TOP

Akubye kitaawe akabazzi ku mutwe n'amutta e Najjanankumbi

By Ponsiano Nsimbi

Added 15th June 2017

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b'e Najjanankubi mu munisipaali y'e Makindye mu Namuli zooni omuvubuka bw'akakkanye ku kitaawe n'amutema akabazi ku mutwe n'amutta.

Murder11 703x422

Kirabo eyakubiddwa mutabani we Matovu (ali wakati) akamazi ku mutwe nga bw'abadde afaanana. Ku ddyo, ofiisa wa Poliisi ng'alaga ekitabo ky'omusaayi awaafiiridde Kirabo. EBIFAANANYI BYA RONALD MUGENYI NE PONSIANO NSIMBI

ENTIISA ebuutikidde abatuuze b'e Najjanankubi mu munisipaali y'e Makindye mu Namuli zooni omuvubuka bw'akakkanye ku kitaawe n'amutema akabazi ku mutwe n'amutta.

Izido Matovu 32, y'akakkanye ku kitaawe Charles Kirabo 80,n'amukuba akabazzi ku mutwe akamuttiddewo oluvannyuma lw’okumala akabanga ng'amwerera nga bw'ajja okumutta.

Ettemu lino libaddewo ku ssaawa nga 5:00 ez’okumakya. Kirabo awaka abadde abeerawo ne batabani be babiri okuli; 'omutemu' Matovu ne Gilbert Yiga saako muwala we; Jane Kizza kyokka ng'ettemu lino we beereddewo bano babadde bagenze kukola.

Hasifah Namukasa mulirwana w’omugenzi agambye nti awulidde enduulu ne miranga era n'ajja alabe ogubadde kyokka asanze abatuuze bakung'aanye nga bagamba nti Matovu olumaze okutta kitaawe n'afuluma ennyumba n'ayita abatuuze okulaba engeri gy'amusseemu.

Amuttidde mu ddiiro okumpi n’omulyango oguyingira mu kisenge kye era basanze omulambo gwe gungaηηamye mu kitaba ky’omusayi nga n’embazi gy'amuttisizza.

Wabula abamu ku batuuze bategeezezza nti Matovu alina ekikyamu ku mutwe si muntu ategeera obulungi.

Poliisi olutuuse mu kifo kino esoose kukukwata Matovu n'emuddusa ku poliisi y'e Katwe n’oluvanyum n'eggyawo omulambo gwa Kirabo ne gutwala mu ggwanika e Mulago okwongera okwekebejjebwa.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirano, Emilian Kayima akakasiza ettemu lino n'agamba nti Matovu agenda kutwalibwa mu ddwaaliro yeekebejjebwe omutwe kyokka nga bamugguddeko omusango gw’obuttemu ku fayiro nnamba SD REF:31/15/06/2017 ng’okunnonyereza bwe kugenda mu maaso.

alt=''
 batuuze nga bawuniikiridde Abatuuze nga bawuniikiridde
  
ulirwana ngalaga awaafiiridde irabeMulirwana ng'alaga awaafiiridde Kirabe

 

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...