TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Engeri Ssebaana gye yayanjulira abaana muganzi we Nabirye

Engeri Ssebaana gye yayanjulira abaana muganzi we Nabirye

By Musasi wa Bukedde

Added 7th July 2017

SSEBAANA bwe yamala okukwatagana ne Nabirye, yasalawo amwanjule mu bamu ku booluganda lwe era n’amulaga n’abamu ku baana abakulu!

John 703x422

Nabirye yali awambaatidde Ssebaana. Ate wansi nga beenywegera.

Mu ngeri ey’ekisajja ekikulu, John Ssebaana Kizito 83, yasooka kutuukirira bakulu banne n’abayitiramu embeera gy’ayitamu okuli n’eky’okubeera obwomu mu maka ate nga mukazi we Christine Namiiro amaze okukimutegeeza nti talina nteekateeka zikomawo mu Uganda.

Namiiro yagenda e Bungereza mu 2007 era kigambibwa nti okufuna Nabirye, maama w’abaana yali amaze emyezi egiwerako ng’agenze ate ng’amaze okutegeeza bba nti okudda n’obutadda.

Wabula abamu ku ba famire baategeezezza nti Namiiro we yasalirawo agende abeere mu baana be e Bungereza; mukulu munne yali atandise okufuna abakazi abamutawaanya nti era abamu oluwenda baalufunira wakati wa 2005 ne 2006 nga Ssebaana atalaaga Uganda anoonya akalulu k’Obwapulezidenti.

Wakati mu kiwuubaalo ekyaddirira nga Namiiro agenze e Bungereza, kigambibwa nti mikwano gya Ssebaana wamu n’abooluganda lwe baamuwagira afuneyo omukazi omu; amulabirire kubanga baali bakirabye nga ku myaka gye, ajja kukosebwa nnyo nga talina muntu amufaako.

Awo ne Nabirye we yafunira omwagaanya era ku nkomerero ya 2007 n’akwatagana ne Ssebaana.

Ku mukolo kwe baasisinkana kwaliko Sarah Nkonge era kigambibwa nti Nabirye ye muntu gwe yajjirako kubanga gwe yali ategeera ennyo.

Wabula Muky. Nkonge yagambye nti Nabirye ayogerwako tamujjukira.

Omukolo Ssebaana kwe yasisinkanira Nabirye, gwaliko ne munnabyabufuzi ow’amaanyi omulala (amannya galekeddwa) era ono ye yasooka okwegomba Nabirye n’agezaako okumuganza; oluvannyuma Ssebaana n’ayingirawo.

Nabirye yawabulwa nti munnabyabufuzi oyo yali mulimba nnyo, omukwano gwe gwa bicupuli ate n’okugaba tagaba ne bamuwabula agende ne Ssebaana nga bamuwadde n’ensonga omuli: mukyala we yamulekawo, alina ssente mpitirivu ate ku muntu gw’asiimye azisumulula.

Nabirye yasalawo n’aleka munnabyabufuzi oyo eyali amuperereza n’agenda ne Ssebaana era oluvannyuma lw’okutambula ebbanga nga baagalana, Ssebaana yakkiriza n’agenda ne mu bazadde ba Nabirye e Kasanvu – Mbale mu 2013.

Ssebaana yatwala ente ssatu, embuzi n’ebirabo ebirala mu bazadde era abadde agenda ewa Nabirye e Bweya – Kajjansi enfunda nyingi.

Olumu babadde balabwako ku kifo ekisanyukirwamu e Namulundu ku luguudo lw’e Ntebe.

Ssebaana bwe yatandika okutawaanyizibwa obulwadde mu 2014, Nabirye yatandika okumujjanjaba okutuusa lwe yafudde ku Mmande ku ssaawa 3:00 ez’oku makya.

ENGERI SSEBAANA GYE YAMULAGA ABA FAMIRE

Ensonda mu famire zaategeezezza Bukedde nti Ssebaana bwe yamala okukwatagana obulungi ne Nabirye, yasalawo okumwanjula mu bamu ku booluganda naddala abo abaali bakkaanya naye nti bw’ataafune muntu amubudaabuda ajja kukosebwa nnyo emyaka gy’ekikadde.

Mu be yayanjulira Nabirye kuliko Polof. Phares Mutiibwa ng’ono muganda wa Ssebaana era mu kugenda okukyala Polof. Mutiibwa yakkiriza okuwerekera Ssebaana e Mbale.

Muwala wa Ssebaana omukulu Dr. Ruth Kizito abeera e Bungereza, bwe yakomawo okukyalira ku kitaawe; Ssebaana yakozesa omukisa ogwo okumwanjulira Nabirye n’amutegeeza nti, “Mwanange……,ono we mutabeera, y’andabirira!” Ssebaana yazaala Ruth Kizito nga tannafumbiriganwa ne Christine Namiiro wabula abaana bonna baakulira wamu era bonna nga Christine abayisa kyenkanyi nga toyawula b’azaalira ddala ne b’atazaala.

Enkolagana ya Nabirye ne Ssebaana ebadde yawanvuwa era omukazi okutandika okweyita Nnaalongo Ssebaana yamala kufuna lubuto olw’abalongo wabula abaana ne babuuka nga bazaaliddwa tebannatuuka.

Omukazi yategeeza Ssebaana nti olubuto lwali lulwe, wabula wadde omukazi yasigala yeeyita Nnaalongo, ye Ssebaana eby’okweyita Ssaalongo yabigaana.

Polof. Mutibwa bwe yatuukiriddwa yagaanye okwogera ku nsonga za Nabirye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...