TOP

Abagabanye ebya Polof. Mukiibi baabano

By Musasi wa Bukedde

Added 9th June 2017

POLOF. Mukiibi yalese agabye ebyobugagga bye okuli n’amasomero omusanvu wamu ne yunivasite ya St. Lawrence e Lubaga.

Tulina 703x422

Polof. Lawrence Mukiibi n’abamu ku bayizi be aba London College Maya n’akulira essomero lino bwe yali abakwasa ebisumuluzo bya bbaasi ku ntandikwa y’omwaka guno.

Engabanya yalese agirambise mu buwandiike, ebiwandiiko n’abiwa balooya ate ebirala n’abitwala mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa amakampuni ne bizinensi zonna mu ggwanga ekya Uganda Registration Services Bureau (URSB).

Engabanya yagikoledde mu migabo era gigenda gikyukakyuka ku buli ssomero.

Amasomero ga Polof. Lawrence Mukiibi 69, gali 7 ne yunivasite ya munaana era ge gano:

1 St. Lawrence London College – Maya

2 St. Lawrence Horizon Campus – Budo

3 St. Lawrence Crown City Campus – Katende

4 St. Lawrence College Paris Palais Campus

5 St. Lawrence Citizen (Creamland) Campus – Nabbingo

6 The Academy of St. Lawrence - Buddo

7 Lorencia Junior School – Nsangi 8 St. Lawrence University - Lubaga

ENGERI GYE YAGABYE

Okusinziira ku biwandiiko ebiri mu kitongole kya URSB, buno bwe bwannannyini bw’amasomero nga bwe yalese abulambise mu biwandiiko:

The Academy of St. Lawrence

Essomero lya The Academy St. Lawrence lisangibwa Buddo, okumpi ne Budo Junior School.

Ebiwandiiko by’essomero lino biraga nti kumpi lyonna yalirekedde muwala we omukulu, Maria Justine Tulina. Yaligabanyizza abaana be babiri bw’ati:

  • Maria- Justine Tulina (Teacher) alina emigabo 95 ku 100.
  • Jane Ssemakula (Social worker) alina emigabo 5 ku 100 Ebiwandiiko biraga nti abawandiisi ba kkampuni eya The Academy St. Lawrence Limited bali babiri okuli: Maria Justine Tulina ne Elizabeth Jemima Nabawanuka. Kkampuni ya The Academy St. Lawrence Limited yawandiisibwa nga June 7, 2013.

London College – Maya

  • Lawrence Mukiibi alina emigabo 600
  • Peter Kimuli alina emigabo 200 l Maria Justine Tulina alina emigabo 100
  • Peter Ssemakula alina emigabo 100. Bonna bannannyini St. Lawrence London College bali ku ndagiriro y’emu; P O Box. 9472. Kkampuni eno erina emigabo 1000 era ku baana, Kimuli y’asinzaamu emigabo.

St. Lawrence Citizens’ High School (Creamland)

 ulina muwala wa ukiibi omukulu Tulina, muwala wa Mukiibi omukulu

 

Lyawandiisibwa nga October 20, 1999 era nalyo Tulina ye muwandiisi wa kkampuni mwe baaliwandiisiza eyitibwa St. Lawrence Citizens’ High School Ltd.

Paris Palais

Ebiwandiiko ebikwata St. Lawrence School and Colleges Paris Palais Limited erisangibwa e Maya biraga nti lyawandiisibwa nga July 28, 2005 era Mukiibi yaligabanya bw’ati:

  • Mukiibi Lawrence (emigabo 60)
  • Maria Justine Tulina (emigabo 20)
  • Ssemakula Peter Richard (emigabo 10)
  • Kimuli Peter Ssemakula (Emigabo 10)

Ebiwandiiko bya Paris Palais biriko omukono gwa munnamateeka Gilbert Marere ESQ, owa kkampuni ya Nyakana & Co. Advocates;

 

 

St. Lawrence Citizens’ High School

  • Lawrence Mukiibi alina emigabo 60 ku 100
  • Maria Justine Tulina alina emigabo 40 ku 100. Essomero eryo lyawandiisibwa nga October 20, 1999 okusinziira ku kiwandiiko Cerficate of Incorporation era Tulina ye muwandiisi wa kkampuni ya lya St. Lawrence Citizens’ High School Limited.

St. Lawrence University (SLAU) Lubaga

Yunivasite ya SLAU yawandiisibwa January 17, 2007 kyokka nga May 15, 2016 Mukiibi yaweerezaayo ebiwandiiko ebiraga obwannannyini nga biriko bano wammanga:

  • Mukiibi Lawrence (emigabo 60)
  • Maria Justine Tulina (emigabo 20)
  • Ssemakula Peter Richard (emigabo 10)
  • Kimuli Peter Ssemakula (emigabo 10)

Wadde Mukiibi yalese abaana abasukka mu 50, be yawadde emigabo tebawera 10 wabula kigambibwa nti yakwasa Tulina, Kimuli ne Ssemakula obuvunaanyizibwa okulabirira bato baabwe nga bakozesa emigabo egiri mu mannya ga Mukiibi.

Ebisingawo ku by’engabana n’olukalala lw’amannya g’abaana be yeekakasa bigambibwa okuba nga yabirese mu kiraamo ekitannasumululwa.

Lorencia Junior School

Ebiwandiiko by’essomero lino ebiri mu ofiisi za URSB, biraga nti alirekedde abantu basatu okuli ne Betty Nakato abadde atwalibwa nga mukyala we amanyiddwa; gwe yasooka n’okutwala mu maka g’e Kitemu – Nsangi.

Nakato alina abaana 5 be yazaala ne Mukiibi.

Essomero yaligabye bw’ati:

  • Nakato Betty alina emigabo 30 ku 100.
  • Nassaka Cecilia emigabo 35 ku 100
  • Muteefu Melisa, emigabo 35 ku 100.
 ssomero lya t awrence  rown ity ampus e atende yalese taligabidde muntu yenna Essomero lya St. Lawrence - Crown City Campus e Katende yalese taligabidde muntu yenna!

AMASOMERO 2 TEGALIIKO BIWANDIIKO BYA BWANNANNYINI

Ebibuuzo ku bwannannyini ku masomero ga Mukiibi kati biri ku masomero abiri agatalina biwandiiko bigoogerako mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa amakampuni ne bizinensi zonna mu ggwanga ekya Uganda Registration Services Bureau (URSB).

Agatalina biwandiiko kuliko St. Lawrence Horizon Campus – Budo erimu ku ge yasooka okussaawo ne St. Lawrence Crown City Campus – Katende.

Mu kunoonyereza Bukedde kwe yakoze, yakizudde nga teri ssomero lyonna oba bizinensi yali ewandiisiddwa mu mannya ago abiri era n’abamu ku bali mu kitongole kya URSB beebuuza ensonga lwaki Mukiibi teyassaayo biwandiiko by’amasomero ago abiri, ate ng’amalala gonna omukaaga alambika bulungi ebiwandiiko byago n’obwannanyini bwago.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...