TOP
  • Home
  • Essomero
  • Londa yunivasite entuufu ssente zo zireme kukufa

Londa yunivasite entuufu ssente zo zireme kukufa

By Musasi wa Bukedde

Added 8th May 2017

Sossolya bw’atafa atuuka ku lyengedde. Embeera eno etuukira ku bayizi abeetegekera okwegatta ku matendekero aga waggulu okusoma kkoosi.

Yuwa1 703x422

Abayizi abatikiddwa.

Omuyizi alina okusalawo obulungi ku ttendekero lye yeegasseeko asobole okufuluma ng’ebbaluwa ezitowa era ng’asobola okuvuganya ku katale k’emirimu.

Bw’aba wa kwegatta ku yunivasite alina okumanya omutindo gwayo. Zirimu ebika okusinziira ku busobozi bwe zirina. yunivasite eri ku mutindo y’eyo eyaweebwa ebbaluwa ya Caata.

Ebbaluwa eno eweebwa akakiiko akavunaanyizibwa ku byenjigiriza ebya waggulu aka National Council for Higher Education (NCHE) Okusinziira ku mukutu gwabwe gwa Yintaneeti ogwa www.unche.or.ug gulanga nti yunivasite bw’eba yaakatandika eweebwa layisinsi ey’ekiseera nga bw’ekyetereeza.

Eno okkirizibwa okukola okumala emyaka esatu. Akakiiko bwe kakasa omutindo nga baweebwa ebbaluwa ya Caata.

Amatendekero ga Gavumenti go gali ku mutindo era galina ebbaluwa ya Caata.

Wabula amatendekero ag’obwannannyini galina okusooka okwekenneenyezebwa okukakasa omutindo olwo ne gaweebwa ebbaluwa ya Caata.

Ng’oggyeeko ebbaluwa ya yunivasite erina Caata okuzitowa, ze yunivasite zokka ezikkirizibwa Londa yunivasite entuufu ssente zo zireme kukufa okusomesa diguli eyookusatu.

Yagambye nti wadde tulina yunivasite nnyingi mu ggwanga ezirina ebbaluwa ya Caata ziri 9 okuli Uganda Christian University, Bugema University, Ndejje University, Nkumba University, Bishop Stuart, Kampala International University, Kampala University, Uganda Martys University ne Islamic University in Uganda eno yakakasibwa palamenti kubanga baali baagala yunivasite eri ku musingi gw’obusiraamu Yunivasite bw’eba ne layisinsi ekkirizibwa okusomesa abayizi wabula tubeera tuzirondoola noolwekyo ebbaluwa ze bawa abayizi zikkirizibwa.

Ezimu ku yunivasite ezigwa mu ttuluba lino mulimu Busoga University, Kampala University, Kumi University, Agha Khan University in Uganda, Kampala, Kabale University, All Saints University Lira, African Bible University Entebbe, Uganda Pentecostal University Fort portal, Fairland University Jinja, Bishop Stuart University Mbarara, St. Lawrence University Kampala, Muteesa I Royal University Masaka, International Health Sciences University Kampala, Mountain of the Moon University Fort poral, Cavendish University Kampala, Victoria University, International University of East African Kansanga, African Rural University Kagadi, Islamic Call University College Kampala, ne Livingstone International University Mbale.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanywarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...

Omwanangasenaamazzikuluzziwebusemwana 220x290

Ab'e Birinzi balindiridde kulwala...

Kaabuyonjo ze tusima mu musenyu okw'enkuba zibooga kazambi n'ajjula enju zaffe