TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Omugagga Muhangi awanda muliro: Alumirizza Poliisi okumulemesa okweddiza ebizimbe bye

Omugagga Muhangi awanda muliro: Alumirizza Poliisi okumulemesa okweddiza ebizimbe bye

By Eria Luyimbazi

Added 20th June 2017

OMUGAGGA Charles Muhangi alumbye poliisi olwokumulemesa okweddiza ebizimbe okuli ekya Qualicell, Nabukeera ne paaka ya bbaasi ebirImu Drake Lubega ne Mansoor Yanga Matovu.

Muhangi3 703x422

Muhangi ng'alaga ekiwandiiko kye yafulumya mu mawulire ng'alagira abasuubuzi okwewandiisa gy'ali bupya. EKIF: ERIA LUYIMBAZI

Muhangi agambye nti kkooti ey’oku ntikko yawa ensala ng’emuddiza ebintu bye okuva ku Drake Lubega  wabula poliisi ya CPS ekyamulemesa okweddiza ebintu bye oluvannyuma lwa DPC Joseph Bakaleke okuwandiika ebbaluwa emuyimiriza.

“Kkooti ey’oku ntikko yasalawo nti ebintu binzirire era Drake Lubega agobwemu. Mbadde nninze poliisi okumpa obukuumi naye ndabye bbaluwa okuva ewa DPC Bakaleke ng’engaana okweddiza ebintu kati DPC y'ani alemesa ensala ya kkooti,” Muhangi bw'ategezezza.

Agambye nti yawandikira abakolera ku bizimbe ng'abalabula obutaddamu kuwa Drake Lubega ne Mansoor Yanga Matovu  ssente z’obupangisa  nga buli omu alina okwewandiisa n’emitwalo 20.

Yategeezezza nti tayagala kuleetawo buvuyo n’okulwanagana kuba ayagala ebintu bye bimuddire mu mirembe by'amaze emyaka 12 ng'alwanira mu kkooti n'alumiriza Drake Lubega okweyambisa Poliisi okumulemesa.

Ayongeddeko nti ku Mmande baasisinkanye ku CPS era ne bakomekkereza nga poliisi erina okumuwa obukuumi ku Lwokubiri asobole okweddiza ebintu  bye kyokka leero ku makya ate kimubuuseeko, Poliisi y'emu bw'emulemesezza okweddiza ekizimbe kya Qualicel.

Annyonnyodde nti akyali mu kkooti okulaba nga ssente z'afiiriddwa mu bbanga ery’emyaka 12 zimuliyirirwa.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo