TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • ‘State House’ ekozesa amazzi ga bukadde 6 buli lunaku!

‘State House’ ekozesa amazzi ga bukadde 6 buli lunaku!

By Ahmed Mukiibi

Added 19th May 2017

ABABAKA ba Palamenti bawuniikiridde bwe bakitegedde nti amaka g’Obwapulezidenti gakozesa amazzi ga bukadde mukaaga olunaku!

State 703x422

Amaka g'obwapulezidenti e Ntebe

Kino ababaka abatuula ku kakiiko aka bajeti akakulirwa Amos Lugoloobi (Ntenjeru - North) baakitegedde Lwakusatu nga basisinkanye Minisita w’Ensonga Ezobwapulezidenti Esther Mbayo Mbalakubuza bwe yabadde abannyonnyola ku nsimbi obuwumbi 23 n’obukadde 187 ezeetaagibwa mu bwangu okuddukanya amaka g’Obwapulezidenti (State House).

Minisita Mbayo eyabadde n’abakungu b’omu maka g’Obwapulezidenti, yategeezezza nti obuwumbi 23 bazeetaaga mu bwangu okubasobozesa okumalako omwaka gw’ebyensimbi 2016/17 oguggwaako mu June kubanga ssente ezaabaweebwa zaggwaawo dda.

Yalaze n’ensimbi obukadde 615 ezeetaagisa okusasulira bbiiru z’okukuba amasimu n’obukadde 220 ez’okusasulira amabanja g’amasannyalaze.

Ababaka baatadde ku nninga minisita Mbayo ku kye baayise okwejalabya n’okuyiwaayiwa ssente mu kaseera ng’embeera y’ebyenfuna mu ggwanga mbi nnyo.

Ensimbi ezo amaka g’Obwapulezidenti ze gasaba ze zimu ku buwumbi 523 n’obukadde 935 Gavumenti ze yasabye Palamenti ng’ennyongereza okuziba ebituli mu bajeti y’eggwanga.

Minisita Mbayo yatemyetemye ensimbi obuwumbi 23 n’obukadde 187 nga bwe zeetaagibwa nga kuliko obukadde 365 ezeetaagibwa okusasulira amazzi ga State House mu bbanga eribulayo.

Ensimbi ezo bwe zigattibwa ku zaasooka okussibwa mu bajeti ya 2016/17 okusasulira amazzi, ababaka baakizudde nga buli lunaku amaka g’Obwapulezidenti gasaasaanya obukadde mukaaga ku mazzi gokka!

Ensimbi endala amaka g’Obwapulezident ze geetaaga ziri obuwumbi 9 n’obukadde 550 ez’okutambula kwa Pulezidenti Museveni munda mu ggwanga mu bbanga eribulayo okumalako omwaka gw’ebyensimbi 2016/17.

Waliwo n’ensimbi obuwumbi 3 n’obukadde 500 ez’okutambula kwa Pulezidenti Museveni ebweru w’eggwanga mu bbanga eribulayo okutuuka ku bajeti ejja.

Obuwumbi 5 n’obukadde 28 zaakukola ku byakwerinda ate obuwumbi bubiri n’obukadde 434 zaasaasaanyizibwa mu kakiiko Pulezidenti ke yassaawo okubuuliriza ku mivuyo gy’omu Yunivaiste e Makerere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini