TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Donald Trump bamutaddeko akakiiko kamunoonyerezeeko

Donald Trump bamutaddeko akakiiko kamunoonyerezeeko

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2017

EMIKISA gya Pulezidenti wa Amerika Donald Trump okumalako ekisanja kye eky’emyaka ena gyongedde okukendeera olw’engeri abaagala okumusuuza entebe gye bafunze ekyonga.

Donaldtrumpimpeachment806146 703x422

Donald Trump

Trump assiddwaako akakiiko akakulemberwa munnamateeka kafulu mu kuffeffetta ebyama Robert Swan Mueller III, eyaweereddwa obuvunaanyizibwa okunoonyereza ku nkolagana y’enkambi ya Trump ne Russia mu biseera bya kampeyini.

Akakiiko kalagiddwa okuzuula oba waliwo kyonna ekimenya amateeka Trump kye yeenyigiramu. Robert Swan Mueller III yaliko Dayirekita w’ekitongole kya bambega ba Amerika ekya Federal Bureau of Investigation (FBI) okuva September 4, 2001 okutuuka September 4, 2013 lwe yasirikirwa James Comey ,eyagobeddwa Trump ku Lwokubiri oluwedde.

Mueller era aweereddwa obuvunaanyizibwa okuzuula oba ddala Russia yayamba Trump okuwangula okulonda kwa Pulezidenti wa Amerika n’afiiriza Hillary Clinton n’ekibiina ky’aba Democrats.

Mueller yalondeddwa omumyuka wa Minisita w’Ebyamateeka Rod Rosenstein.

Obuyinza obuweereddwa Mueller bwa ‘Special Counsell’, ekitegeeza nti aweereddwa obuvunaanyizibwa bwa kunoonyereza oba waliwo obumenyi bw’amateeka mu byakolebwa Pulezidenti n’ab’enkambi ye mu kiseera ekya kampeyini.

Mu mateeka ga Amerika, ‘Special Counsell’ alina obuyinza bungi okunoonyereza nga tewali amukuba ku mukono omuli n’eyamuwa omulimu kyokka ate eyamulonda amulinako obuyinza okumuggyako omulimu ogwo nga bwe gwali mu 1974, Archibald Cox bwe yalondebwa okubeera ‘Special Counsell’ mu kunoonyereza okwakazibwako ‘Watergate scandal’ wabula yali akyanoonyereza, Pulezidenti Richard Nixon n’amugoba. Leon Jaworski ye yamuddira mu bigere kyokka ekyo tekyawonya Nixon.

KITEGEEZA KI OKUNOONYEREZA KU TRUMP

Okunoonyereza kuno tekulina kalungi konna eri Pulezidenti kubanga kusobola okuvaako okumusuuza entebe singa Mueller azuula obujulizi obumala Palamenti ya Amerika okumuggyamu obwesige. Olwo kiba kitegeeza nti omumyuka Mike Pence y’amalako ekisanja kye.

Wabula emikisa gya Mueller okuzuula obujulizi obw’enkukulana nti Trump alina kye yakola ekimenya amateeka si kyangu kubanga obuyinza obumuweereddwa abamanyi eby’omunda bagamba nti ab’enkambi ya Trump bagenda kukola kyonna ekisoboka okukweka obujulizi obuyinza okubaluma.

OKUNOONYEREZA KUNAAMALA BBANGA KI?

Okunoonyereza kwa Mueller bwe kunaaba kwanguye nnyo, kuyinza okumala ng’omwaka gumu. Kyokka kusobola okumala n’emyaka ena, nga n’ekisanja kya Trump kyaggwaako dda.

Embeera eno yaliwo mu 1987, Pulezidenti Ronald Reagan bwe yassibwako munnamateeka okumunoonyerezaako ku nsonga za Iran wabula ebyava mu kunoonyereza byagenda okufuluma nga Reagan yavaako dda.

Mueller ow’emyaka 73 asuubirwa okutandika mu bujjuvu okunoonyereza ku Trump mu myezi mukaaga. Amateeka galagira Mueller okukola nga yeetengeredde kyokka mukama we ye Rosenstein, eyamulonze.

SITIDDE - TRUMP

Pulezidenti Donald Trump eggulo yafulumizza ekiwandiiko amangu ddala nga Mueller yaakalangirirwa okumunoonyerezaako n’agamba talina ky’atya.

“Nga bwe mbadde nkyogera emirundi mingi, okunoonyereza okw’omuggundu ku byogerwa ku nsonga za Russia kwetaagisa naye sitidde,” Trump bwe yagambye.

Yagasseeko nti akimanyi nti okunoonyereza kugenda kuzuula naye yennyini (Trump) ky’amanyi nti tewali musango gwonna gwe yazza era tewali kipya kigenda kuzuulibwa.

“Kampayini zaffe zaali nnyonjo nnyo, tewali muntu oba nsi yonna yeeyingiza mu kulonda era nneesunga okulaba nti ensonga ziva mu ddiiro kubanga nnina okukolerera n’okulwanirira abantu baffe abaatussaamu obwesige okubakulembera,” Trump bwe yagambye n’agattako nti ye w’ali mugumu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lum1 220x290

LUMAAMA Francis alabudde abantu...

LUMAAMA Francis alabudde abantu okukomya okwetundako ebinja

Seg1 220x290

Omusibe afiiridde mu kaduukulu...

Omusibe afiiridde mu kaduukulu asattiza Poliisi y'e Namanve

Mus1 220x290

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo...

Eyasibidde omwana we mu kabuyonjo Polisi emunoonya

Kub1 220x290

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde...

Omugagga Cameroon Gitawo ayogedde ekibadde kimubuzizza

Mob1 220x290

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza...

Omukozi wa Gavumenti bamuyimirizza ku mulimu lwa kwambala mmini