TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Owa UPDF akubye emiranga bw’azudde nti omwana gw’abiibiita si wuwe

Owa UPDF akubye emiranga bw’azudde nti omwana gw’abiibiita si wuwe

By Musasi wa Bukedde

Added 12th June 2017

DDALA mu butuufu omukwano guziba amaaso! Mbadde ne munnange okuva mu 2004 naye ebintu byonna by’azze akola mbadde naziba amaaso nga bingwa nkoto naye ate bwe yatuuse ku kino ne kimpitirirako.

Amala 703x422

Aisha ng’asoma ebyavudde mu kukebera omusaayi. Ku ddyo Ssekate eyakebezza omwana gwe baamusiba.

Aisha tewandibadde ggwe n’onkaabya okutuuka ku kino, ssaalongo omulamba n’onkola bwoti?, Ssaalongo Muhammad Ssekate omujaasi wa UPDF ow’omu Ddobi Zooni mu muluka gw’e Makerere III bwe yeebuuza lwaki kabiite we Aisha Isinge, gw’abadde ayagala ng’awava erinnyo yatuuka okuzaala n’okumusiba omwana.

Byonna afande Ssekate abinyumya bwati: Bulijjo mpulira abagamba nti ensi si nnyangu nga nkiraba nga ekiri ewala, mpozzi nga kigenda kutuuka wange.Aisha ky’ankoze ndifa nkirojja.

Twasisinkana ne munnange oyo mu 2004 e Mulago mu kirabo ky’emmere ekimu gye yali akola. Twafuuka baamukwano n’ekyaddirira kuyingira bufumbo.

Namutwala ewange we nali mpangisa mu muluka gwa Makerere III e Kawempe ne tutandika obufumbo, nga wayise emyezi esatu namusaba antwaleko mu bakadde be oba abooluganda lwe, yanziramu nti ngira nnindako.

Nasirika nga muli nneebuuza nnaabeera ntya n’omuntu nga simanyi waabwe! Isinge ng’amaze okukakasa nti mmwagala yatandika okulaga empisa ensiiwuufu omuli okuyomba ku mizigo, okumboggolera n’okundeka mu buliri matumbibudde nga waliwo abamukubidde essimu.

Olw’okuba nali mmwagala nnyo ate ng’abajaasi tulina amateeka agatufuga nasiriikirira nga ηηamba ajja kulaba ensobi ze yeddeko. Ate bwe namunenyangako nga yeetonda muli nga ndowooza ensobi ze azitegedde.

Engeri Isinge gye yansanga nga nnina abaana bange bana mukyala wange omugenzi be yanzaalira eby’okuzaala saabirowoozaako nnyo ate nga ne munnange alabika yali tannatuusa kwagala mwana.

Mu 2014 Isinge yafuna olubuto kye nalowooza nti ffembi kyatusanyusa naye kyambuukako mu 2015 bwe yasumuluka n’atuleka mu ddwaaliro e Mulago ng’omwana wa lunaku lumu.

Nali nvuddewo ηηenda okudda nga munnange taliiwo kyokka ng’omwana ku kitanda kw’ali, nalindako naye nga talabikako bwe bwaziba kwe kugenda ku poliisi y’e Mulago eyamunoonya n’emukwata naye nga tawa nsonga yamuggye mu ddwaaliro n’aleka omwana ku kitanda.

 sekate ngakwasa isha omwana mu lukiiko lwa  amutwalire kitaawe Ssekate ng’akwasa Aisha omwana mu lukiiko lwa LC amutwalire kitaawe.

ANSUULIRA OMWANA

Omwana ng’awezezza emyezi esatu ηηenda okudda awaka ng’enju nkalu, nalowooza nti oba babbi wabula baliraanwa ne baηηamba nti Isinge ye yasibye ebintu n’abitikka ku mmotoka, teyakoma okwo n’omwana waaliwo omukadde gwe yamusuulira.

Byansobera kuba omwana yali muto nga simanyi we ntandikira nagenda ku poliisi y’oku Kaleerwe ne nzigulawo omusango gwa Isinge okunsuulira omwana n’okubba ebintu byange.

Engeri gye nali nkola, nafuna omuntu gye nalekeranga omwana ng’ono mmuwa 5,000/- buli lunaku ssaako n’okugulira omwana ebyetaagisa.

Omwana bwe yagenda akula yatandika okulwalalwala ng’olumu sikola kuba nalina okumulabirira.

Yatuusa okuweza emyaka ebiri nga tatuula, tayogera nga yagongobala ekyantiisa kyokka nga ne mu basawo yonna gye mmutambuza tewali kikyuka ate nga ssente zigenda.

Ebigambo byatandika okuyita ku kyalo nti omwana si wange naye nga nze bingwa nkoto okutuusa wano jjo ly’abalamu mu May bwe nalabye nga kimpitiriddeko ne ηηenda tukebere endagabutonde nkakasize ddala ebyogerwa.

Ebbanga lino lyonna maama w’omwana yali taddanga era nga talinnyawo awaka naye nali namuteekako enkessi nga mmanyi gye yeekweka.

Mu kugenda e Wandegeya okukebera endagabutonde nnyina saamutegeezaako engeri gy’ataali waka ate nga ntya nti ayinza okubula.

Baatukolako ne batuwa wiiki okufuna ebivudde mu kukebera omusaayi.

Aboomusaayi olwankubidde kwe kugendayo ne mikwano gyange ng’abajulizi ne bankwasa ebbaasa omwali ebizuuliddwa. Nagenda n’abantu bange ne tuyita omukyala ne tugenda mu kakiiko ka LC y’oku kitundu ne mbayitira mu nsonga zonna.

Omukyala namukwasa ebbaasa ne mmusaba asome ebiri ku lupapula olwalimu bwatyo n’ategeeza nti okusinziira ku musaayi omwana tanninaako kakwate.

Nawulidde nga nnyiize nnyo ne ndowooza kye mba mmukolera ne ngattagatta byonna, ebizze bibaawo omuli n’ekyokudduka ku kitanda era wano mikwano gyange be bampooyawooezza okunzikakkanya.

Nakutte omwana ne mmumukwasa nga tawalidde yadde, era okumanya ekituufu abadde akimanyi nti omwana si wange yafukamidde n’anneebaza okulabirira omwana we.

Bino byonna okubaawo nga mpulira obusungu bunzita nga ndowooza ssente zange ze nfulumizza.

 isha ngasoma ebyavudde mu kukebera omusaayi Aisha ng’asoma ebyavudde mu kukebera omusaayi

EKITUUFU SIMANYI KITAAWE - ISINGE

Ng’ali mu kakiiko ka LC, Aisha Isinge yagambye nti: Lwaki temwantegeeza ku byakugenda mu musaayi, mulabika mwaguliridde!

Naye mumpe omwana wange sisobola kumugaana. Mu mazima simanyi kitaawe mutuufu era nsaba Ssekate ansonyiwe. Kaηηende nnoonye kitaawe w’omwana.”

MAAMA WA SSEKATE BY’AGAMBA

Jane Namukwaya: Mutabani wange abadde akozze lwa mwana, amusaasaanyizzaako ssente okumujjanjaba kuba tatambula, tayogera.

Isinge ky’alina okumanya nti omwana asobola okuwona ssinga amutwala ewa kitaawe omutuufu kuba kirabika gye yamuzaala bamubanja.

Famire nnyingi zirina ebizibu nga biva ku bantu abazibeeramu nga si baamwo. Kati omwana oyo aba kufa nga Ssekate tannamukebeza musaayi yandimuziise ku kiggya!”

 sekatte lwe yatutte omwana okumukebera endagabutonde Ssekatte lwe yatutte omwana okumukebera endagabutonde.

 

MUNNAMATEEKA AWABUDDE

Luyimbazi Nalukoola okuva mu kkampuni ya Nalukoola Kakeeto Advocates agamba:

Omukazi ssinga asiba omusajja omwana ne kizuulibwa oluvannyuma, omukazi asobola okuggulwako omusango n’aleeta taata w’omwana omutuufu n’asasula ssente ezirabiridde omwana.

Wano mu Uganda tetulinaawo tteeka naye tukozesa lya Bungereza erya Common Law era omusajja bw’alikozesa n’aloopa omusango aguwangula bulungi ne bamuliyirira ssente z’akozesezza ku mwana atali wuwe.

Wabula alina okulaga embalirira okugezza ebbaluwa z’omwana kw’abadde ajjanjabirwa, lisiiti z’essomero ssinga abadde asoma n’ebirala.

OWAABAKYALA E KAZO AWADDE AMAGEZI
 
Omumbejja Ruth Nassolo owaabakyala mu kkanisa ya St Luke e Kazo: Abasajja mbawa amagezi nti si buli mukazi gw’olaba mu luguudo nti asobola amaka.
 
Kyandibadde kirungi n’osooka omanya ebimukwatako okuva gy’azaalwa.
 
Omuwala mmusaba anoonye kitaawe w’omwana omutuufu bw’aba tamujjukira agume abeere naye.
 
Ssinga kamutanda n’amusuula ayinza okufuna ekikolimo n’ataddamu kuzaala obulamu bwe bwonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana