku ttaano nga bamaze okuzigolola olwo Maama Fiina ne Hajji Kiyimba ne bazikima ku ssaawa 5:00.

Wabula kigambibwa nti mukyala muto (Nankya Matovu) atunda engatto z'abaana e Nateete yabadde agenze okuggyayo engoye z'omwami we nga bulijjo, kyokka kyamubuuseeko okutuukayo ne bakamutema nga bba bwe yazitwala edda.

Wano we baakamutemedde nti engoye zaatwaliddwa omugole ng’ali ne bbaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...