TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Zari atandise okuddukanya emirimu gya Ssemwanga: Gimuwuuba

Zari atandise okuddukanya emirimu gya Ssemwanga: Gimuwuuba

By Musasi wa Bukedde

Added 8th June 2017

ZARI Hussein olwatuuse e South Afrika n’atandikirawo okuddukanya emirimu gy’eyali taata w’abaana be Ivan Semwanga eyaziikiddwa wiiki ewedde.

New8 703x422

Zari

Zari yategeezezza nti emirimu gy’ayolekedde mingi ddala naye mumalirivu.

Yagambye nti ekisinga okumumenya mu kiseera kino gy’emirimu gya ofiisi evunaanyizibwa ku kuddukanya amasomero etamuwa bwekyusizo olw’enkiiko n’abantu b’asisinkana buli lunaku okukola ku bizibu byabwe ate ng’omuzadde n’abaana beetaaga obudde bwe okuli n’abato be yazaala mu muyimbi Omutanziania Diamond Platnumz.

Okulaga nti takyalina bwekyusizzo, Zari eggulo bwe twamukubidde essimu olwabadde okugikwata yatwanukudde nti, “nnyamba otuukire ku nsonga kubanga kino kyendiko nze nkimanyi.

Mu ofiisi ninamu abantu be nkolako ate ne wabweru waliwo abannindiridde eyo kati y’embeera gye mpitamu mu kiseera kino”! Ono era avunaanyizibwa ku nzirukanya y’amasomero amalala okuli; Hartland Training College, Booklyn School of Policing, Kings Bridge Colleges (gano gali ga King Lawrence n’agaguza Ssemwanga), Menlyn Technical Colleges, Norah School of Nursing ne Booklyn City High School gona agalina amatabi mu bibuga bya South Africa eby’enjawulo.

Yagambye nti mumalirivu okutuukiriza obuvunaanyizibwa kuba abaana oluva ku ssomero mmotoka ebatwala butereevu awaka ate Diamond naye bw’abeerayo awaka amuyambako okulabira ku bato.

Yasabye abakyamuweereza obubaka nga bamubuuza ku by’okufa kwa Semwanga bamwesonyiwe n’omufu bamuleke awummule mirembe.

Ate ye King Lawrence owooluganda lw’omugenzi era omu ku balondeddwa ku kakiiko k’okulabira emmaali y’omugenzi n’abaana agamba tagenda kukkiriza kya kusimula ntaana ya Semwanga ng’abamu abamaze okusaba kkooti nga bawakaanya eky’okuziika omugenzi ne ssente.

N’okutuusa kati, abantu babiri okuli; Gideon Tugume ow’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya Human Rights Defenders Association Uganda ne Mgungu Abbey bakyesimbye mu ky’okuziikula entaana ya Ssemwanga nga baagala ssente ze bamuziika nazo ziggyibweyo n’abavubuka abazikasukayo bavunaanibwe era bano kati balindiridde ekinaasalibwawo kkooti enkulu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...

Simba 220x290

Omubaka wa Amerika atadde akaka...

ABADDE Ambasada wa Amerika mu Uganda alabudde ku ky’okukyusa obuyinza mu Uganda mu mirembe bw’ategeezezza nti,...

Bod1 220x290

Aba Boda boda babagobye ku njaga...

Aba Boda boda babagobye ku njaga ne babawa obujaketi