TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omulamuzi Bamugemereire alabudde abanene abamutiisatiisa ku by'etteka

Omulamuzi Bamugemereire alabudde abanene abamutiisatiisa ku by'etteka

Added 19th June 2017

AKULIRA akakiiko akanoonyereza ku ttaka omulamuzi Catherine Bamugemereire alabudde abantu naddala abanene n’abagagga abeefuula abatakwatibwako ku nsonga z’ettaka nti tebagenda kumulemesa kutuukiriza buvunaanyizibwa bwamukwasibwa.

Omulamuzi Catherine Bamugemereire

Omulamuzi Catherine Bamugemereire

Bamugemereire yagambye nti abantu bonna abali mu nteekateeka z’okumutiisatiisa ave ku mulamwa bakoota mu ga lumonde era gwe kanaatanda n’amwesimbamu ng’akola emirimu gye, ajja kutegeera amaanyi agali mu mukono gw’amateeka.

Bino Bamugemereire yabyogeredde mu lukuhhaana lw’amawulire lwe yatuuzizza ku ofiisi z’akakiiko ku Archive Center okubategeeza we batuuse bukya akakiiko katandika.

Yagambye nti baakafuna abantu 16,000 abalina okwemulugunya ku nsonga z’ettaka okuva mu disitulikiti y’e Kampala, Wakiso ne Luweero.

Yamenyemenye n’agamba nti e Luweero ne Nakaseke emisango gy’ettaka 1,017 gisinze kuva mu babibanja abeemulugunya ku ba landiloodi n’anokolayo e Kapeeka gye yasanze abaazirwanako n’abaakosebwa mu lutalo abagenda nga bawamba ettaka ly’abalala.

E Wakiso yagambye nti baakafunayo emisango 420 ng’eno gyekuusa ku ngeri eteri nnuhhamu ebitongole bya gavumenti gye bitwalamu ettaka okukola pulojekiti zaabyo.

Emisango emirala 219 abantu okuva mu bitundu ebyenjawulo baagireese ku ofiisi y’akakiiko.

Yagambye nti oluvannyuma lw’emyezi 3, baakukola lipooti ey’ekiseera okusalawo oba ng’ebbanga eryabaweebwa emyezi mukaaga linaabamala okuwuliriza okwemulugunya mu Uganda yonna.

Yagumizza abantu nti ensonga zaabwe zaakuwulirwa we kisoboka bayambibweko.

Yagambye nti bakyetegereza n’engeri y’okwahhangamu obusambattuko obuli wakati w’Abacholi n’Abamadi ababadde battihhana olw’ensalo.

Akakiiko kaddamu leero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaana nga bagumbye ku

Bakubye ssengaabwe mu mbuga...

ABAANA batutte ssengabwe mu kakiiko k'eggombolola y'e Kyazanga nga bamulumiriza okubawuddiisa ne yezibika obukadde...

Komakech n'ebizibiti bye ku poliisi y'e Kawanda.

Abadde yakayimbulwa e Luzir...

Komakech ategeezezza nga bwabadde agenda okufa enjala nga yali asiiga njala z’abakazi wabula okuva bwe bayimiriza...

Testing video to see if it ...

aojdjadjdadojajdndn

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo