TOP

Bobi Wine ayogedde ku kya Bebe Cool okumulengezza

By Josephat Sseguya

Added 3rd July 2017

BOBI Wine agaanye okwogera ku bya Bebe Cool bye yamulengezza n’amuyita ‘omuyimbi omu eyalondeddwa Bannayuganda ab’olubatu’ n’agamba nti, kati yafuuse mubaka w’abantu takyasobola kudda mu ntalo z’oyo; Bobi yagambye bw’ati: Ekisaawe ky’okuyimba nkiruddemu nnyo nga nnyimba ennyimba ezizimba abantu ekyampa n’ettutumu eryampanguzizza.

Bobinjuba8 703x422

Paasita Lubwama (ku kkono) ng’asabira Bobi Wine ku Ssande gye yasabidde.

Kati ndi mubaka w’abantu aliwo okuzimba n’okugatta; sikyayinza kudda mu ntalo ne Bebe Cool.

Mu kusooka, Bebe Cool yasinzidde Kenya gy’ali n’assa ku mukutu gwe ogwa Facebook ekiwandiiko ekyasaanudde abawagizi ba Bobi Wine okumulumba.

Ekiwandiiko kyabadde kigamba nti: Abantu bangi bannumbye ne mukazi wange olw’akalulu akaabaddewo (Bobi Wine ke yawangudde). Nze kye mmanyi, abantu ab’olubatu baalonze omuyimbi wabula ate ekyo kinviiriddemu ebivumo kyokka ate ekinnuma kuvumiramu mukyala wange.

Bagamba nti mukyala wange tannyamba mu ngeri y’okuntegeerera era nti omulimu gw’amanyi, kunsaba ssente kugenda mu ‘shopping’ kugula bintu, saluuni, kugula mmotoka mpozzi ne Amerika n’ebirala nga y’ensonga lwaki sisobola kwekulaakulanya.

Kati njagala musome bino muddemu amagezi: Ensonga enkozesa ekiro n’emisana kwe kulaba ku baana bange n’omukyala nga bali mu ssanyu.

Bwe kibeera ng’okubagulira emmotoka ez’akabi, engoye empya, okulya obulungi n’ebirala bye bibawa essanyu, ekyo kye nja okukola.

Era nja kwongera buli kadde okugulira Zuena emmotoka empya, okumusindika e Bulaaya, okumugulira engoye ennungi n’obupale obwo munda buli wiiki nga gy’ayambulamu gy’asuula.

Okumala emyaka 14 gye mmulabidde (Zuena) simukkiriza na kunfukaamirira nga njagala amaviivi ge gasigale nga galabika nga bwe namusanga era ekimu ku binkozesa ekyo, mba njagala nfune obwagazi buli lwe mutunulako.

Abamu ku mmwe mulowooza nti amayumba agasulwamu ky’ekyebbeeyi wabula ate ffe tulowooza nti ez’abapangisa kye kisinga. Sikkiririza mu kweraga nti nnina kino na kiri naye kye nfa be bantu bange okuba obulungi ate nga mukyala wange ali ku mwanjo.” Abawagizi ba Bobi Wine  bangi baamulumbye nga bagamba nti akwatiddwa nsaalwa kuba munne alinnye eddaala, ate mu kifo ky’okwetondera muyimbi munne nga Jose Chameleone bwe yakoze ate n’adda mu by’entalo ez’ekito.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...