TOP

Maneja wa Guvnor alumirizza kanyama okutta omuntu

By Alice Namutebi

Added 12th June 2017

MANEJA w'ebbaala ya Guvnor alumirizza Ivan Kamyuka, ali ku musango gw’okufumita omuntu eccupa n'afa ng'atwalibwa mu ddwaaliro.

20158largeimg203aug2015080444183703422 703x422

Jonnie Ahimbisibwe eyattibwa. Ku ddyo ye Kamyuka ne Nana eyali abalwanya

MANEJA w'ebbaala ya Guvnor alumirizza Ivan Kamyuka, ali ku musango gw’okufumita omuntu eccupa n'afa ng'atwalibwa mu ddwaaliro.

Robert Obona abadde omujulizi ow'omusanvu ategeezezza omulamuzi Wilson Kwesiga owa kkooti Enkulu nti Kamyuka ne John Ahimbisibwe [ eyattibwa] baali baagobebwa dda mu 'club' okumala emyezi 6 lwakukola ffujjo era mu kiseera we baddiramu okulwanagana nga August 2, 2015 ekibonerezo kyabwe kyali kyakaggwako.

Obona  agambye nti  yagezaako okutaasa Ahimbisibwe n'assa ppamba ku nsingo ye awaali wava omusaayi omuyitirivu kyokka embeera ye ng'eyongera kutabuka okutuusa we baamuddusa mu ddwaaliro lya Case gye yafiira.

Wabula looya wa Kamyuka, Julius Galisonga abuuzizza Obona alage kkooti  omusango gwe baggula ku Kamyuka omulundi ogwasooka okulwanira mu bbaala ne Ahimbisibwe nga tagulina n'amutegeeza nti kino kibooziboozi ky'atandise okufumba.

Abajulizi abalala okuli; Afande Haruna Mugisha ne Micheal Jackson Okello baleese obujulizi bw'ebifaananyi mu kkooti  ebiraga essaawa egambibwa nti Kamyuka gye yakozesa okusala Ahimbisibwe mu bulaga n’amagiraasi agaayasibwa mu kulwanagana.

Kamyuka avunaanibwa okutta Ahimbisibwe nga kigambibwa nti entabwe yava ku muwala amanyiddwa nga Nina, gwe baali balwanira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...