TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Zari ayogedde ebyama mu Ssemwanga: Omulambo gwajjidde mu mannya ga Ali Ssennyomo

Zari ayogedde ebyama mu Ssemwanga: Omulambo gwajjidde mu mannya ga Ali Ssennyomo

By Martin Ndijjo

Added 2nd June 2017

OMUGENZI Ivan Ssemwanga nze mbadde mutegeera nzekka!

Iva1 703x422

Zari ne Ivan Ssemwanga ng'omukwano gukyabasaza mu kabu

Bwatyo Zari bwe yatandise emboozi ye n’omusasi waffe mwe yayogeredde ku bulamu obwekyama ku eyaliko bba Ivan Ssemwanga.

Zari Hussein gwe twasanze mu maka ga nnyina e Munyonyo okubaako by’ayogera, kiddiridde Bannayuganda okumulumiriza ssaako n’abooluganda nti ye yavaako okufa kwa Ssemwanga.

Mu birala bye yayogeddeko mwe mulimu engeri omulambo gwa taata w’abaana be gye gwajjidde mu mannya agatali gage ku kisaawe e Ntebe ne lwaki, lwe yagasimbaganye n’omuwala mu ddwaaliro ng’azze okujjanjaba eyali bba, ebyobugagga bye balina, obutakkaanya ne famire ya Ssemwanga, ekituufu ekyatta Ssemwanga, engabana ssaako okulangirira akakiiko akassiddwaawo okuddukanya emmaali y’omugenzi n’okulabirira bamulekwa.

Ekituufu ekyasse Ssemwanga Nga twakaddamu okukolagana ne Ssemwanga mu February w’omwaka guno, nnamusaba agende yeekebeze puleesa.

Yabigaana n’ambuuza nti omugagga alwala puleesa? Ezo ndwadde za baavu!

Awo ne nsooka muvaako naye eba ebula ennaku nnya Ssemwanga agwe ekigwo ekyamuleetera okusannyalala, waliwo omukozi omu ku ssomero lya Brooklyn City College e Pretoria eyamucankalanya.

 ari bwe yalabise ku wokusatu ngatunnyannyola ebikwata ku semwanga Zari bwe yalabise ku Lwokusatu ng’atunnyannyola ebikwata ku Ssemwanga.

Bwe baali bayomba, nagenda okulaba nga Ssemwanga atuuyana nnyo.

Omu ku bakulu ku ssomero eryo kwe kujja n’aggyawo Ssemwanga n’amutwala mu ofiisi emu mwe yamutuuza akkakkane.

Naddamu ne mugamba nti okyali mu kusaaga naye puleesa yo eri waggulu era n’atabitwala nga kikulu.

Nga wayiseewo ennaku nnya, Taata Pinto (nga bwe mbadde muyita) n’ansindika ku ttabi ly’amasomero ge eddala erisangibwa mu ssaza lya Nelspruit okulaba emirimu bwe gitambula.

Mba ndi ku lugendo, essimu yange n’eggwaako omuliro ekintu ekitatera kubaawo.

Bwe nafuna we ngicaajingira, egenda okuddako nga kuliko amasimu agaakubiddwa ne sigakwata (missed calls) eziwera 20.

Zonna zaali ssimu za Ivan nga y’akuba. Bwe naddamu abaagikwata ne bantegeeza nti Taata Pinto y’abadde akukubira, pulesa emukubye era tumuddusizza mu ddwaaliro Medic Clinic e Pretoria.

 ari nabaana be mu kuziika semwanga e ayunga Zari n’abaana be mu kuziika Ssemwanga e Kayunga.

Eno namusanga embeera mbi ddala kwe kumuggyayo ne tumutwala mu ddala eddene erya Steve Biko.

Bwe wamutuukako baakugamba nti puleesa evudde ku ki?

Bantegeeza nti bwe yannyuka, yagenda ku kabalaza w’asula ne banne ne banywa omwenge mungi ddala.

Bwe yatuuka awaka n’alinnya gy’asula gye yagwiira, kwe kuyita omukozi n’amugamba nti afa naye ng’ayagala kumuyitira maama Pinto (Zari), nabo kwe kumuyoolayoola ne bamuddusa mu ddwaaliro.

Bwe watuuka mu ddwaliro lya Steve Biko, abasawo baakugamba nti abadde ki?

Eno gye bantegeereza nti yali asannyaladde (stroke) ng’ate ne puleesa eri waggulu ne bagamba nti ekika ky’okusannyalala kye yali afunye, abantu 90 ku buli 100 abatuuka ku mbeera eno tebawona.

Baayongera okumukebera ne bazuula nti bwe yagwa, ogumu ku misuwa gwakutuka era omusaayi ne gumutonnya ku bwongo.

Bantegeeza nti bwe wanaabaawo ekyamagero Ivan okulama, kibalirwa ku bitundu 10 ku buli 100 kyokka ng’ekyo kirina kubaawo mu bbanga lya mwezi gumu.

Bwe guggwaako ng’obujjanjabi tebunnabaako kye bukyusa, yali alina kulangirirwa nti afudde. Nti kyokka bw’anaaba tafudde, yali ajja kusigalawo naye ng’alinga omwana omuto nga byonna by’akola tabitegeera.

Kiki ekyaddako ng’abasawo bakuwadde amawulire ag’entiisa gatyo?

Wakati mu kutya, nakkiriza abasawo basooke bakkakkanye puleesa, olwo bamulongoose tulabe oba Katonda anaayamba.

Si buli muntu gwe twali naye nti yakikkiriza. Era wajjawo okusika omuguwa nga King Lawrence azze n’omuwala agamba nti ye mukyala wa Ssemwanga omutuufu.

Omuwala ono namanyaako nti bamuyita Dudu. Kino nakiwakanya era ne ntegeeza abasawo nti nze mukyala we omutuufu era amulinako obuvunaanyizibwa. Wano nabategeeza nti oba kuliko akyabuusabuusa nzigyeyo empapula eziraga nti nze ne Ssemwanga tuli bafumbo.

Oluvannyuma abasawo banzikiriza nti nze mutuufu era ne nzisa omukono ku bbaluwa y’abasawo ekkiriza Ivan okulongoosebwa.

Kiki ekyaddako?

Enkola y’e South Afrika, teri nnyo bino bya bajjanjabi nga bwe kiri e Uganda. Nze nayogeranga na basawo ne bambuulira embeera gy’alimu kyokka ekyankuba ewala, mu bbanga lya wiiki bbiri nga bamaze okumulongoosa, nga tewali njawulo.

Ku Lwokusatu lwa wiiki gye yafiiriddemu, ku makya, abasawo baatuyita ne batugamba tujje tusiibule omulwadde. Tuba twakatuukawo ate abasawo ne batugamba nti gwe tuzze okusiibula tumuweemu akadde awummuleko.

Olwo ekiro ky’olwo nakuba essimu ku ssaawa nnya ez’ekiro ez’e South Afrika ne mbuuza embeera gy’alimu abasawo ne bantegeeza nti tewali njawulo naye ne bantegeeza neetegeke. Ku ssaawa 8:30 nga bukya ku Lwokuna, bankubira essimu nti afuddde.

 ikwano gya semwanga nga giyuza akapapula okwabadde erinnya lya li ennyomo eryajjidde ku ssanduuke omwabadde omulambo gwe Mikwano gya Ssemwanga nga giyuza akapapula okwabadde erinnya lya Ali Sennyomo, eryajjidde ku ssanduuke omwabadde omulambo gwe.

Amannya ga Ivan amatuufu y’ani?

Kituufu Ssemwanga azze akyusakyusa amannya okusinziira ku mbeera gy’alimu naye e South Afrika abadde yeeyita Ali Sennyomo era mu ddwaaliro Sennyomo gwe baabadde bajjanjaba era n’omulambo ku kisaawe e Ntebe gwaleeteddwa mu linnya lya Ali Sennyomo.

Kwe kugamba omuntu eyaziikiddwa e Kayunga ye Ali Ssennyomo?

Nedda, ye Ivan Semwanga kuba erya Sennyomo libadde likola South Afrika yokka nga bw’atonnya ku kisaawe e Ntebe afuuka Ssemwanga omugagga omuto ate olutuuka ku kisaawe kya Oliver Tambo International Airport e South Afrika ng’afuuka Ali Ssennyomo.

Amasomero ge mugamba nti mugalina e South Afrika ddala gye gali oba mufererako bantu?

Gyegali era twagatandika mu 2008. Twagatandikira mu ka ofiisi katono ddala naye ne tugaziwa mu ngeri naffe gye twewuunya.

Mu gano kuliko Brooklyn City Colleges, Hartland Training, Brooklyn School of Policing, Kingsbridge College, Menlyn Technical Colleges, Norah School of Nursing ne Brooklyn City High School.

Amasomero gano galina amatabi mu bibuga mwenda okuli Pretoria n’ebirala.

Naye bwe wali obuuzibwa ku ttivvi emu wagamba nti mulina essomero limu?

Ekyo sijjukira kukyogera.

 semwanga ku kkono ne mikwano gye bwe baali balya obulamu Ssemwanga (ku kkono) ne mikwano gye bwe baali balya obulamu.

 

Ebyobugagga ebirala Ssemwanga by’alese bye biruwa?

Waliwo ennyumba bbiri ng’emu mw’abadde asula ate ng’endala yagimpa mwe nsula nga zonna ziri mu kibuga Pretoria.

Mu Uganda, abadde alinawo ekizimbe ky’e Makerere yadde nga kiriko ebbanja naye oyo atubanja tugenda kumusasula.

Tugenda kukimaliriza kuba ebikozesebwa byonna weebiri era tusuubira nti we kinaggweera, kijja kusobola okulabirira bamulekwa.

Akakiiko akaalondeddwa Olw’okusika omuguwa okubaddewo ng’abamu balowooza nti nja kubba ebintu bya bamulekwa, twasazeewo okussaawo akakiiko ka bantu basatu okukola ku nsonga zino.

Akakiiko kaliko nze kennyini maama w’abaana, George Ssemwanga (Sir Pinto) n’omulala Shaban. Bano bonna bali South Afrika nti naye olw’okuba emmaali eri South Afrika ate nga n’abaana gye basomera, abo bajja kuba basobola okulondoola emirimu. Wabula n’abakadde abali eno e Uganda, balina obuvunaanyizibwa okulondoola ebikolebwa okulaba nga tusigala ku mulamwa.

Kati abaana baakusigala wa ng’oli mu ddya lya Diamond Platinumz?

Baze mu kiseera kino Diamond yangulira ennyumba e South Afrika era eno abaana baffe ne Ivan gye babadde bava okugenda okusoma ate ku wiikendi ne bagenda ewa kitaabwe.

Kino Ivan abadde akimanyi era bwe tugenda okusigala kuba ne Diamond takirinaako buzibu.

Ssemwanga alese ssente mmeka ku akawunti ye kuba abadde mugagga muvundu!

Tekuli yadde n’ekikumi! Nga dayirekita w’amasomero gaffe, abadde afuna omusaala ogugwe kyokka ng’olugufuna ng’aguggyayo ng’azisaasaanya mu kuzigabira abantu n’okuzinywa.

Emirundi mingi olubadde okuzikwatako, ng’alinnya ennyonyi okujja e Uganda okuzirya era ng’ebiseera ebimu zimuggwaako n’asigala lukebe okutuusa ez’omusaala endala lwe zijja.

Lwaki tewamukaabidde?

Nze nnali nagakaaba dda okuva lwe bantegeeza nti tagenda kuwona.

Kati wetwatuukidde e Uganda nga ganzigwamu dda!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo