TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Emmaali ya Kasiwukira etabudde aba famire ne batiisa okwetta

Emmaali ya Kasiwukira etabudde aba famire ne batiisa okwetta

By Eria Luyimbazi

Added 12th June 2017

EMYAKA esatu bukya eyali omugagga w’omu Kampala Eria Bugembe Ssebunya 'Kasiwukira' atemulwa ku makya ga November 14, 2014 bwe yali akedde okukola dduyiro, ekiraamo kye tekiteekebwanga mu nkola ekitabudde bamulekwa.

Fa1 703x422

Nnamwandu Nabikolo. Ku ddyo ye muto wa Kasiwukira, John Ggayi eyalondebwa okuddukanya ebintu by’omugenzi ku lwa famire

Kasiwukira okufa, yali alaamye era ng’emmaali ye alaze bw'erina okugabanyizibwa mu bamulekwa n’aba famire abalala era ng'ebintu bye birina okugabanyizibwa mu bwangu wabula n’okutuusa kati, bibadde tebigabibwanga.

Kino, kitaddewo okusika omuguwa mu bamulekwa ba Kasiwukira ne kitaabwe omuto John Ggayi eyalondebwa okuddukanya ebintu by’omugenzi ku lwa famire omu ku baana n’amusindikira n’obubaka ng’amwewerera okumukola ekintu singa tamuwa mmaali kitaawe gye yamulamira.

Herman Kalungi omu ku bamulekwa, y’akutte wansi ne waggulu ng’abanja omugabo gwe kitaawe gwe yamuwa mu kiraamo era yalabye Ggayi alinga atafaayo, kwe kutandika okumuweereza obubaka ku ‘WhatsApp’ ng’amutiisatiisa.

Kino, kyatiisizza Ggayi n’addukira ku poliisi ya CPS mu Kampala ng’atidde Kalungi okumukola akabi n’aggulawo omusango gw’okugezaako okumutiisatiisa ku fayiro SD 51/15/08/2016.

Ggayi yannyonnyodde poliisi nti, Kasiwukira bwe yafa, baamulonda okuddukanya emmaali yonna ey’omugenzi era obuyinza ne mu kiraamo bwamuweebwa.

Yabategeezezza nti, oluvannyuma lw’okuziika, yatuuza olukiiko lwa famire mu maka g’omugenzi e Muyenga n’abasomera ekiraamo ky’omugenzi buli mwana n’amanya kitaawe kye yali amulekedde. Kalungi, yali omu ku baalina emigabo era baali bafuna ssente okuva mu kizimbe kya Nalubwama Arcade okuliraana Paaka enkadde nga buli mwezi yali afuna 2,000,000/-.

Kasiwukira bwe yafa, yalaama nti emigabo gye gyonna gye yalina mu Nalubwama, giweebwe Kalungi, bamuwe n’ekyapa ky’ettaka eriri ku Kutta Road e Muyenga n’ekyapa ky’ettaka ekirala eriri e Ssekiyunga mu Wakiso.

 kizimbe ekivuddeko embeteza Ekizimbe ekivuddeko embeteza

Kalungi bwe yayitiddwa ku poliisi okukola sitetimenti yategeezezza nti, omugabo kitaawe gwe yamuwa tagufunanga kati emyaka esatu egiyise.

Ggayi yalaze poliisi obubaka obutiisatiisa Kalungi bw'azze amuweereza nga mulimu n’obumulaalika nti bw'aba tamuwadde mugabo gwe ebinaddirira tamunenya.

Poliisi obubaka bwonna yabukoppye mu ssimu ya Ggayi ne buteekebwa ku fayiro y’omusango gw’okutiisatiisa okutuusa obulabe ku muntu eyagguddwawo wabula Kalungi bwe yabuuziddwa ku bubaka ng’akola sitetimenti, teyegaanyi.

Yategeezezza poliisi nti, obubaka yali abusindika kukangaka Ggayi amuwe omugabo gwe kubanga gwamuweebwa mu lujjudde.

Yalaze n’okwemulugunya ku kiraamo kya kitaawe ng’agamba nti baabasomera kisomeretewali yaweebwa mukisa kukikwatako wadde okuyisaamu amaaso n'agamba nti wandibeerawo ebintu bingi Ggayi bye yasirikira.

Poliisi yagenze mu maka ga Kalungi e Muyenga n’eyazaayo okuzuula obubaka we bwali busibuka n’okukakasa nti talina kissi ky’ayinza kukozesa kutuusa ku Ggayi bulabe.

Kalungi adda mu kkooti avunaane Ggayi ne Nabikolo

KALUNGI bwe yatuukiriddwa yategeezezza Bukedde nti, ayagala kuzzaayo musango mu kkooti addemu okuvunaana Ggayi ne Nabikolo mu ngeri endala.

Yagambye nti, Ggayi yayogera ebigambo eby’obulimba mu kkooti mu musango gw’okutemulwa kwa kitaawe bwe yagamba nti Nabikolo yali talina butakkaanya ne Bugembe n'agamba nti bw'aliwo era omukazi yali ayagala kunoba.

 alungi Kalungi

Yagasseeko nti, Nabikolo yali alumiriza bba Bugembe nti emmaali ye yali agikoze ayita mu bikolwa bya kirogo era mu kiseera Bugembe we yafiira, Nabikolo yali ayagala kunoba ng’agamba nti ebintu ebyali biwa bba obugagga, byali bigenda kumuttira omwana.

“Ggayi obulimba bwe yawa mu kkooti bwayamba Nabikolo okuteebwa okuva mu kkomera kyokka n'atoloka nga Ggayi talina wadde omuntu omu gwe yali abuuliddeko.” Kalungi bwe yagambye.

Yagasseeko nti, waliwo ebintu by’omugenzi bye baagala okwezza nga famire okuli n’ekizimbe kya Nalubwama era we wava embeteza.

Yannyonnyodde nti, Ggayi ne Nabikolo balaga nti ekizimbe kya famire wabula ekyapa kye balina, kitandika mu 2007 tekiraga ani yali nnannyini kyo ate nga Bugembe yakigula ku Bayindi mu myaka gya 90. “Bwe nabuuzaako lwaki kiri bwe kityo, Ggayi yatabuka n'atandika okwagala okunsiiga enziro era we yava n’okugenda ku poliisi.” Kalungi bwe yategeezezza.

Yagambye nti, Ggayi alina ebyapa bye abiremedde ate nga basuubira nti waliwo n’ebintu by’omugenzi ebirala bingi by’ayagala okwekomya kubanga Kasiwukira bwe yafa, ekiraamo kyali mu mikono gya Ggayi ne Nabikolo nga n’emikono egiriko gyabwe bombi, omugenzi talina we yateeka mukono gwe.

“Olw’okuba nabuuza ku nsonga ezitatambula bulungi, n’ewaffe ku bujjajja gye tuziika e Nanziga bangobyeyo balinga abangobye mu kika kyabwe.

Bang'ambye siddamu okulinnyayo okumala emyaka ena.” Kalungi bwe yategeezezza.

Yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa Facebook obulaga obulumi bw'alina ku mutima ng’akolokota kitaawe omuto Ggayi n’ategeeza nti yaddukidde ku poliisi ng’agamba nti ayagala kuddibwamu ebibuuzo by'alina ku mutima wabula tayagala kumutta nga ye bwe yakimutaddeko.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...