TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Kato Lubwama olumuddizza ‘Theatre’ n'akolimira abaakasuka ebintu bye ebweru

Kato Lubwama olumuddizza ‘Theatre’ n'akolimira abaakasuka ebintu bye ebweru

By Hannington Nkalubo

Added 15th June 2017

Yeecwacwanye nti buli eyakwata ku kintu kya ‘Theatre’ ye omuli entebe, emizindaalo, waya, ebiwempe, ebyuma oba endeku ezaali zikozesebwa mu mizannyo agenda kubonaabona era tagenda kuddamu kulaba ku ssanyu okutuusa lw’aliva mu bulamu bw’ensi eno.

Royalkato2 703x422

Kato Lubwama ng’alambula Royal Theatre eggulo.

KKOOTI ezzizza omubaka Kato Lubwama (Lubaga South) mu kizimbe ky’omugagga Haji Twaha Gwaivu n’eragira addemu akole.

Kyokka asanze ebintu byonna byabbibwa nga n’ekizimbe kitandise okuddaabirizibwa, n’atabuka.

Yeecwacwanye nti buli eyakwata ku kintu kya ‘Theatre’ ye omuli entebe, emizindaalo, waya, ebiwempe, ebyuma oba endeku ezaali zikozesebwa mu mizannyo agenda kubonaabona era tagenda kuddamu kulaba ku ssanyu okutuusa lw’aliva mu bulamu bw’ensi eno.

“Ddala abantu abamanyi gye nvudde basobola okumpaako obujulizi. Buli kintu kye nnina nkikoleredde wakati mu nnaku n’obulumi obw’ekitalo. Nze nasiibanga njala n’okusula obubi kyokka laba mbadde ntandise okunywa ku mata ate ab’emitima gy’ensolo banzizaayo. Sigenda kukkiriza era wano we hhenda okulagira Haji Gwaivu nti nange ndudde mu Kampala. Buli kintu ekyali mu Theatre yange agenda kukisasula. Ng'enda kumuliyisa ssente ezisoba mu kawumbi ate n’ettaka bw’ataweebwa ndimutwaleko,” Kato Lubwama bwe yagambye.

Kyokka omwana w’omugagga Gwaivu era abadde alabirira ekizimbe kino, Abdul Mayanja yategeezezza nti byonna kato by’ayogera tebimuyamba.

“Kato wajja wano nga weegayirira nkugambire taata akuyambe akupangise ku nnyumba ye okolewo Theatre yo era ne mmwegayirira n’akuwa ekifo. Kituufu wassaako ezimu ku ssente ku nnyumba kyokka ezisinga zaali za Haji Gwaivu. Wamala emyaka egisoba mu ebiri nga tomusasula wadde ennusu kyokka ate kati omwefuulira. Lwaki abantu mwerabira mangu? Omusajja eyakuyamba n’akupangisa kyokka n’ogaana okumusasula ate kati gw’ogamba nti n’ettaka lye oyinza okulitwala?” Abdul Mayanja bwe yagambye.

 ato ubwama ngalambula oyal heatre eggulo Kato Lubwama ng’alambula Royal Theatre eggulo.

 

Yatabukidde Kato Lubwama n’amulangira obukumpanya nti ssente obukadde busatu bwamulema okusasula Haji Gwaivu ate ekifo n’akissaamu n’ekkanisa.

Yamugambye nti ye talina ky’amanyi ku bintu bya Kato kubanga tabadde mukozi we gwe yassaawo okubikuuma.

Bino byasaanudde Kato Lubwaana n’ayagala okumukwata amataayi era n’amulumiriza nti abantu babadde bamulaba nga ye (Mayanja) y’atunda entebe ze ne kalonda w’ebintu bya Royal Theatre.

Kato yakubidde poliisi essimu n’ekwata Abdul Mayanja n’emuggalira nga Kato bw’amulangira nti agende atandike okuloza ku nnaku y’ensi eno.

Omumyuka wa Ssaabawandiisi wa kkooti enkulu etaawulula enkaayana z’ettaka, Muse Musimbi ye yatadde omukono ku kiragiro kya kkooti ekiwa Kato Lubwama obuyinza okudda mu kizimbe ky’omugagga okutuusa ng’omusango Haji Twaha Gwaivu gwe yawawaabira Kato Lubwama guwuliddwa.

Ebintu bya Theatre ya Kato Lubwama byasuulibwa ebweru okuva mu kizimbe ky’omugagga ku biragiro bya kkooti ng’omugagga amulumiriza nti tamusasula okumala emyaka egisoba mu ebiri ate n’amenya endagaano ekizimbe kye n’akipangisaako kkanisa y’abalokole nga tamugambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agambibwa okuwoowa Kenzo ne Rema...

Sheikh ono okuvaayo kiddiridde Kenzo wiiki ewedde okutegeeza nga Muzaata bwe yamuvumidde obwereere n’amulangira...

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?