TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Maana Fiina Kulaani emukkiriza okufuna omusajja omulala’

‘Maana Fiina Kulaani emukkiriza okufuna omusajja omulala’

By Musasi wa Bukedde

Added 5th May 2017

Sheikh Haruna Gguggwa agamba nti omukazi bw’aba akyali mwana muto oba ng’akyazaala n’ayitibwako endwala ssatu (okugenda mu nsonga emirundi esatu) aba akkirizibwa okufuna omusajja omulala amuwoowa n’amwetwalira ng’amaze okufiirwa bba.

Haji1 703x422

Hajji Kiyimba ne Maama Fiina

Ate bw’abeera omukadde nga takyazaala, asobola okumala emyezi esatu n’addamu n’afuna omusajja omulala.

Sheikh Zaakayira Kiwalyanga ng’ono muwandiisi wa Busiraamu mu Mityana ne Mubende agambye nti omukazi bw’afiirwa bba, alina kumala emyezi ena n’ennaku 10 olwo n’alyoka addamu okufumbirwa.

Bombi bakkaanyizza nti omusajja bw’aba y’afiiriddwa omukazi, ye talina kakwakkulizo kamugaana era asobola n’okuva emagombe n’awoowerawo kasita abeera n’obwetaavu n’obusobozi.

Yagasseeko nti, Nabbi Muhammad (SAW) yatukuutira okubawasa bwe tuba nga tubeegombye, kuba kino kibayamba okubamalako ennaku ya babbaabwe. Ennyumba erimu bamulekwa malayika tezivaawo.

ENKOLA MU BUGANDA

Wilson Ssentoogo ow’Ekibiina ky’Olulimi Oluganda era Katikkiro w’ekika ky’Enjobe yagambye nti omukazi mu Buganda bw’afiirwa bba, asobola okuddamu n’afuna omusajja omulala amuwasa singa olumbe lubeera lumaze okwabizibwa.

Kyokka kino omukazi mu kukikola alina okuva mu nnyumba ya bba n’agenda abeera mu maka g’omusajja amututte ne bakola obufumbo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.