TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Zari ayombye ne King Lawrence ku kuddukanya emmaali ya Ssemwanga

Zari ayombye ne King Lawrence ku kuddukanya emmaali ya Ssemwanga

By Joseph Mutebi

Added 5th June 2017

ZARI ayombye ne King Lawrence mu lukiiko olwayitiddwa okulonda amannya g’abantu abana abanaayamba okuddukanya ebyobugagga bya Ivan Ssemwanga.

Zarierichcuts8703422 703x422

King Lawrence, muganda wa Ssemwanga. Ku ddyo ye Zari ne Ssemwanga nga bakyali mu mukwano . EKIF: MARTIN NDIJJO

Zari okuva mu mbeera, kyaddiridde erinnya lya King Lawrence (Lawrence Muyanja) okuleetebwa ligattibwe ku kakiiko akalina okuddukanya ebintu Ssemwanga by’alese e South Africa ne mu Uganda.

King Lawrence yalangidde Zari (Zarinah Zaitun Hussein) okulekawo Ssemwanga n’afumbirwa omuyimbi w’e Tanzania Diamond Platinum n’amuzaalira n’abaana babiri, kyokka n’ayagala ate okwefunza ebintu bya Ssemwanga kye yagambye nti biyinza okumaliriza nga bigasizza Diamond n’abantu be.

Kyokka ne Zari yazzizza omuliro n’akolokota Lawrence okugujuubanira emmaali ya Ssemwanga nti era mu kwagala okuddukanya ebintu ebyo, Lawrence agulaba ng’omukisa okwenaazaako ebbula ly’ensimbi ly’alimu ennaku zino.

Olukiiko lwetabiddwaamu abamu ku bagagga b’omu Kampala abalumirirwa famire ya Ssemwanga okwabadde Godfrey Kirumira ne Joseph Bbosa era baafubye okukkakkanya Zari ne Lawrence era ku nkomerero akakiiko ne kalondebwa nga kaliko Zari, Lawrence, mwannyina wa Ssemwanga ayitibwa Ritah ne mukulu wa Ssemwanga ayitibwa George Ssemwanga Kimbowa (Pinto).

Akakiiko kalina okukola okutuusa ng’abaana abasatu Ssemwanga b’alese bawezezza emyaka 18.

Olukiiko lwatudde Muyenga ku Lwomukaaga akawungeezi. Lawrence teyaziise Ssemwanga era yategeezezza nti mu kwetawula ku ddwaaliro lya Steve Biko Academic Hospital e Pretoria nga muganda we ono afudde, teyasobola kufuna nnyonyi emuleeta mu budde okukkakkana ng’atuuse okuziika kuwedde.

Wabula banne baali bagambye nti ensonga z’empapula ne Pasipooti bye byali bimulemesezza. Akagugulano kaatandikira ku ddwaaliro nga Lawrence aleese omuwala Dudu n’ategeeza nti oyo ye mukazi wa Ssemwanga omutuufu, wabula Zari n’abiwakanya.

Lawrence yagambye nti omuwala ono gy’ali era abadde mukazi wa Ssemwanga kyokka bwe yalaba akavuyo n’asalawo okubyesonyiwa kubanga tanoonya bintu.

Omu ku baabadde mu lukiiko yategeezezza Bukedde nti enju ebbiri Ssemwanga z’abadde alina e Sandton ne Pretoria mu South Africa, kyasaliddwaawo Zari abeere mu nnyumba emu n’abaana ate endala bagipangise eveemu ensimbi.

Zari yakwasiddwa obuvunaanyizibwa ku masomero kyokka waabaddewo okusika omuguwa nga Lawrence ayagala Zari asigale ku Brooklyn College e South Africa ate amalala Lawrence agaddukanye.

Baasazeewo okukolera awamu okulemesa abaagala okuziikula Ssemwanga olwa ssente ze baamuziise nazo e Nakaliro, Kayunga.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...