TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Mama eyalese omwana mu nju ekiro asanze bamusaddaase

Mama eyalese omwana mu nju ekiro asanze bamusaddaase

By Musasi wa Bukedde

Added 12th June 2017

OMUTEMU alabirizza maama w’abaana ekiro n’ayingira mu nju n’akwatako omu n’amusaddaakira ku kaabuyonjo y’awaka, omusaayi n’agulembeka n’abulawo.

Tafa1 703x422

shifra Namyalo (eyattiddwa) ne maama we . Ku ddyo, Namwanje ng'ayaziirana

Maama w’abaana abadde ava okunoonya obwennyanja bw’anaabafumbira ku ddaaku agenze okudda abakebereko ng’omu taliiwo n’alowooza nti agenze mu kaabuyonjo kwe kugoberera alabe.

Wabula aguddewo ekigwo bw’amusanze bamusaze obulago ng’afudde kwe kukuba enduulu ereese ab’omuliraano.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza olwa Ssande wakati w’essaawa musanvu n’omunaana ez’ekiro ku kyalo Kinyoro mu Lugazi Central Division, Lugazi Municipality mu disitulikiti y’e Buikwe.

Omugenzi ye Shifra Namyalo, 12, abadde asoma P6 ku Joy P/S e Lugazi muwala wa Swaibu Kizza Galabuzi ne Mary Namwanje nga bano bamaze emyaka egisoba mu ebiri nga baawukanye wadde nga babadde bakyawuliziganya.

Galabuzi akola ogw’obukuumi ku bizimbe e Nabugabo mu kibuga Lugazi yagambye nti, wadde babadde baayawukana, mukyala we abadde ajja gy’akolera ekiro n’amuwa obuyambi bw’okulabirira abaana.

Ate ebisale by’essomero nga bisasulwa ekibiina kya International Needs Uganda.

Namwanje agamba nti, yavudde awaka ku ssaawa nga 5:00 ez’ekiro n’agenda okugula obwennyanja ku ppaaka awali tonninnyira nga bw’abadde bwa kufumbira baana ddaaku, kyokka teyabusanzeeyo kwe kukomawo.

Annyonnyola nti, ensobi gye yakoze bwe butasibaawo kuba yabadde amanyi nti tagenda kulwayo, kyokka okudda ng’alaba obuliri bw’omwana bukalu ate nga ye omulenzi mw’ali kwe kugenda mu kaabuyonjo ng’alowooza gy’alaze n’amugwaako mu kitaba ky’omusaayi.

BATANKANYE ESSAAWA

Wabula waabaddewo okukubagana empawa ng’omu ku bapangisa awakanya essaawa nnyina w’omugenzi z’ayogera. Ono yagambye nti apangisa ku nnyumba ze zimu era lukuubo lwe lubaawula.

Yannyonnyodde nti, yakomyewo ku ssaawa musanvu n’ekitundu ez’ekiro n’ayingira mu nju ne yeggalira, kyokka tewaayise bbanga n’awulira abantu abatambula ebweru.

Wabula olw’okuba basula mu nzigotta ng’abantu basula batambula okukeesa obudde teyafuddeyo kuggulawo kubuuza baabadde batambula.

Wabula, oluvannyuma yawulidde omuntu akuba enduulu kwe kukebera ku ssaawa nga ziri munaana n’asooka atya okufuluma okutuusa lwe yawulidde abalala abaggulawo naye n’afuluma we yalabidde Maama Shifra ng’akaaba nti omwana we bamusaze obulago.

Waliwo n’abantu abalala abalumiriza nga bwe baalabye omukyala ono ekiro ku ssaawa nga 5:30 ng’atambula n’omusajja eyabadde ayambadde omujoozi ogwa bbululu nga gufaanana ogw’abawagizi ba ttiimu ya Chelsea era ne bamubuuzaako ne yeeyongerayo n’omwami gwe yabadde naye.

OMUKYALA ASUSSE OKUCAKALA

Abatuuze abamu bagamba nti, ebikolwa bino byandiba eby’obusamize kuba omusaayi baagulembese ne bagutwala oba olyawo okukolerako eby’obulogo.

Waliwo n’abagamba nti, olukwe lwandiba nga lwavudde ku basajja omukyala b’abadde akyusa ng’osanga kwe kwavudde eyamulabirizza ng’agenze n’omulala naye kwe kusalawo amukole ekinaamuluma.

Wabaddewo n’abagamba nti, wabeewo be bakwata okuli n’abooluganda lw’omwana nti kwandiba nga kuliko amanyi olukwe luno, kuba teri muntu yabadde akimanyi nti abaana basigadde bokka mu nju.

Meeya wa munisipaali y’e Lugazi, Deo Tumwesigye Mbabazi yatuuse awaasaliddwa omwana era n’ateekawo ssente akakadde kamu eri anaawa amawulire aganaazuula eyakoze ekikolwa ekyo.

Omubaka wa Gavumenti e Buikwe, Hajji Nasser Munuulo yalabudde abazadde obutagattika mpalana zaabwe n’abaana kuba bo tebalina musango.

Yagambye nti, baakukwata be basuubira okuba nga basse omwana ono.

Omwogezi wa Poliisi mu kitundu kya Ssezibwa, Hellen Butoto yagambye nti baakakwata omuntu omu ateeberezebwa okubaako ne ky’amanyi era bakyanoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.