TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. erabudde Bannayuganda ku sukaali w'ebicupuli

Gavt. erabudde Bannayuganda ku sukaali w'ebicupuli

By Muwanga Kakooza

Added 28th June 2017

MINISITA w’ebyobusuubuzi Amelia Kyambadde alabudde abantu okwegendereza sukaali ow’ebicupuli atundibwa mu maduuka agatali gamu n’agamba amulaba aloope abamutunda mu b’obuyinza.

Aaaaaaabig703422 703x422

Mu kiwandiiko ky’amawulire, Amelia Kyambadde ategeezezza nti waliwo abasuubuzi abatandise okutabika omuceere mu sukaali olw’ebbula eririwo ng’ekigendererwa kya kufera bantu n’agamba alaba sukaali ali mu mbeera eno ategeeza ku poliisi emuli okumpi.

Kyambadde ategeezezza nti waliwo n’essimu etali ya kusasulira 201 kwe basobola okukuba okuloopa abasuubuzi abalabbayi bano.

Ayongeddeko nti ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’ebikolebwa n’ebitundibwa mu ggwanga  ekya Uganda National Bureau of Standards  kigenda kutandika okutalaaga ebitundu ebitali bimu okunoonya sukaali atali ku mutindo.

Kyambadde alabudde abasuubuzi okwewala okwenyigira mu muze guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...