TOP
  • Home
  • Diaspora
  • Bannayuganda ababeera ebweru bakubiriziddwa okwenyigira mu by'obulimu awaka

Bannayuganda ababeera ebweru bakubiriziddwa okwenyigira mu by'obulimu awaka

By Musasi wa Bukedde

Added 11th May 2017

Bannayuganda ababeera emitala w'amayanja baweereddwa amagezi okuteeka ssente mu by'obulimi n'okutondawo amakolero.

Ta1 703x422

Amagezi gabaweereddwa Muky. Florence Kiremerwa, omuwabuzi wa Pulezidenti Museveni ku nsonga za Bannayuganda ababeera mu mawanga g'ebweru bwe yabadde ayogerera mu musomo gw'eby'obusubuuzi n'okusiga ensimbi ogwa Midland ogw'omulundi ogw'okuna ogwatekeddwa ku West Brownish e London ku Lwokubiri.

"Bangi ku ffe okumala ebbanga tukoze emikwano n'okutondawo enkolagana n'abantu be tusobola okusendasenda ne bajja okusiga ensimbi mu nsi yaffe ey'obuzaaliranwa," Kiremerwa bwe yategeezezza.

 

Kiremerwa yayongeddeko nti Gavumenti ya Uganda efubye okussaawo embeera ennungi esobozesa eby'obusuubuzi, okusiga ensimbi ssaako n'ebintu ebirala ebisikiriza n'okuyambako bamusigansigo abagwiira okutondawo bizinensi mu ggwanga.

Yagambye nti Gavumenti yataddewo ekifo ekyenjawulo mu kitongole kya Uganda Investment Authority (UIA); okwanguyiza ku bayinvesita n'okuggyawo emisoso emingi baleme kukaluubiriza naddala ku mutendera gw'okuwandiisa bizinensi  mu kitongole kya Uganda Registration Bureau Services (URBS).

"Tuyinza okwetaaga okusomesa n'okusendasenda mikwano gyaffe ne kampuni ze tukolera okusiga ensimbi mu Uganda.  Omulimu kati gwaffe okusikiriza mikwano gyaffe okukozesa omukisa guno okufuula Uganda ekifo gye bayinza okusiga ensimbi zaabwe naddala mu by'obulimi n'okulambula," Kiremerwa bwe yategeezezza.

Kiremerwa yabakubirizza okutumbula eby'obulambuzi bwa Uganda ebikyakula era nga byetaaga okukwatirako ennyo nga bayita mu kusendasenda mikwano gyabwe okujja okulaba eby'obulambuzi omuli ensolo n'obutonde bw'ensi obulungi okuzaama bye bayinza n'okusigamu ensimbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dham 220x290

Embeera y’omubaka Dhamuzungu yeetaga...

Omubaka Dhamuzungu asimattuse okufiira mu kabenje k’e mmotoka, embeera ye yeetaga kusabira.

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...

Nucafe 220x290

Abalimi b’emmwaanyi babakuutidde...

KAWEEFUBE w’okutumbula okulima emmwaanyi mu ggwanga aba aBi bakwatagangye n’ekibiina ekigatta abalimi b’emmwaanyi...