TOP

Omukazi eyakuza Ivan Ssemwanga alaze bwe yapanga okufuna ssente

Added 7th June 2017

LUKIA Mukalazi Ssentebe wa Wansanso Zooni e Kibuye nnyina wa Ssemwanga omuto eyamukuza ayogedde ku bulamu bwe naategeeza nti ebintu bingi ebibadde byogerwa ku mutabani we nga byesigamiziddwa ku batamutegeera abeefuula abamutegeera ennyo.

 Lukia Mukalazi eyakuza Ssemwanga e Kibuye. Ku ddyo ye mugenzi Ivan Ssemwanga

Lukia Mukalazi eyakuza Ssemwanga e Kibuye. Ku ddyo ye mugenzi Ivan Ssemwanga

Lukia  era ye yagambye nti Ssemwanga y’amuleze okuva nnyina Lazia Namulondo eyali mukulu we lwe yafa nga 08/12/1995  nabaleka nga bato. Mu kiseera ekyo Ssemwanga yali atandiikiriza okuvubuka.

Abaana bano okuli: Shaban Gwayita, Ivan Ssemwanga, Ritah, George William Ssemwanga n’omugenzi  Brian Ssemwanga bakulidde bukojja mu mikono gyange ne baganda bange.

“Obugagga buva bukojja era Ivan gy’abuggye. Ate ne kitaabwe, omugenzi George William Ssemwanga okufuna ssente yali mukulu wange Namulondo eyamuyamba okuzifuna nga yaakwatagana ne taata waffe eyali nnaggagga, Hajji Zakaria Mubi Musiitwa e Kirindi Bugerere n’abayambako okutandikawo bizinensi’’. Lukia bw’agamba.

Lukia yawakanyizza ebibadde byogerwa nti Ivan yakulira  mu mikono gya kitaawe e Bugerere n’agamba nti yakulira Kibuye.

Agamba nti Ivan e Bugerere abadde amanyiiyo kubanga gye baali babeera nga bakadde be bakyaliwo  naye yali tajjumbira kugendayo era abadde yaakatandika.

ENGERI LUKIA GYE YAKUZAAMU IVAN:
 
Ivan Ssemwanga amannya ge amatuufu ye James Lutaaya. Ye mwana owookubiri mu mukulu wange Namulondo.  
Ivan Ssemwanga (ku kkono) okuva buto ng’anyirira.

Twali twamukazaako lya  “Pikolo” kubanga yali munene ng’atusanyusa ate ng’alina ekyejo.

Ivan  Ssemwanga (ku kkono) okuva buto ng’anyirira.

Yasomera Namiryango Junior, Namagabi UMEA, Narambaayi P/S e Jinja ate siniya yagisomera Eagles Nest P/S  gye yamalira S6 n’agenda e South Afrika . 

ENGERI TAATA WA IVAN GYE YAWASAAMU MUKULU WANGE

Maama wa Ivan yali musomesa mu Natteta P/S  nga bba Ssemwanga atera okutwalayo ebyokulya by’abayizi. Yamwegomba n’atandika okumukwana.

Oluvannyuma Namulondo yakyusa essomero n’adda e Kasawo P/S.

Yafuna olubuto lwa Ivan ne basenguka ne badda mu Kayunga.

Namulondo yalaba bali mu mbeera mbi kwe kusaba taata waffe ssente bakole ne bba oluvannyuma bazimuddize.

Taata waffe, Hajji Zakaria Mubi Musiitwa e Kirindi Bugerere yali musajja mugagga.

Yalina ebyuma ebikuba ssukaali ggulu, emmwaanyi, kkooko, ettaka n’ebirala ebivaamu ssente.

Yawa Namulondo ssente ne batandika okusuubula ebintu e Busia ne bagaggawala. Ssemwanga yalaba embeera ekyuse omulimu n’aguyigiriza  baganda be nabo ne bamweyungako.  

Wabula embeera ya ddukadduka yabawahhangusa ne basengukira e Jinja n’abaana baabwe. Mu biseera ebyo obubbi bwali bungi era lumu baabayingirira ne bakuba taata wa Ivan ne baagala okumutta.

Obulamu bwe bwakaluba ne baddukira ewange e Kibuye n’abaana.

Embeera bwe yatereeramu, Ssemwanga yaddayo atereeze edduuka lye.

Wabula olw’okuba famire yali agirese wange yakomangawo ng’agamba nti ebintu tebitambula bulungi. Olumu mu bizinensi yalekangamu Ivan Ssemwanga ne bakola bombi.

Lazia Namulondo (aliko ssaako) maama wa Ivan Ssemwanga.
 

Ssemwanga yalwala mu kiseera kitono n’afa era olwamala okuziika abehhanda ne bagabana abaana wabula  baabalemerera ne bavaayo gye bali babatutte ne bakomawo e Kibuye.

BAYANJULA HERBERT LUYINDA

Mu lumbe,  baayanjula omwana ow’ebbali Herbert Luyinda gwe baali baleese era abehhanda ne basalawo okumussaako ng’omusika nga bagamba nti abaana baffe ba byejo.

Oluvannyuma Namulondo naye yafa mu ddwaaliro e Kibuli abaana ne basigala ku bukojja  ne tutandika okubaweerera.

OBULAMU BWA  IVAN 
 • Abadde  mwana mugezigezi  ate nga mukozi okuva mu buto. Oluusi yagendanga ne kitaawe (omwami wange) Mukalazi Nsubuga n’amuyigiriza okukanika era nga ssente z’afuna azongera ku bisale by’essomero. 
 • Yali mukujjukujju era ng’ayagala nnyo ssente era kino kyamuwalirizanga okukola okuzifuna. 
 • Yayagalanga nnyo okulya akatogo era bwe yakomangawo mu biseera ebyasooka nga takabuusa maaso. 
 • Yali ayagala nnyo abantu  era nga  mugabi ate bw’akuze ne kisukka. Abadde ayamba abantu bangi era bangi baatutte e South Afrika ng’akyusizza obulamu bwabwe.
 
ENGERI  IVAN GYE YAGENDAMU EBWERU
 
 • Bwe yakula yafuna ebibinja by’abavubuka be yabeeranga nabo. Yakyuka mu mbeera ng’abeera ne ssente.  Lumu yakeera n’antegeeza bw’agenda ebweru ne ndowooza nti annimba. 
 • Okumanya yali mukujjukujju nakitegeera oluvannyuma nti ne paassipoota gye yakozesa yali mu mannya malala ga Abdu Karim kyokka nga yamuyisaawo. Yakomawo mu Uganda oluvannyuma lw’emyaka ena. Yajja n’emmotoka ekika kya BMW enjeru gye baali bacakaliramu. Wabula banne twawuliranga bamuyita ‘Shaba wasaba’  nga ge mannya g’akozesa e South Africa.
 • Twaddamu okumuwuliza nga mugagga era abadde atuyamba. Yandeetera mukyala we Zari n’amundaga ng’ali lubuto lwa mutabani waabwe omukulu nga lwa myezi esatu nga tebannaba wadde okulowooza ku by’okwanjula. Twasigala tuli bamukwano nga tuwulizinganya.
Ssemwanga (ku ddyo) ne ttiimu y’omupiira ya Namagabi UMEA e Kayunga.
 
IVAN SSEMWANGA ANSIIBULA MU BISEERA BYA SSEKUKKULU:
 • Kirabika lw’asembyeyo okujja mu Kampala abadde ansiibula era nange kirabika nafuna ekyebikiro nga simanyi kubanga nagwa ekigwo eky’amaanyi e Nansana nga tuva okuziika ne nkubawo amaviivi n'ettama ne mpisibwa bubi.
 • Twasembayo okubeera ne Ivan  ku kabaga ke yakola mu maka ge e Munyonyo. Yankubira essimu n’antegeeza nga bw’anneetaaga  ng’aliko ebintu byandeetedde abinkwase kyokka nga kkeesi ttaano zonna yali azirese ku nnyonyi. Omuntu gwe yatuma okuzikima yagenda okuzimutuusaako ng’ebintu byonna baabibbyemu. Yandaga kkeesi eyali eyange nga nkalu kyokka n’ahhumya nti bwanaakomawo mu August w’omwaka guno ajja kundeetera buli kye mmutumye. 
 • Yateekako essimu ne twogerako ne Zari era n’antegeeza nga mukaziwe bw’amukomezzaawo mu mmaali y’abaana baabwe basobole okugitambuza.
 • Bino byonna twabyogerera mu bbaala ey’omulembe gye yakola mu maka ge gano ag’e Munyonyo, era kwolwo buli eyayingiranga mu bbaala eno ng’azina nange ne ntandika okubiibyamu.
 • Ivan yampaana nti maama otambulira ku mulembe era onyirira  olabika bulungi. Bwe natuula n’ayongera okuzina nga bwa hhamba nti maama gano gago nga simanyi nti ansiibula.
 • Nazzeemu okumuwuliza nga bahhamba nti mulwadde ne nsooka mbiyita eby’olusaago. Tubadde  tuwuliziganya ne banne abali mu South Afrika kyokka nga bagamba  nti yeetaaga kusabira era okutuusa lwe baamubise .
 • Nsigadde mu nnaku kubanga ndi mulwadde wa ssukaali era simanyi bwe hhenda kutambuzaamu bulamu bwange. Ivan y’abadde anzijanjaba nga buli olumbe lwe lungwira ng’aweereza mangu ssente nga banzijanjaba.  Yansitula n’antwala e South Afrika ne banneekebejja n’okumpa eddagala lyonna eddungi eryannyamba okukkakkanya ku bulwadde buno.
 
BABADDE BATEEKATEEKA KUMUFUuLA MUSIKA WA KITAAWE

Ab’ekika kya Ivan babadde bateekateeka kuggyako Herbert Luyinda eyali yabasikira bateekeko Ivan, era ensonga babadde baazituusa mu baganda bange nga bagamba nti baakola ensobi okusikisa Luyinda wabula Ivan ye yali omulenzi omukulu era nga bateekateeka kumukwasa kifundikwa.

JJAJJA WA SSEMWANGA YE YAMUGABIRA KU BUGAGGA 
 
Ssemwanga ne mukwano gwe omuwala ng’akyasoma.

Wabula Deborah Iga muwala w’omugenzi Pinto Lutaaya Katula, (ssenga wa Ivan Ssemwanga) yategeezezza nti Ssemwanga okufa nga mugagga ku myaka emito tekyewuunyisa kubanga obugagga bubali mu musaayi.

Agamba nti jjajja we yali muwandiisi w’essaza ly’e Bugerere, omusuubuzi w’ebirime okwetooloola Kayunga ng’era y’omu ku basajja abaasooka okuzimba ennyumba ey’omulembe e Nakaliro we baaziise Ssemwanga.

Yalina amaduuka mu Kayunga era yali musaale mu nkulaakulana n’okuzimba ekibuga Kayunga ate ng’alina n’ettaka eddene. 

Yayongeddeko nti, ne kitaawe wa Ssemwanga, George Pinto Ssemwanga yali musajja musuubuzi ng’akola ne nnyina. Yagambye nti taata wa Ssemwanga yatandika okusuubula emberenge ng’akyasoma S4 n’akola nga bwasoma. 

Agattako nti ebintu bye yasuubulanga yabitundanga mu Kikuubo mu Kampala nga bwayambibwako nnyina wa Ssemwanga Liize Ssemwanga nabo ne bafuna ssente ezeeyagaza era embeera gye baakuliramu okusooka nga si mbi.

Ebyembi, kitaawe wa Ssemwanga yafa oluvannyuma lw’abajaasi okumukuba emiggo ne bamusuula ku Nile Mansions kati eyafuuka Serena Hotel. 

Baamuddusa mu ddwaaliro ly’e Namirembe kyokka oluvannyuma yafa obulwadde bw’ensigo nga buva ku miggo gye baamukuba era okuziika bwe kwaggwa abaana ne babagabana. 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo