TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abadde mukwano gwa Mukiibi akuutidde abaana obutagoba mukyala yenna anajja n'omwana w'omugenzi k'abe wa lubuto

Abadde mukwano gwa Mukiibi akuutidde abaana obutagoba mukyala yenna anajja n'omwana w'omugenzi k'abe wa lubuto

By Musasi wa Bukedde

Added 15th June 2017

'Temugoba mukyala yenna anajja gye muli ng’aliko omwana gw’aleese mu kika oba owoolubuto'

Pala 703x422

Sseninde (mu ssuuti) ne bamulekwa ba Mukiibi.

Kizza Sseninde, omu ku babadde mikwano gya Lawrence Mukiibi asisinkanye abaana abakulu abaakulembeddwa Maria Justine Tulina n’abakuutira obutagoba mukyala yenna anajja gye bali ng’aliko omwana gw’aleese mu kika oba owoolubuto.

Yabakuutidde okugatta n’okuwumbawumba omusaayi gwa kitaabwe, eby’okusalawo omwana oba omukyala omutuufu babirekere abeekika.

Yabawadde amagezi okuyiiya bwe bakuuma n’okwongera ku byobugagga bya kitaabwe naddala amasomero g’alese. N’abakuutira okwongera ku mutindo kitaabwe gwe yalese mu masomero ge ate bagatte abaana n’emikwano gya famire.

Ensisinkano eno yaddiridde Zephaniah Kizza Sseninde okudda mu Uganda ng’ava e Canada ne Amerika, okufa kwa Lawrence Mukiibi gye kwamusanga ng’agenze okujjanjabwa.

Yagambye nti abadde munne wa Mukiibi wa ku lusegere nga ne bwe yafa y’omu ku baasooka okufuna amawulire n’alyoka akubira mukyala we Rose Sseninde essimu ng’ali mu kusaba mu Kkanisa.

Yamulagira agende akulire entegeka z’okukungubaga n’okuziika.

Yagambye nti yasoose kukubira Tulina essimu n’amutegeeza nga bwe yabadde ayagala okubasisinkana bateese ku nsonga z’omugenzi omuli okulongoosa ekifaananyi ekitali kirungi olw’ebyo ebitambula nti abaana baasibidde ebweru abakyala abazze n’abaana be bagamba nti ba Mukiibi.

Yagasseeko nti, Tulina yayise banne okwabadde Kimuli, Ben Bantu Abo ne Makula Ssemakula ne bateesa ku nsonga nnyingi.

Yagambye nti okugoba omusaayi gwa Mukiibi kikontana n’obulombolombo bwa Buganda era kiba kikolimo ate bwe kizuulwa nti ddala be baagoba baana be, kireetawo obuswavu.

“Oba Mukiibi yazaala abaana bangi oba batono, teyandibadde nsonga eri baana oba omuntu yenna, tusaba abantu batunuulire ebirungi bye yakola n’omugaso Bannayuganda gwe bafuna mu masomero gano omuli okusomesa abaana n’okuwa abantu emirimu,” Sseninde bwe yagambye.

Yategeezezza nti Mukiibi yalina obusobozi okulabirira abaana abangi be yalondanga n’abanaku be yajunanga, noolwekyo tasobola kulemererwa kulabirira musaayi gwe ssinga gubaayo.

Era yabasabye okubeera abakkakkamu n’okulaga okwagala eri abazadde, abayizi n’abasomesa okulaba nga bayimirizaawo amasomero ga kitaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Titi 220x290

Omutuuze w’e Kanyanya afiiridde...

Muky. Roninah Nakacwa Kyaterekera Kirumira 69, baamututte mu Amerika okumujjanjaba obulwadde bwa kansa kyokka n’afa...

Busy1 220x290

‘Nze ebya laavu nabivaako nneekubira...

BW’OBA onyumya n’omuyimbi w’ennyimba za laavu David Lutalo emboozi ye ewooma era mubeera mu kuseka n’okukuba obukule....

Gurad 220x290

Amasomero agatannafuna bigezo bya...

AMASOMERO agamu gakyalwana okuggyayo ebigezo by’abayizi baabwe ebya P7 mu UNEB, ekireese obweraliikirivu mu bazadde...

Won 220x290

Abagambibwa okuferera ku ssimu...

ABAVUBUKA abaakwatibwa oluvannyuma lw’okusangibwa n’obuuma obugambibwa nti babukozesa okubba kkampuni z’amasimu...

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....