TOP
  • Home
  • Ag’eggwanga
  • Palamenti ekkirizza Nambooze okuleeta buto etteeka ly'okutangira ettamiiro

Palamenti ekkirizza Nambooze okuleeta buto etteeka ly'okutangira ettamiiro

Added 29th June 2017

PALAMENTI ekommezaawo entegeka z’okukola etteeka eritangira ettamiiro erikudde ejjembe mu ggwanga ezaali ziwomeddwaamu omutwe omubaka w’ekibuga Mukono, Betty Nambooze Bakireke.

 Nambooze

Nambooze

Entegeka zino zaali zizing’amye oluvannyuma lwa Palamenti okuyimiriza Nambooze okuleeta  etteeka lino nga gavumenti egamba nti egenda kuleeta eryayo erikola ku nsonga zino.

Omubaka wa Aruu, Odonga Otto naye yalina ekirowoozo ky’okuleeta etteeka ku mwenge.

Pulezidenti Museveni  gye buvuddeko yategeeza nga bw’ayagala wassibwewo etteeka erirung’amya okunywa omwenge.

Era waliwo n’abaana b’amasomero abazze ewa sipiika gye buvuddeko nga bagamba baagala tteeka  erirung’amya omwenge  oluvannyuma lw’obutamiivu okuyingira ne mu baana b’amasomero.

Sipiika Rebecca Kadaga yategeezezza nti Palamenti tesobola kutuula ku buvunaanyizibwa bwayo n’ereka eggwanga nga ligenya naddala abaana abato nga bayingiramu omuze guno.

Okusinziira ku bbago Nambooze lye yali ategeka okukola, ayagala okunywa waragi w’obuveera kuwerwe. Okumala galanga oba okuyimba ennyimba eziwaana omwenge gube musango.

Era omutunzi w’omwenge okwongera omuntu atamidde omwenge nagwo gube musango.

Nambooze yategeeza bannamawulire  nti okunywa omwenge mu budde obw’emisana yali ayagala kuwerwe okuggyako ku nnaku ez’okuwummula ne wiikendi.

Gavumenti erudde ng’eguluba n’ebyokuwera omwenge gw’obuveera olumu ogugambibwa nti gufuuka ogw’obulabe ne gutta n’abantu.

 Eyali minisita w’ebyobusuubuzi, Gen. Kahinda Otafiire y’omu baawakanya eby’okuwera okunywa waragi w’obuveera  ng’agamba nti obuveera ssi bwe buzibu wabula ‘waragi’ yennyini aba assiddwaamu.

Abavumirira obuveera bagamba nti bwa ssente ntono nnyo  nga n’omwana omuto asobola okubwegulira sso n’omuntu omuli n’abavuzi ba bodaboda asobola okubussa mu nsawo n’avuga nga bwe yenyweera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...