TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Gav't egonzezza eby'okutwala abantu ku kyeyo: Bafunye obuweerero

Gav't egonzezza eby'okutwala abantu ku kyeyo: Bafunye obuweerero

By Muwanga Kakooza

Added 19th May 2017

GAVUMENTI ekoze endagaano n’amawanga ga Buwarabu agawerako enaasobozesa Bannayuganda okugendayo okukuba ekyeyo mu mbeera eyeyagaza.

Janatmukwaya703422 703x422

Minisita Janat Mukwaya ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire ku Media Centre mu Kampala gye buvuddeko

GAVUMENTI ekoze endagaano n’amawanga ga Buwarabu agawerako enaasobozesa Bannayuganda okugendayo okukuba ekyeyo mu mbeera eyeyagaza.

Kino kidiridde gavumenti okuyimirizakoa abakozi naddala abawala abakola awaka okutwalibwa mu Buwarabu olw’ebigambibwa nti batulugunyizibwa. 

Gavumenti era etaddewo obukwakkulizo ku by’okutwala abantu ku kyeyo ng’egenderera okulaba nga tebatuuka eyo ne batulugunyizibwa.

Minisita w’ekikula ky’abantu, Janat Mukwaya ategeezezza Palamenti nti gavumenti ekoze endagaano ne Saudi Arabia ne Jordon enaasobozesa Bannayuganda abagendayo okukuba ekyeyo nga teri abatulugunya.

Endagaano endala zigenda kukolebwa ne Quatar, Kuwait, Bruhan, Oman ne UAE (Dubai ).

Mukwaya ategeezezza nti abakuba ekyeyo mu Buwarabu baweereza mu Uganda ensimbi ezisoba mu buwumbi 18 buli mwezi.

Abali ku kyeyo  mu mawanga agatali gamu nga batwaliddwayo amakampuni agakola omulimu guno  bawera nga 50,000.

Minisita agambye nti gavumenti yasisinkanye abakwatibwako ku by’okutwala abantu ebweru ne bakkaanya ku nsonga ezitali zimu ez’okumalawo omuze gw’okukusa abantu n’okutulugunya abagenda ku kyeyo mu mawanga agamu.

E Saudi Arabia, Mukwaya yagambye nti yagenzeeyo n’azuula nti teri kutulugunya bakozi ba waka abatwalibwayo mu mateeka  nga bayitira mu makampuni agabatwala kyokka ng’abakukusibwa bo batulugunyizibwa.

Abawala 200 ababadde batulugunyizibwa e Saudi Arabia baakomezeddwaawo 

E Saudi Arabia Uganda  etaddeyo ofiisi evunaanyizibwa ku bagendayo okukuba ekyeyo era abawala 200 ababadde batulugunyizibwa bakomezeddwayo.

Gavumenti eyongedde amaanyi kibiina ekigatta amakampuni agatwala abantu ku kyeyo ekya ‘’ Uganda Association of Recruitment Agencies’’.

Kati abatwala abakozi balina kubakwasa makampuni agaawandiisibwa mu mateeka mu mawanga gye batwalibwa.

Abagenda ku kyeyo baakwekenneenyezebwa

Abagenda ku kyeyo baakusookanga kwekenneenyezebwa bitongole bya gavumenti wamu n’okusomesebwa ku ngeri y’okweyisaamu nga batuseeyo.

Bagenda kusabwanga okuggulawo akawunti ne Post Bank okuyisangamu ssente zaabwe zireme kuliibwa bang’anda n’okusobozesa gavumenti okulondoolwa okulaba oba basasulwa bulungi.

Ku kisaawe ky’enyonyi e Ntebe wagenda kussibwawo amakungu abavunaanyizibwa ku bagenda ku kyeyo era nga batuuseeyo amawanga agamu gagenda kubawanga essimu z’omu ngalo okutegeeza abakwatibwako bwe baba bafunye obuzibu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mulaalo 220x290

Museveni awadde famire ya Kirumira...

TAATA w’omugenzi Kirumira eggulo yakimye ssente okuva ewa Pulezidenti. Zaamukwasiddwa omuyimbi Catherine Kusasira...

Mbaata 220x290

Ekirwanya omuyimbi Kusasira ne...

OMUYIMBI Catherine Kusasira Serugga avudde mu mbeera n’agugumbudde Minisita Persis Namuganza nti, “Tonzungirako...

Bobiwineouganda 220x290

Abamerika bongedde okussa akazito...

ABABAKA babiri aba Palamenti ya Amerika (House of Representatives) bawandiikidde omubaka wa Uganda mu Amerika nga...

Yogo 220x290

Ababaka balumurizza UPDF ku kutulugunya...

ABABAKA ba Palamenti bongedde okwanja obujulizi ku magye ga UPDF okutulugunya, okutyoboola eddembe ly’obuntu n’okusaanyaawo...

Wano 220x290

Mugisha Muntu y'ani?

Amannya ge ye Gregory Mugisha Muntuyera, kyokka amanyiddwa nnyo nga Mugisha Muntu.