TOP

Omuwala agabanye ku mmaali ya Ssemwanga

By Martin Ndijjo

Added 22nd June 2017

OMWANA omuwala ow’omu ku baganda ba Ivan Ssemwanga aba famire basazeewo agattibwe ku baana ba Ssemwanga agabane kyenkanyi nabo ku byobugagga omugenzi bye yaleka.

Mada 703x422

Ndibaza (ku kkono) ne ssenga we mu lumbe lwa Ivan.

Kino kyasaliddwaawo mu lukiiko lwa famire olwatudde okutema empenda z’okukuzaamu abaana, n’okulabirira ebyobugagga bya Ssemwanga okutuusa bamulekwa lwe banaakula ne bakwasibwa obuvunaanyizibwa okubyeddukanyizza obutereevu.

Omwana omuwala ng’aweza emyaka 16, ayitibwa Harriet Ndibaza, ng'ono muwala wa muganda wa Ssemwanga eyasooka, okufa, yali alabirirwa Ssemwanga era ng’amutwalira ddala ng'omwana w’omu ntumbwe ze.

Aba famire kye baavudde basalawo agabane kyenkanyi n’abaana ba Ssemwanga abasatu. Ku bamulekwa ba Ssemwanga kuliko; Pinto Ssemwanga, Rapheal Ssemwanga ne Quincy George Ssemwanga nga bonna bazaalibwa Zari.

Akulira famire ya Bassemwanga, Robert Luyinda, yannyonnyodde nti olumu ababbi baayingirira Ssemwanga awaka e South Afrika, mu kavuvuhhano akaaliwo ne bakuba muganda wa Ssemwanga amasasi agaamuttirawo.

Omugenzi eyattibwa ye yali azaala omwana ono omuwala Harriet Ndibaza era okuva olwo n’asigala mu mikono gya Ssemwanga nga y'amulabirira.

We waavudde okusalawo agabane kyenkanyi ku byobugagga bya kitaawe omuto, Ivan Ssemwanga olw’engeri gye yali yatwala obuvunaanyizibwa okumukuza.

Ku nsonga y’omwana ono omuwala okugabana ekyenkanyi n’abaana ba Zari, bwe yatuukiriddwa, Zari yagambye nti takirinaako buzibu era akiwagira kubanga kituufu nti omwana ono Ssemwanga y'abadde amulabirira mu buli kimu era amutwala nga muwala we yennyini.

Olukiiko lwa famire lwatudde ne lulonda abantu bana okuli Zari, Rita Ssemwanga, Lawrence Ssemwanga (King Lawrence), ne George Kimbowa bavunaanyizibwe okulabirira ebyobugagga by’omugenzi ebiri mu Uganda ne South Afrika.

Oluvannyuma aba famire baabaze ekiwandiiko mwe baatadde bye bakkiriziganyizzaako omuli endabirira n’enkuza y’abaana, engeri y’okulabirira ebyobugagga bya Ssemwanga ne kalonda omulala ekiwandiiko ne bakitwala ew’omukungu avunaanyizibwa ku nsonga z'abafu (Administrator General) akitongoze.

Bakkaanyizza nti, ng’akakiiko akaalondeddwa kassa mu nkola omulimu ogwakatumiddwa nga tewali mmemba ku kakiiko kano ak’abantu abana akkirizibwa kuggya ssente ku akawunti ya mugenzi nga bammemba bonna tebamaze kussaako mukono.

Tewali mmemba alina buyinza bukwata ku kyabugagga kyonna nga bammemba abalala bonna tebamanyi era akakiiko kaalagiddwa okutuulanga ekiseera ekigere okutunula mu ngeri ebintu by’omugenzi gye bitambuzibwamu.

Oluvannyuma lwa buli myezi mukaaga abantu bano baakukolanga lipoota ekwata ku byobugagga nga bwe bitambula bagyanjule eri olukiiko lwa famire lugikubaganyeeko ebirowoozo n’okulaba oba waliwo ekitatambula bulungi bakisalire amagezi.

EBYOBUGAGGA EBIMANYIDDWA

Amasomero:

Brooklyn City Colleges, Hartland Training, Brooklyn School of Policing, Kingsbridge College, Menlyn Technical Colleges, Norah School of Nursing ne Brooklyn City High School.

Amasomero gano galina amatabi mu bibuga mwenda okuli Pretoria n’ebirala e South Afrika.

Amayumba:

Amaka ag’omulembe mwe yali asula e Waterkloof mu kibuga Pretoria okuli n’ekidiba ekiwugirwamu.

Ekizimbe ekisangibwa ku luguudo lwa Sir Apollo okuliraana Yunivasite y’e Makerere n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Index 220x290

'Mwenyigire mu by'obulimi ebivaamu...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okumwegattako okulwanyisa abakulu b’amasomero abasaaawo ffiizi ez’ekimpatiira...

Plana 220x290

Bobi Wine akoze pulaani endala...

BOBI Wine bwe yavudde e Jamaica yasookedde ku mukolo gwa muganda we Fred Nyanzi era eno gye yayanjulidde pulaani...

Kcca 220x290

Ebbaluwa y’abasuubuzi ku by’oluguudo...

EBBALUWA y’abasuubuzi mu Kampala abeegattira mu KACITA gye baawandiikidde Loodi meeya Erias Lukwago ne dayirekita...

Sanyu1 220x290

Kyokka Golola Moses of Uganda!...

OMUKUBI w’ensambaggere Golola Moses of Uganda nga bwe yeeyita yajagalazza abantu bwe yalabiddwaako ng’ali n’omuwala...

Ni 220x290

Nagenda okuva mu kkomera nnasanga...

NZE Joshua Kayiira nga ndi musuubuzi mu kibuga Kampala naye nga mbeera Kawaala.