TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abavuganya mu kalulu e Kyadondo batuuyana

Abavuganya mu kalulu e Kyadondo batuuyana

By samuel tebuseeke

Added 8th June 2017

EBBUGUMU lyeyongedde mu kunoonya akalulu ka Kyadondo East. Kati asinga okuyiiya obukodyo, y’afuna abawagizi mu nkuhhaana ze!

Wambu 703x422

Bobi Wine n’abawagizi be e Katadde.

Eggulo abeesimbyewo basiibye banoonya akalulu mu miruka egy’enjawulo.

Sitenda Sebalu (NRM) yabadde Kabubbu, Robert Kyagulanyi abasinga gwe bamanyi nga Bobi Wine yabadde Katadde, Apollo Kantinti yagenze e Nangabo ate Muwada Nkunnyingi yabadde Masooli.

Obwedda abawagizi b’abeesimbyewo beesaza ng’ow’akagatto akamu.

Kantinti (FDC) yagambye nti abamunenya nti talina ky’abakoledde okuva lwe yayingira palamenti balyoke bamuggyeyo, balinga abatakimanyi nti omubaka amala emyaka etaano mu palamenti kyokka ye amazeeyo emyezi mwenda gyokka. Yasabye bamuzzeeyo amalirize bye yali atandiseeko.

Ate Ssebalu ab’e Kabubbu yabasuubizza okubakolera ku kizibu ky’amazzi ng’ayiseemu n’abasaba baleme kulonda muyimbi kubanga mu palamenti teri kuyimba wabula kuteesa.

Olwo enduulu n’evuga okuva mu bawagizi. Abalala obwedda gye bayiggira akalulu, ye Dr. Sowedi Kayongo ne Lillian Kamome (DP) baabadde bawummuddemu.

Muwada bwe yabadde e Kabubbu, yafunye akadde n’ayesa n’abatuuze omweso ate Bobi Wine ewuwe ng’ogamba kivvulu! Okulonda kwa nga June 29, 2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye