TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abeesimbyewo okukulembera Makerere University bawera

Abeesimbyewo okukulembera Makerere University bawera

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2017

ABANTU basatu abavuganya ku kifo ky’omumyuka wa Cansala wa yunivasite y’e Makerere okuli; Polof. Edward Kirumira, Polof. Barnabas Nawangwe ne Polof. Venansias Baryamureeba buli omu aweze okufafaagana n’abasomesa abasobya ku bayizi abawala nga babasuubiza okubongeza obubonero mu bigezo.

Dcxehnsxuamaneg 703x422

Okuva ku kkono; Polof. Barnabas Nawangwe, wakati ye Polof. Edward Kirumira ate asemba ku ddyo ye Polof. Venansias Baryamureeba

Bwe baabadde banjulira abayizi, abasomesa n’abakozi ba yunivasite ebintu bye bagenda okukola bwe banaaba balondeddwa okukwata enkasi okuddukanya yunivasite ku Lwokuna, Polof. Kirumira yagambye nti waakulwanyisa omuze gw’abasomesa abaganza abayizi nga b’erimbika mu kubongeza obubonero kubanga kifeebya omutindo gw’ebyenjigiriza n’okuttattana erinnya lya yunivasite.

Polof. Nawangwe mu kiseera kino akulira ebyensimbi ku yunivasite yagambye nti ajja kukwatagana ne bamusiga nsimbi okukulaakulanya ettaka lya yunivasite eriri mu bitundu eby’enjawulo okuzimbako wooteeri ez’omulembe n’amayumba g’abapangisa okwongera ku nnyingiza ya yunivasite kubanga mu kiseera kino Makerere etubidde n’ebbanja lya buwumbi 30.

Baryamureeba yasuubizza okuteekawo enteekateeka y’abayizi okusomera ku kompyuta okusobola okumalawo okusomoozebwa kw’omuwendo omutono ogw’abasomesa kubanga omuyizi kimwanguyira n’okusomera awaka ng’akozesa komputa oba essimu y’omu ngalo nti asuubira omwaka 2022 we gunaatuukira, abayizi 100,000 be b’okubeera mu nkola eno.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe