TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ssebaana afudde ategese we banaamuziika e Mpande - Luweero

Ssebaana afudde ategese we banaamuziika e Mpande - Luweero

By Musasi wa Bukedde

Added 4th July 2017

SSEBAANA afudde ategese we bagenda okumuziika. Abadde azimbyewo ennyumba ennene empya eriko oluggya lwa yiika nnamba.

Zikka 703x422

Ssebaana Kizito. Ku ddyo, kye kiggya kino, Ssebaana w’agenda okuziikibwa.

Wano we wali ekiggya kyabwe we baaziika kitaawe, Erinesiti Muwanga Kitaka e Mpande mu ggombolola y’e Nnyimbwa mu Luweero.

W’afiiridde ng’ennyumba tannatandika kugisulamu.   Abatuuze olwababikidde ne batandika okuyooyoota ekkubo erigenda ku biggya, tulakita lye yasenze gye buvuddeko oluvannyuma lw’obulwadde okugonza Ssebaana.

Ekiggya kino era we baaziika nnyina ssaako batabani be okuli Job Muwanga Kizito eyafa mu 2006 ne Edward Kitaka Kizito eyafa mu 2007.  

Abatuuze bye basigadde bakaabira kwe  kuli: okufunira abaana baabwe emirimu, okuyamba abalwadde, abafiiriddwa, amasinzizo n’abalina embaga ng’abawa ensimbi.

Yasika layini y’amasannyalaze n’agituusa mu kitundu kino abatuuze ne bagasika ne kyaka, okulima amakubo agajja mu maka ge so ng’abadde asuubizza okukwatizaako abatuuze okusika amazzi g’emidumu agagenda okuleetebwa mu kitundu.  

Ssentebe wa DP e Luweero, Erasto Kibirango yategeezezza nga Ssebaana Kizito bw’abadde ekyokulabirako eri bannabyabufuzi abawabula Gavumenti kuba abadde anywerera ku nsonga gy’alaba ng’etwala eggwanga mu maaso.  

“Eggwanga lifiiriddwa omuntu alirumirirwa, atagulirirwa, atekkiriranya era abantu ab’engeri eno bakendedde tusigazza baalubatu. Abavubuka mulina okutwala ekyokulabirako muleme kulowooleza mu kugulibwa ne mutunda eggwanga,” Kibirango bwe yagambye.

   Yagasseeko nti DP ng’eri mu lutabaalo lw’okutwala obuyinza mu 2021, yaakusubwa okuwabulwa okuva eri munnabyabufuzi abadde amaze ebbanga mu muzannyo guno nga taliiko bbala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Troubled 220x290

Oulanya agugumbudde abazadde abataweerera...

Omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanya agugumbudde abazadde abeesuuliddeyo ogwa nnaggamba okuweerera abaana...

Young 220x290

Abalokole batadde Gavt. ku nninga...

ABASUMBA b’abalokole batadde gavumenti ku nninga okubawa layisinsi ezibakkiriza okugatta abagole wabweru w’ekkanisa....

Kolayo 220x290

Bayisizza bajeti ya bukadde 200...

ABASUUBUZI mu Kikuubo ne Nabugabo bakungubagidde maama w’omugagga Moses Kayongo nnannnyini Mt. Zion Hotel esangibwa...

Kola 220x290

Agambibwa okubba kasooli bamukubye...

ABASERIKALE ba LDU baliko omuvubuuka gwe bakutte lubona mu lusuku ly’omutuuze ng’abba kasooli ne bamukuba amasasi...

Okutulugunya abakyala kweyongede...

Joan Nakilanda nga ono Alina emyaka 21 yafumbirwa nga alina omyeka 17 era nazala omwana we asoka neba. Oluvanyuma...