TOP

Omuyizi abadde abuzaawo bodaboda asimattuse

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2017

POLIISI y’e Nakulabye etaasizza omuyizi wa Ndejje University ku bantu n’emuggalira oluvannyuma lw’abatuuze okumukwata ng’akukusa bodaboda ya munnaabwe ng’agezaako okugibuzaawo.

Ma 703x422

Owapoliisi Namanya ng’aliko by’abuuza Nasasira (ku ddyo).

Brian Nasasira 23, ng’asula Nakulabye ng’ali mu mwaka gwe ogwokubiri ng’asoma byabusuubuzi y’asimattuse okuttibwa bw’akwatiddwa ng’abuzaawo pikipiki ekika kya Bajaj Boxer nnamba UEM 669Q.

Bino byabaddewo ku Mmande ya wiiki ewedde e Nakulabye mu zooni 5 ku ssaawa 5:00 ez’emisana.

Kyaddiridde nnyini yo okugisimba okumpi ne w’asula n’agenda yeggame enkuba eyabadde etonnya.

Enkuba ng’ekendedde, Nasasira yazze n’agisimbulawo n’abuulira abaabaddewo nti nnyini yo y’agimutumye.

Wabula nnyini yo yagenze okujja nga teriiwo ne bamugamba nti agiggyeewo abagambye nti y’agimutumye.

Yatemezza ku ba bodaboda banne ne bavuga ne bamusanga ng’agipaakinze ku mabbali g’ekkubo ayogera ku ssimu era bw’abalabye n’adduka wabula ne bamugoba ne bamukwatira e Nakulabye ng’anaatera okutuuka ku poliisi okwewonya okuttibwa ekiwalirizza ababaddewo okumutwala ku poliisi.

Nnannyini pikipiki ye Brian Musige. Rogers Namanya, akulira poliisi y’e Nakulabye yategeezezza nti bagenda kumuggulako ogw’obubbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...