TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omufumbo bamukwatidde mu bwenzi n’akinagguka: Naawe funayo akubeesabeesa'

Omufumbo bamukwatidde mu bwenzi n’akinagguka: Naawe funayo akubeesabeesa'

By Musasi wa Bukedde

Added 30th June 2017

OMUSAJJA awunze bw’akutte mukyala we lubona ng’asinda omukwano ne taata w’abaana be gwe yasooka okwagala.

Bada 703x422

Naikoba ng’atwalibwa ku poliisi. Ku ddyo ye Kozaala nnyini mukazi ate mu katono ye Koowa omusiguze

BYA MOSES LEMISA NE REGINAH NALUNGA

Aisha Naikoba 25, omusuubuzi w’engoye yasoose kufumba Idd ewa bba, Badru Kozaala 48, mu Mukalazi Zooni e Bwaise.

Oluvannyuma yategeezezza bba nga bw’agenda okutunda engoye, kyokka teyakomyewo.

Naikoba mu kusimbula awaka  yasoose kugamba bba (Kozaala) nti agenda kulwayo wabula bwe zaaweze essaawa 4:00 ez’ekiro ku Ssande nga tannakomawo, bba kwe kumukubira essimu wabula nga by’ayogera tebitegerekeka, era essimu n’agiggyako.

Kozaala yatandise omuyiggo gwa mukyala we era gye yayise gye baamutemerezzaako nga Naikoba bwe bamulabyeko mu muzigo gw’omutuuze, era olwatuuseeyo yasanze mukazi we ali n’omusiguze.

Yagenze ku poliisi era abapoliisi baasitukiddemu ne basanga Naikoba ne Koowa, wabula mu kifo ky’okwetonda, Naikoba yakinagguse agamba nti; “Musajja ggwe lwaki tonneesonyiwa, ono ye taata w’abaana era sisobola kumwesonyiwa..”

Kozaala yannyonnyodde nti Naikoba okumufuna yamusanga mu kyalo e Kamuli mu 2014 ng’ensi emukutte, n’amukwana.” Nagenda ewaabwe n’annyanjula era okuva olwo mbadde naye
awaka nga mukyala wange, wabula yagaana okuzaala ne sikitwala ng’ekikulu kuba nnina abaana abakulu.

Wabula neewuunyizza okumukwata ng’asinda omukwano ne taata w’abaana be, ate nga buli kimu mbadde nkimuwa. Kati ebibye nange bikomye era ampe n’essimu yange gye namugulira.”

KYE NKOZE SI KIPYA

Wabula Naikoba mu kwanukula bba yamugambye nti; Kino kye nkoze si kipya buli mukazi akikola era abasajja mukimanye nti taata w’abaana kiba kizibu okumukyawa, oba bansiba bansibe.

Kozaala oli waddembe okunoonya omukazi omulala, ekirungi sikulinaamu mwana. Kitaawe wa Naikoba, Sulaiman Tembeya Ikeme omutuuze w’e Namugongo, bwe yategedde ensonga n’agenda ku poliisi y’e Kawempe n’ategeeza nga Koowa bw’ali omujoozi kuba yafunyisa Naikoba olubuto ng’asoma P7 n’amuzaalamu abaana babiri ate n’amulekawo.

Wabula Koowa yagambye nti abadde tamanyi nti Naikoba mufumbo.

Yagambye nti abeera Mukono, era okujja e Bwaise Naikoba ye yamuyise.

Conrad Muzoora omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo e Kawempe yategeezezza nti omukyala ono okucanga abasajja ababeera ku kyalo kimu kikyamu nnyo, ne yeebaza Kozaala obutatwalira mateeka mu ngalo. Bagguddwaako omusango guli ku fayiro nnamba REF:84/27/06/2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaavabazigu1 220x290

Abagambibwa okubba Abachina e Nkoowe...

ABAVUBUKA abagambibwa okubbisa eryanyi nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti Enkulu etuula...

Sooto2 220x290

Embeera ya Ppaaka Enkadde: Okw'enkuba...

Enkuba bw'etonnya Ppaaka enkadde fuula nga kiraalo kya nte!

Kubbiri6 220x290

Olutalo lwa Ssennyonga ne Kakande...

OMUSUMBA Jackson Ssennyonga aguze ekizimbe okumpi n'ekkanisa ya Nabbi Samuel Kakande ku bbiri e Mulago, embiranye...

Kabz 220x290

Kabushenga asiimye KCCA FC

"Kino kigenda kumpaliriza okulaba emipiira gya KCCA nga ntandiika n'ogwa CAF Confederations Cup.

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...