TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Maama ne mutabani babakutte lwa kufera bukadde 6

Maama ne mutabani babakutte lwa kufera bukadde 6

By Paddy Bukenya

Added 21st June 2017

POLIISI ekutte maama ne mutabani we n’ebaggalira lwa kufera musuubuzi wa kasooli obukadde mukaaga ne babulawo.

Pa 703x422

Nantongo ne mutabani we Ssegirinya ku poliisi. EKIF: PADDY BUKENYA

Hannifer Nantongo 45, ne mutabaniwe, Sulaiman Ssegirinya, 20 abatuuze b’e Kayabwe mu ggombolola y’e Nkozi mu Mpigi be baakwatiddwa poliisi y’e Mpigi lwa kufera Kennedy Kizito omusuubuzi wa kasooli mu Kayabwe ne bamutunza ekibanja kye abawe ssente bamusuubulire kasooli ne babulawo nazo.

Nantongo ne Ssegirinya okukwatibwa kiddiridde Kizito okuddukira ku poliisi y’e Kayabwe ne yeekubira enduulu nti bano beekobaanye ne bamuggyako 6,400,000/- nga bamulimbye nti bagenda kumugulira kasooli mu bitundu by’e Kalungu oluvannyuma Ssegirinya n’abulawo nazo ne bamulimba nti mulwadde nnyo era yaweereddwa ekitanda ssente ne bazimubbirako mu ddwaaliro.

Nantongo yasoose kulimba poliisi nti mutabani we ali mu ddwaaliro kyokka n’akyusa nti yagenze kusuubula kasooli era bw’atwaliddwa ku poliisi Ssegirinya n’agendayo okumuggyayo naye ne bamukwata ne babaggalira.

Ssegirinya yategeezezza nti ssente baazimubbiddeko mu ssabo erimu e Mubende ng’agenze okumujjanjaba kyokka oluvannyuma n’agamba nti yazitadde ku ssimu ne bazikwatirako.

Kizito agambye nti yali ayagala kubawa obukadde busatu bwokka kyokka Nantongo n’amusaba atunde ekibanja ayongereko ku ssente bamusuubulire kasooli awerako zonna ne bazitwala.

Aduumira poliisi mu Mpigi, Ahmed Kimera Sseguya yagambye nti abakwate bagguddwaako omusango gw’okufuna ssente mu lukujjukujju ku fayiro CRB;130/2017 era baakuvunaanibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...