TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Muganzi wa Ssebaana ayongedde bwiino: 'Baze yankutukidde mu ngalo'

Muganzi wa Ssebaana ayongedde bwiino: 'Baze yankutukidde mu ngalo'

By Musasi wa Bukedde

Added 6th July 2017

OMUKAZI Rose Nabirye akutte wansi ne waggulu! Ayongedde okulaga bw’abadde muganzi wa Ssebaana era ne mu kufa, nti omulwadde yamukutukidde mu ngalo.

Kutu 703x422

Ssebaana ne Nabirye ku mukolo gw’okukyala. Ku ddyo, muganzi wa Ssebaana bwe yabadde amujjanjaba ku kitanda e Nakasero gye yafiiridde

Ebifaananyi bye yeekubisizza ng’ali mu ddwaaliro e Nakasero ajjanjaba John Ssebaana Kizito kw’ossa ebifaananyi ebirala ku mukolo gw’okukyala mu bazadde bye bimu ku bitadde aba famire mu kaseera akazibu.

Ensonda mu famire zaategeezezza Bukedde nti waliwo okwetemamu ng’abooluganda lwa Ssebaana abamu baagala omukazi ono aleme kusibirwa bweru, kyokka abalala nga balaalika nti we bamulabirako anaalaba akabafaamu!

 abirye ne sebaana lwe yakyala mu bakadde Nabirye ne Ssebaana lwe yakyala mu bakadde.

Ssebaana yagattibwa ne Christine Namiiro wabula mu 2007, omukyala n’asalawo agende e Bungereza mu baana be; olwo Ssebaana n’asigala mu maka e Kansanga n’abamu ku bayambi be.

Abaana ba Ssebaana bonna abataano babeera bweru wa ggwanga era Polof. Phares Mutibwa, muganda wa Ssebaana, yagambye nti ebimu ku bibadde bitawaanya muganda we ky’ekiwuubaalo.

 abirye ngagwa sebaana mu kifuba lwe yakyala mu bakadde be Nabirye ng’agwa Ssebaana mu kifuba lwe yakyala mu bakadde be.

Nabirye yategeezezza ku ssimu nti Ssebaana yakyala mu bazadde (aba Nabirye) e Mbale ku kyalo Kasanvu.

Mikwano gya Nabirye baategeezezza Bukedde nti emikolo gino egy’okukyala gyaliwo mu 2013 era gyagenda okubeerawo nga bamaze ebbanga nga bakwatagana.

 sebaana nga bamwaniriza e asanvu e bale gye yakyala mu bakadde ba abirye Ssebaana nga bamwaniriza e Kasanvu e Mbale gye yakyala mu bakadde ba Nabirye.

Abaali ku mukolo ogwategekebwa ng’okwanjula bagamba nti, Sarah Nkonge ye yakola nga ‘mwannyina omulungi’, wabula Muky. Nkonge bino yabyesammudde n’agamba nti Nabirye ayogerwako, n’okumumanya tamumanyi.

Ku mukolo guno, Ssebaana yatwalira abazadde ebirabo omwali n’ente ‘nnusubulaaya” ssatu, kwe yagatta embuzi n’ebirabo ebyabulijjo ebirala.

 abirye mu maka ge e weya okumpi ne ajjansi ali ku mmotoka ye Nabirye mu maka ge e Bweya okumpi ne Kajjansi. Yali ku mmotoka ye.

Waaliwo okwekubya ebifaananyi nga Nabirye alaga Ssebaana essanyu era Ssenga n’agabula Ssebaana oluwombo.

Aba famire ya Ssebaana abamu balina okutya nti omukazi ono ayinza okukozesa olukujjukujju n’atwala ebimu ku bintu by’omugenzi, kyokka abalala balina endowooza nti engeri abamu gye bakimanyi nti y’abadde ajjanjaba Ssebaana, tasaanye kuyisibwa bubi.

 senga wa abirye ngagabula sebaana oluwombo Ssenga wa Nabirye ng’agabula Ssebaana oluwombo.

Mu bbanga erya wiiki essatu Ssebaana z’amaze ng’ajjanjabibwa mu ddwaaliro e Nakasero, kigambibwa nti Nabirye y’amubadde ku lusegere.

Abali ku ludda lwa Nabirye bagamba nti ayinza okuba alina n’ebyobugagga bya Ssebaana by’abadde amanyi, nga bw’anaaba takwatiddwa bulungi bisobola okubulankanyizibwa.

Nabirye yali mufumbo wabula bba n’afa era oluvannyuma yakwatagana ne Ssebaana.

 abirye mu luggya we yakumidde olumbe e weya u ddyo abirye mu mbeera eyamasappe Nabirye mu luggya we yakumidde olumbe e Bweya. Ku ddyo, Nabirye mu mbeera ‘ey’amasappe.’

 

Embeera zaatandikirawo okukyuka era eyali akola mu katale e Kajjansi n’alinnya eddala n’atandika okukolera mu Kampala wakati era n’afuna n’ennyumba e Bweya okumpi ne Kajjansi mw’abeera kati.

Oluvannyuma lw’okutya okwetaba mu kukungubaga okwa bonna mu maka ga Ssebaana e Kansanga, Nabirye yakungubagidde mu maka ge e Bweya era munda yagatimba ebifaananyi ebyakubwa ng’ali ne Ssebaana ku mukolo gw’okukyala.

Mikwano gye bagamba nti amaze emyaka nga munaana nga yeeyita Mukyala Ssebaana ate olumu nga yeeyita Nnaalongo Ssebaana.

 

Baamukolerako n’akabaga ku Guvnor era kigambibwa nti baasisinkana ku mukolo ogwaliko Sarah Nkonge era enkwatagana n’etandikira awo era akabaga kano nako kaaliwo mu 2007.

Olwaleero (Lwakuna) ku ssaawa 2:00 ez’oku makya omulambo gwe lwe gutwalibwa mu lukiiko lwa KCCA oluvannyuma gutwalibwe mu palamenti ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu ate akawungeezi gutwalibwe mu kkanisa e Kansanga gye gunaggyibwa gusule mu maka ge.

Enkya ku Lwokutaano, gwakusoosebwa Namirembe mu Lutikko mu kusaba okutandika essaawa 2:00 ez’oku makya oluvannyuma gutwalibwe ku Sure House ku kitebe kya SWICO we gunaava gwongerweyo e Kalule mu Luweero gy’anaaziikibwa ku Lwomukaaga ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Ebya Namwandu wa Sheikh Kirya ...

Ebya Namwandu wa Sheikh Kirya biranze: Alina eddaame amwanukudde

Capture 220x290

Laddu esse abaana babiri: Babadde...

Laddu esse abaana babiri: Babadde bagenze mu nnimiro

Thumbnailpochettinoworried 220x290

3 baswamye mulimu gwa Pochettino...

Emikisa gya Mauricio Pochettino okusigala ku butendesi bwa Tottenham (Spurs) buli lukya gikendeera.

211779580imagea231574118715434 220x290

Rafa Benitezi yandidda mu Premier...

AGAVA mu West Ham galaga nga bwe waliwo entegeka y’okukansa omutendesi Rafa Benitez asikire Manuel Pellegrini....

Nkumbaweb 220x290

Nkumba ekikoze n'era

Ttiimu ya Nkumba university ewangudde ekikopo kya liigi ya volleyball omulundi ogw'okusatu ogw'omuddiring'anwa....