TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Kasingye atangaazizza ku bya Kayihura: 'Mulamu katebule, yagenze Turkey ku mirimu mitongole'

Kasingye atangaazizza ku bya Kayihura: 'Mulamu katebule, yagenze Turkey ku mirimu mitongole'

By Eria Luyimbazi

Added 13th June 2017

POLIISI evuddeyo n'esambajja ebigambo ebibadde biyiting'ana nti omuduumizi waayo ow’okuntikko, Gen. Kale Kayihura mulwadde muyi era yaddusiddwa mu ddwaaliro e Buyindi nga biwalattaka.

Sick1 703x422

Kasingye ng'ayogera eri abaamawulire e Naguru. Ku ddyo ye Vicent Ssekate ayogerera ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango. EKIF: ERIA LUYIMBAZI

POLIISI evuddeyo n'esambajja ebigambo ebibadde biyiting'ana nti omuduumizi waayo ow’okuntikko, Gen. Kale Kayihura mulwadde muyi era yaddusiddwa mu ddwaaliro e Buyindi nga biwalattaka.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, AIGP Asan Kasingye eggulo yategeezezza mu lukung'aana lwa bannamawulire nti Gen. Kayihura ssi mulwadde era tannatwalibwako Buyindi ng'ali bubi nga empapula z'amawulire n'emikutu egimu bwe gibityebeka.

“Ngagala okutangaza eggwanga nti omuduumuzi wa poliisi Gen. Kale Kayihura ssi mulwadde  era tannatwabwako India nga bwemu badde mubiwulira. Ekiriwo nti yagenda ku mirimu emitongole era anatera okudda,” Kasingye bwe yagambye.

Yagambye nti Gen. Kayihura ali mu mbeera nnungi, yagenze Turkey ku mirimu emitongole era yasisinkanye n’abakulu mu ggwanga eryo ne bassa emikono ku ndagaano ezenjawulo era asuubirwa okudda mu ggwanga ku Lwokusatu lwa wiiki eno.

Yategeezezza nti waliwo abalina ebigendererwa eby’okusaasaanya amawulire ag’obulimba okuteekawo embeera ey'obunkenke n’okubuzaabuza abantu babeere mu kutya songa ekituufu bakimanyi, n'agamba nti ebigendererwa by'abasaasaanya 'ssamwassamwa' tebinnamanyika era abaakikoze singa tebakikomya poliisi ng’eyita mu kitongole kyayo ekyamateeka yandiwalirizibwa okugenda mu kkooti  bavunaanibwe.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...